Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Nnabbi Nasani bwe yajja eri Dawudi, Dawudi ng’amaze okutwala Basuseba n’okutemula bba, Uliya.
51 (A)Onsaasire, Ayi Mukama,
ggwe alina okwagala okutaggwaawo.
Olw’okusaasira kwo okungi
nziggyaako ebyonoono byange byonna.
2 (B)Nnaazaako obutali butuukirivu bwange,
ontukulize ddala okuva mu kibi kyange.
3 (C)Ebyonoono byange mbikkiriza,
era ebibi byange mbimanyi bulijjo.
4 (D)Ggwe wennyini ggwe nnyonoonye,
ne nkola ebitali bya butuukirivu mu maaso go ng’olaba;
noolwekyo by’oyogera bituufu,
era n’ensala yo ey’omusango ya bwenkanya.
5 (E)Ddala, nazaalibwa mu kibi;
kasookedde ntondebwa mu lubuto lwa mmange ndi mwonoonyi.
6 (F)Oyagala amazima agaviira ddala mu mutima gwange.
Ompe amagezi munda ddala mu nze.
15 (A)Weewaawo bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna Omutukuvu wa Isirayiri nti,
“Mu kwenenya ne mu kuwummula mwe muli obulokozi bwammwe,
mu kusiriikirira ne mu kwesiga mwe muli amaanyi gammwe,
naye temufuddeeyo.
16 (B)Wayogera nti, ‘Nedda tuliddukira ku mbalaasi.’
Kyoliva odduka.
Wayogera nti, ‘Tuliddukira ku mbalaasi ezidduka ennyo.’
Ababagoba kyebaliva bawenyuka emisinde.
17 (C)Abantu olukumi balidduka
olw’okutiisibwatiisibwa kw’omuntu omu;
Olw’okutiisibwatiisibwa kw’abataano,
olidduka,
Okutuusa lw’olisigala ng’omulongooti okuwanikibwa bbendera oguli ku ntikko y’olusozi,
ng’ebendera eri ku kasozi.”
18 (D)Songa Mukama ayagala nnyo okuba ow’ekisa gy’oli;
era agolokoka okukulaga okusaasira.
Kubanga Mukama Katonda wa bwenkanya,
balina omukisa bonna abamulindirira.
Ssabbiiti kiwummulo ky’Abantu ba Katonda
4 (A)Noolwekyo ng’ekisuubizo eky’okuyingira mu kiwummulo kye, bwe kikyaliwo, twerinde, omuntu yenna ku mmwe aleme kulabika nga takituuseemu. 2 (B)Kubanga naffe tubuuliddwa Enjiri, nga nabo bwe baagibuulirwa. Kyokka baalema okukkiriza ekigambo kye baawulira, era tebaalina kye baagasibwa. 3 (C)Kubanga ffe abakkiriza, ffe tuyinza okuyingira mu kiwummulo kye, nga bwe yayogera nti,
“Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti,
‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ”
Omulimu gwe gwaggwa ku kutondebwa kw’ensi. 4 (D)Kubanga waliwo w’ayogerera nti, “Katonda bwe yamala okukola emirimu gye gyonna n’awummulira ku lunaku olw’omusanvu.” 5 (E)Ayongera n’agamba nti, “Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.”
6 (F)Kyaterekerwa abamu okuyingiramu, ate ng’abo abaasooka okubuulirwa Enjiri, tebaayingira olw’obujeemu. 7 (G)Katonda kyeyava ateekateeka nate olunaku, n’alutuuma leero, bwe yayogerera mu Dawudi, oluvannyuma lw’ekiseera ekiwanvu nti,
“Leero bwe munaawulira eddoboozi lye,
Temukakanyaza mitima gyammwe.
8 (H)Kubanga singa Yoswa yabatwala mu kifo eky’okuwummula, Katonda teyandiyogedde ku lunaku olulala olw’okuwummula.” 9 Naye Katonda atusuubizza olunaku olwa Ssabbiiti lwe tuliwummula, newaakubadde nga terunnatuuka. 10 (I)Kubanga oyo ayingira mu kiwummulo kya Katonda, awummula emirimu gye nga Katonda bwe yawummula ng’amaze emirimu gye. 11 (J)Noolwekyo tufubenga okuyingira mu kiwummulo ekyo, omuntu yenna alemenga kugoberera ekyokulabirako ekibi eky’abajeemu.
12 (K)Ekigambo kya Katonda kiramu era kikola. Kisala okusinga ekitala eky’obwogi obubiri, era kiyitamu ne kituukira ddala ku mmeeme n’omwoyo, n’ennyingo n’obusomyo, era kyawula ebirowoozo n’okufumiitiriza kw’omutima. 13 (L)Katonda amanyi ebintu byonna, so tewali kitonde na kimu ekikwekeddwa amaaso ge. Alaba buli kintu, era tulyogera mazima nga tumutegeeza buli kimu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.