Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 107:1-3

EKITABO V

Zabbuli 107–150

107 (A)Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
    okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

(B)Kale abanunule ba Mukama boogere bwe batyo;
    abo be yanunula mu mikono gy’abalabe;
(C)abo be yakuŋŋaanya mu mawanga; okuva Ebugwanjuba n’Ebuvanjuba,
    n’okuva obukiikakkono ne mu bukiikaddyo.

Zabbuli 107:17-22

17 (A)Abamu baafuuka basirusiru olw’obujeemu bwabwe;
    ne babonaabona olw’ebikolwa byabwe ebibi.
18 (B)Ne batamwa emmere yonna, ne babulako katono ddala okufa.
19 Bwe batyo ne bakaabirira Mukama nga bali mu buzibu obwo,
    n’abawonya.
20 (C)Yabatumira ekigambo kye, n’awonya endwadde zaabwe;
    n’abalokola mu kuzikirira.
21 Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
    n’olw’ebikolwa bye eby’ekyewuunyo by’akolera abaana b’abantu!
22 (D)Bamuleeterenga ebiweebwayo eby’okwebaza,
    era batendenga ebikolwa bye n’ennyimba ez’essanyu.

Olubereberye 9:8-17

Endagaano ne Nuuwa

Awo Katonda n’agamba Nuuwa ne batabani bwe baali (A)nti, “Laba nkola endagaano yange nammwe ne bonna abaliva mu mmwe oluvannyuma lwammwe, 10 era na buli kitonde ekiramu ekiri naawe: ebinyonyi, n’ensolo ez’awaka n’ez’omu nsiko zonna, ne byonna bye muvudde nabyo mu lyato, ne buli kitonde kyonna ku nsi. 11 (B)Nkola endagaano yange eno nammwe: tewaabengawo mataba gazikiriza bulamu bwonna, tewakyaddayo kubaawo mataba gasaanyaawo nsi.”

12 (C)Katonda n’agamba nti, “Kano ke kabonero ke nteeka wakati wange nammwe, na buli kitonde ekiramu ekiri nammwe, era n’ab’emirembe egiriddawo. 13 Nteeka musoke wange mu kire, nga ke kabonero ak’endagaano wakati wange n’ensi.

14 “Kale olunaatuukanga, bwe nnaaleetaanga ekire ku nsi, musoke anaalabikiranga ku bire, 15 (D)ne nzijukira endagaano yange nammwe na buli kiramu; era amazzi tegakyaddayo kuzikiriza biramu. 16 (E)Musoke bw’anaabanga ku bire, nnaamutunuuliranga ne nzijukira endagaano eteriggwaawo eriwo wakati wa Katonda na buli kitonde ekiramu ekiri ku nsi.”

17 (F)Katonda n’agamba Nuuwa nti, “Kano ke kabonero ak’endagaano gye ntaddewo wakati wange ne buli kiramu ekiri ku nsi.”

Abaefeso 1:3-6

Emikisa mu Kristo

(A)Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, atuwadde mu Kristo buli mukisa gwonna ogw’omwoyo oguva mu ggulu. (B)Yatulonda okubeera mu Kristo ng’ensi tennatondebwa, ffe tube batukuvu, abataliiko kya kunenyezebwa mu maaso ge, olw’okwagala kwe. (C)Olw’okwagala kwe, yatuteekateeka tubeere abaana be mu Yesu Kristo, ng’okusiima kwe bwe kuli. (D)Katonda tumutendereze olw’ekisa kye yatuwa obuwa mu Mwana, gw’ayagala ennyo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.