Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 46

Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola.

46 (A)Katonda kye kiddukiro kyaffe, era ge maanyi gaffe;
    omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku.
(B)Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw’eneeyuuguumanga,
    ensozi ne bwe zinaasiguulukukanga ne zigwa mu buziba bw’ennyanja;
(C)amazzi g’ennyanja ne bwe ganaayiranga ne gabimba ejjovu
    ensozi ne zikankana olw’okwetabula kwago.

(D)Waliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda,
    kye kifo ekitukuvu ekya Katonda Ali Waggulu Ennyo.
(E)Tekirigwa kubanga Katonda mw’abeera.
    Katonda anaakirwaniriranga ng’obudde bunaatera okukya.
(F)Amawanga geetabula, obwakabaka bugwa;
    ayimusa eddoboozi lye ensi n’esaanuuka.

(G)Mukama ow’Eggye ali naffe,
    Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.

(H)Mujje, mulabe Mukama by’akola,
    mulabe nga bw’afaafaaganya ensi.
(I)Y’akomya entalo mu nsi yonna;
    akutula emitego gy’obusaale, effumu alimenyaamenya;
    amagaali n’engabo abyokya omuliro.
10 (J)Musiriikirire mutegeere nga nze Katonda.
    Nnaagulumizibwanga mu mawanga.
    Nnaagulumizibwanga mu nsi.

11 Katonda ow’Eggye ali naffe;
    Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.

Olubereberye 12:1-9

Okuyitibwa kwa Ibulaamu

12 (A)Awo Mukama n’agamba Ibulaamu nti, “Vva mu nsi yannyo ne mu bantu bo ne mu nnyumba ya kitaawo ogende mu nsi gye ndikulaga.

(B)“Nange ndikufuula eggwanga eddene,
    era ndikuwa omukisa,
n’erinnya lyo ne ndifuula kkulu,
    olyoke obeere mukisa.
(C)Ndiwa omukisa abo abakusabira omukisa,
    era buli alikukolimira nange namukolimiranga;
era mu ggwe amawanga gonna ag’omu nsi
    mwe galiweerwa omukisa.”

(D)Bw’atyo Ibulaamu n’agenda nga Mukama bwe yamugamba, ne Lutti n’agenda wamu naye. Ibulaamu we yaviira mu Kalani yali aweza emyaka nsanvu mu etaano. (E)Ibulaamu n’atwala Salaayi mukazi we, ne Lutti mutabani wa muganda we ne byonna bye baalina bye baali bafunye, n’abantu baabwe be baafunira mu Kalani, ne basitula okugenda mu Kanani. Ne batuuka mu nsi ya Kanani.

(F)Ibulaamu n’ayita mu nsi n’atuuka mu kifo ekiyitibwa Sekemu awali emivule gya Mole. Mu biro ebyo Abakanani be baali mu nsi omwo. (G)Awo Mukama n’alabikira Ibulaamu n’agamba nti, “Ensi eno ndigiwa abo abaliva mu ggwe.” Awo Ibulaamu n’azimbira eyo Mukama ekyoto eyamulabikira.

(H)Bw’atyo n’alaga ku lusozi ku luuyi olw’ebuvanjuba obwa Beseri, n’asimba eweema ye nga Beseri ali ku luuyi olw’ebugwanjuba, ne Ayi ngali ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’azimbira eyo Mukama ekyoto, n’akoowoola erinnya lya Mukama. (I)Ibulaamu ne yeeyongera okutambula ng’ayolekera Negevu[a].

1 Abakkolinso 7:17-24

17 (A)Buli omu abeere mu bulamu Mukama bwe yamuwa, era Katonda mwe yamuyitira mw’abatambuliranga. Ekyo ky’ekiragiro kye mpa ekkanisa zonna. 18 (B)Eyayitibwa ng’amaze okukomolebwa aleme kugamba nti ssinga teyakomolebwa, n’oyo eyakkiriza nga si mukomole aleme kufaayo ku kukomolebwa. 19 (C)Kubanga okukomolebwa si kintu era obutakomolebwa si kintu, wabula ekikulu kwe kukwata amateeka ga Katonda. 20 (D)Buli omu abeerenga mu kuyitibwa Katonda kwe yamuyitiramu. 21 Oba nga wayitibwa ng’oli muddu ekyo kireme okuba ekikulu; naye bw’oba ng’ofunye omukisa okufuuka ow’eddembe, gukozese. 22 (E)Kubanga eyayitibwa Mukama nga muddu, Mukama yamufuula wa ddembe, n’oyo eyali ow’eddembe yafuuka muddu wa Kristo. 23 (F)Mwagulibwa na muwendo noolwekyo temufuukanga baddu ba bantu. 24 (G)Kale abooluganda, buli kifo kyonna omuntu yenna ky’alimu, mwe yayitirwa abeere mu ekyo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.