Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 80:1-7

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Amalanga g’Endagaano.” Zabbuli ya Asafu.

80 (A)Wulira, Ayi Omusumba wa Isirayiri;
    ggwe akulembera Yusufu ng’alunda ekisibo kyo;
ggwe atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu bakerubi, twakire.
    (B)Amaanyi go galabike mu Efulayimu,
ne mu Benyamini ne mu Manase,[a]
    ojje otulokole.

(C)Tukomyewo gy’oli, Ayi Katonda,
    otutunuulize amaaso ag’ekisa,
    otulokole.

Ayi Katonda, Mukama ow’Eggye,
    olituusa ddi okusunguwalira okusaba kw’abantu bo?
(D)Wabaliisa emmere ejjudde amaziga;
    n’obanywesa ebikopo by’amaziga musera.
(E)Otufudde eky’okusekererwa mu baliraanwa baffe,
    n’abalabe baffe ne batuduulira.

Tukomyewo gy’oli, Ayi Mukama ow’Eggye,
    otutunuulize amaaso go ag’ekisa,
    tulokolebwe.

Zabbuli 80:17-19

17 Naye muwe amaanyi omusajja oyo gw’oyagala
    era omwana oyo gwe weerondera.
18 Bwe tutyo tuleme okukuvaako, n’okukukuba amabega.
    Otuzzeemu amaanyi, naffe tunaakoowoolanga erinnya lyo.

19 Otukomyewo gy’oli, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye,
    otutunuulize amaaso go ag’ekisa,
    tulyoke tulokolebwe.

Mikka 2

(A)Zibasanze mmwe abateesa okukola ebitali bya butuukirivu
    era abateesa okukola ebibi nga bali ku buliri bwabwe;
Obudde bwe bukya ne batuukiriza entegeka zaabwe,
    kubanga kiri mu nteekateeka yaabwe.
(B)Beegomba ebyalo ne babitwala,
    ne beegomba ennyumba nazo ne bazitwala.
Banyigiriza omuntu ne batwala amaka ge olw’amaanyi,
    ne bamubbako ebyobusika bwe.

(C)Mukama kyava agamba nti,

“Laba, ndireeta akabi ku bantu abo,
    ke mutagenda kweggyamu.
Temuliddayo kubeera n’amalala nate
    kubanga kiriba kiseera kya mitawaana.
(D)Olwo abantu balikusekerera;
    Balikuyeeyereza nga bayimba oluyimba luno olw’okukungubaga nti:
‘Tugwereddewo ddala;
    ebintu by’abantu bange bigabanyizibbwamu.
Mukama anziggirako ddala ettaka lyange,
    n’aliwa abo abatulyamu enkwe.’ ”

(E)Noolwekyo tewalisigalawo muntu n’omu mu kuŋŋaaniro lya Mukama,
    aligabanyaamu ettaka ku bululu.
(F)Bannabbi baabwe boogera nti, “Temuwa bunnabbi,
    Temuwa bunnabbi ku bintu ebyo;
    tewali kabi kagenda kututuukako.”
(G)Ekyo kye ky’okuddamu ggwe ennyumba ya Yakobo?
    Olowooza Omwoyo wa Mukama asunguwalira bwereere, si lwa bulungi bwo?
    Ebigambo bye tebiba birungi eri abo abakola obulungi?
Ennaku zino abantu bange bannyimukiddeko
    ng’omulabe.
Basika ne bambula eminagiro emirungi
    ne baggigya ku migongo gy’abayise ababa beetambulira mu mirembe,
    ng’abasajja abakomawo okuva mu lutabaalo.
(H)Bakazi b’abantu bange mubagoba
    mu mayumba gaabwe amalungi,
abaana baabwe ne mubaggyirako ddala buli mukisa
    oguva eri Katonda.
10 (I)Muyimuke mugende,
    kubanga kino tekikyali kiwummulo kyammwe;
olw’ebikolwa ebibi bye mukijjuzza,
    kyonoonese obutaddayo kuddaabirizika.
11 (J)Omuntu bw’ajja n’omwoyo ogw’obulimba, n’agamba nti,
    “Ka mbabuulire ku ssanyu ly’omwenge gwe baagala era gwe banoonya,”
    oyo y’aba nnabbi w’abantu abo.

12 (K)“Ddala ddala ndibakuŋŋaanya mwenna, ggwe Yakobo;
    ndikuŋŋaanya abo abaasigalawo ku Isirayiri.
Ndibakuŋŋaanya ng’akuŋŋaanya endiga ez’omu ddundiro,
    ng’ekisibo mu ddundiro lyakyo,
    ekifo kirijjula abantu.
13 (L)Oyo aggulawo ekkubo alibakulembera okubaggya mu buwaŋŋanguse,
    abayise mu mulyango abafulumye.
Era kabaka waabwe alibakulembera,
    Mukama alibakulembera.”

Matayo 24:15-31

15 (A)“Noolwekyo bwe muliraba ‘eky’omuzizo eky’entiisa,’ nnabbi Danyeri kye yayogerako, nga kiyimiridde mu kifo ekitukuvu asoma bino ategeere, 16 n’abo abalibeera mu Buyudaaya baddukiranga mu nsozi. 17 (B)Alibeera waggulu ku kasolya, takkanga kuyingira mu nnyumba ye kubaako byaggyamu. 18 N’oyo alibeera mu nnimiro taddangayo eka okunonayo olugoye lwe. 19 (C)Naye ziribasanga abakyala abaliba balina embuto, n’abaliba bayonsa mu nnaku ezo. 20 Naye musabe ekiseera ky’okudduka kireme kutuukira mu biro bya butiti oba ku lunaku lwa Ssabbiiti. 21 (D)Kubanga wagenda kubeerawo okubonyaabonyezebwa okunene ennyo okutabangawo kasookedde ensi ebaawo era tewaliddayo kubaawo kikifaanana. 22 (E)Singa ennaku ezo tezakendezebwako, tewandibadde n’omu alokolebwa. Naye olw’abalonde be ennaku ezo zirikendezebwako. 23 (F)Bwe wabangawo omuntu agamba nti, ‘Kristo ali wano, oba ali wali,’ temubakkirizanga. 24 (G)Kubanga bakristo ab’obulimba balijja, ne bannabbi ab’obulimba nabo balijja ne bakola eby’amagero n’ebyewuunyo; nga singa kibadde kisoboka, bandilimbyelimbye n’abalonde ba Katonda. 25 Laba mbalabudde nga bukyali!”

26 “Noolwekyo omuntu bw’abagambanga nti Kristo akomyewo ali eri mu ddungu, temugendangayo. Oba nti ali mu bisenge eby’omunda, temukkirizanga. 27 (H)Kubanga nga bwe mulaba okumyansa kw’eraddu nga kutabaala ebire okuva ebuvanjuba ne kusala okulaga ebugwanjuba, n’okujja kw’Omwana w’Omuntu bwe kutyo. 28 (I)Era mukimanyi nti awabeera ekifudde awo ensega we zikuŋŋaanira.”

29 (J)“Amangu ddala ng’okubonyaabonyezebwa

“kw’omu nnaku ezo kuwedde,
    ‘enjuba eriggyako ekizikiza
era n’omwezi teguliyaka,
    n’emmunyeenye zirigwa n’amaanyi g’eggulu galinyeenyezebwa.’ ”

30 (K)“Oluvannyuma lw’ebyo akabonero k’Omwana w’omuntu kalirabika ku ggulu, era walibaawo okukungubaga kw’amawanga gonna ag’omu nsi, era baliraba Omwana w’Omuntu ng’ajja ku bire by’eggulu, mu maanyi ne mu kitiibwa ekinene. 31 (L)Era alituma bamalayika be nga bwe bafuuwa amakondeere mu ddoboozi ery’omwanguka, ne bakuŋŋaanya abalonde be nga babaggya mu mpewo ennya okuva ku ludda olumu olw’eggulu okutuuka ku ludda olulala.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.