Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
8 (A)Wuliriza omwagalwa wange,
Laba, ajja
ng’abuukirabuukira ku nsozi,
ng’azinira ku busozi.
9 (B)Omwagalwa wange ali ng’empeewo oba ennangaazi ento.
Laba ayimiridde emabega w’olukomera lwaffe,
Alingiza mu madirisa,
alabikira mu mulimu ogulukibwa ogw’omu ddirisa.
10 Omwagalwa wange yaŋŋamba nti,
“Golokoka, Owoomukwano,
omulungi wange, ojje tugende,
11 kubanga laba ttoggo aweddeko,
n’enkuba eweddeyo.
12 Ebimuli bimulisizza,
n’ebiro eby’okuyimba bituuse,
era n’okukaaba kw’amayiba
kuwulirwa mu nsi.
13 (C)Omutiini[a] gubala ettiini zaagwo,
n’emizabbibu gimulisizza ne gibunya akawoowo kaagyo.
Golokoka Owoomukwano,
omulungi wange ojje tugende.”
Abaana ba Yakobo
31 (A)Mukama bwe yalaba nga Leeya akyayibbwa n’aggula olubuto lwe. Laakeeri ye yali mugumba. 32 (B)Leeya n’aba olubuto, n’azaala omwana wabulenzi. N’amutuuma erinnya Lewubeeni, ng’agamba nti, “Kubanga Mukama alabye okubonyaabonyezebwa kwange: ddala baze ananjagala.”
33 (C)N’aba olubuto olulala, n’azaala omwana mulenzi, n’agamba nti, “Kubanga Mukama alabye nga ndi mukyawe, kyavudde ampa omwana owoobulenzi omulala; n’amutuuma erinnya Simyoni.” 34 (D)Ate n’aba olubuto n’azaala omwana mulenzi, n’agamba nti, “Kale kaakano baze ajja kuba bumu nange, kubanga mmuzaalidde abaana abalenzi basatu.” Omwana kyeyava atuumwa Leevi.
35 (E)Era Leeya n’aba olubuto n’azaala omwana wabulenzi, n’agamba nti, “Ku luno nzija kutendereza Mukama,” kyeyava amutuuma Yuda; n’alekayo okuzaala.
Yesu Anaaza Abayigirizwa be Ebigere
13 (A)Ku lunaku olukulembera Embaga ey’Okuyitako, Yesu yamanya ng’ekiseera kye kituuse ave mu nsi muno agende eri Kitaawe. Yesu bwe yayagala ababe mu nsi, yabalagira ddala okwagala kwe kwonna okutuusiza ddala ku kiseera ekisembayo.
2 Bwe baali balya ekyekiro, Setaani yali yamaze dda okuteeka mu mutima gwa Yuda Isukalyoti, omwana wa Simooni, ekirowoozo eky’okulya mu Yesu olukwe. 3 (B)Yesu bwe yamanya nti Kitaawe yateeka byonna mu mikono gye, era nga yava wa Katonda ate gy’adda, 4 n’asituka ku mmere, ne yeggyako omunagiro gwe, ne yeesiba ettawulo mu kiwato, 5 (C)n’ateeka amazzi mu bensani, n’atandika okunaaza abayigirizwa be ebigere nga bw’abasiimuuza ettawulo gye yali yeesibye.
6 Bwe yatuuka ku Simooni Peetero, Peetero n’amugamba nti, “Mukama wange, ggwe onnaaze ebigere?”
7 (D)Yesu n’amuddamu nti, “Ensonga enkozesa kino togimanyi kaakano, wabula ekiseera kirituuka n’ogitegeera.”
8 Peetero n’amuddamu nti, “Nedda, tolinnaaza bigere emirembe gyonna.” Yesu n’amugamba nti, “Bwe siikunaaze bigere, nga tossa kimu nange.”
9 Simooni Peetero n’amugamba nti, “Mukama wange, tonnaaza bigere byokka, naye nnaaza n’emikono n’omutwe.”
10 (E)Yesu n’amuddamu nti, “Anaabye omubiri, aba teyeetaaga kunaaba okuggyako ebigere byokka, alyoke abe omulongoofu. Kaakano muli balongoofu, naye si mwenna.” 11 Kubanga Yesu yamanya anaamulyamu olukwe. Kyeyava agamba nti, “Si mwenna abalongoofu.”
12 Yesu bwe yamala okubanaaza ebigere n’ayambala omunagiro gwe, n’addayo n’atuula, n’abagamba nti, “Kye mbakoze mukitegedde? 13 (F)Mmwe mumpita Muyigiriza era Mukama wammwe, mukola bulungi okumpita bwe mutyo kubanga ddala bwe ntyo bwe ndi. 14 (G)Kale Nze Mukama wammwe era Omuyigiriza, nga bwe mbanaazizza ebigere, nammwe musaana okunaazagananga ebigere. 15 (H)Mbalaze ekyokulabirako, mukolenga nga Nze bwe mbakoze. 16 (I)Ddala ddala mbagamba nti, Omuddu tasinga mukama we. Era n’oyo atumibwa tasinga oli amutumye. 17 (J)Bwe mumanya ebintu bino muba n’omukisa bwe mubikola.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.