Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Olubereberye 24:34-38

Omuddu Annyonnyola Ekyamutwala

34 Awo n’agamba nti, “Ndi muddu wa Ibulayimu. 35 (A)Mukama yawa mukama wange emikisa mingi, era afuuse mukulu, amuwadde ebisibo by’endiga n’amagana g’ente, ne ffeeza ne zaabu, abaweereza abasajja n’abaweereza abakazi era n’eŋŋamira awamu n’endogoyi. 36 (B)Era Saala muka mukama wange bwe yali ng’akaddiye yamuzaalira omwana owoobulenzi, era mukama wange awadde oyo byonna by’alina. 37 (C)Mukama wange yandayiza n’aŋŋamba nti, ‘Towasizanga mutabani wange mukazi ava mu Bakanani ba nnyini nsi mwe mbeera. 38 (D)Wabula oligenda mu nnyumba ya kitange, mu bantu bange, n’owasiza mutabani wange omukazi okuva omwo.’

Olubereberye 24:42-49

42 (A)“Leero bwe ntuuse ku luzzi, ne ŋŋamba nti, ‘Ayi Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, obanga onoowa omukisa olugendo luno lwe ndiko, 43 (B)laba, nnyimiridde awali oluzzi, kale omuwala anajja okusena amazzi, ne mugamba nti, “Nkusaba ku tuzzi mu nsuwa yo nyweko,” 44 n’anziramu nti, “Nnywa, era n’eŋŋamira zo nazo nzija kuzisenera,” oyo y’aba abeera omukazi Mukama gw’alondedde mutabani wa mukama wange.’

45 (C)“Laba, bwe nabadde nga nkyayogera mu mutima gwange, Lebbeeka n’avaayo n’ensuwa ye ng’eri ku kibegabega kye, n’aserengeta ku luzzi n’asena amazzi. Ne mugamba nti, ‘Nkusaba ompe nyweko.’

46 (D)“Nassa mangu ensuwa ye okuva ku kibegabega kye, n’agamba nti, ‘Nnywa, era nnaanywesa n’eŋŋamira zo.’

47 (E)“Kwe ku mubuuza nti, ‘Oli muwala w’ani?’ N’anziramu nti, ‘Ndi muwala wa Besweri, mutabani wa Nakoli, Mirika gwe yamuzaalira.’ Ne nteeka empeta ku nnyindo ye n’ebikomo ku mikono gye. 48 (F)Awo ne nkutamya omutwe gwange ne nsinza Mukama ne muwa ekitiibwa, Katonda wa mukama wange Ibulayimu eyankulembera nannuŋŋamya mu lugendo lwange okuwasiriza mutabani wa mukama wange omukazi okuva mu bantu ba mukama wange. 49 (G)Kale kaakano obanga mu mazima munaakolera mukama wange ebyekisa, mumbuulire, era obanga si bwe kityo mumbuulire; ndyoke mmanye eky’okukola.”

Olubereberye 24:58-67

58 Ne bayita Lebbeeka, ne bamubuuza nti, “Onoogenda n’omusajja ono?” N’addamu nti, “Nnaagenda.”

59 (A)Awo ne basiibula Lebbeeka mwannyinaabwe, n’omuweereza we omuwala, n’omuweereza wa Ibulayimu omusajja awamu n’abasajja be. 60 (B)Ne basabira Lebbeeka omukisa ne bamugamba nti,

“Mwannyinaffe beera nnyina
    w’enkumi n’enkumi,
abaana n’abazzukulu bo balyenga
    ebibuga by’abalabe baabwe.”

61 Awo Lebbeeka n’abaweereza be ne basituka ne beebagala eŋŋamira ne bagenda n’omuweereza wa Ibulayimu omusajja, bw’atyo omuddu n’atwala Lebbeeka ne bagenda.

Isaaka ne Lebbeeka Bafumbiriganwa

62 (C)Olwo Isaaka yali ng’avudde e Beerirakayiroyi ng’ali mu Negevu. 63 (D)Awo bwe yali ng’atambula nga bw’afumiitiriza mu nnimiro akawungeezi, n’ayimusa amaaso ge n’alengera eŋŋamira nga zijja. 64 Ne Lebbeeka n’ayimusa amaaso ge. Bwe yalengera Isaaka n’ava ku ŋŋamira, 65 n’abuuza omuddu nti, “Ani oyo gwe nnengera mu nnimiro ajja okutusisinkana?”

Omuddu n’addamu nti, “Ye mukama wange.” Lebbeeka kwe kutoola omunagiro gwe ne yeebikkirira.

66 Awo omuddu n’ategeeza Isaaka byonna nga bwe byagenda. 67 (E)Awo Isaaka n’atwala Lebbeeka n’amuyingiza mu weema eyali eya Saala nnyina, n’afuuka mukazi we n’amwagala. Isaaka n’alyoka afuna essanyu kasookedde afiirwa nnyina.[a]

Zabbuli 45:10-17

10 (A)Muwala, wuliriza bye nkugamba:
    “Weerabire ab’ewammwe n’ab’omu nnyumba ya kitaawo.
11 (B)Kabaka akulowoozaako nnyo, kubanga walungiwa n’oyitirira;
    nga bw’ali mukama wo, muwenga ekitiibwa.”
12 (C)Muwala w’e Ttuulo[a] alijja n’ekirabo,
    abasajja abagagga balikwegayirira obalage ekisa kyo.
13 (D)Omuwala wa kabaka ajjudde ekitiibwa mu kisenge kye,
    ng’ayambadde ekyambalo ekyalukibwa ne zaabu.
14 (E)Aleetebwa mu maaso ga kabaka ng’ayambadde ebyambalo eby’emidalizo emingi.
    Emperekeze ze zimuwerekerako;
    bonna ne bajja gy’oli.
15 Baleetebwa nga bajjudde essanyu n’okweyagala,
    ne bayingira mu lubiri lwa kabaka.

16 Batabani bo baliweebwa ebifo bya bajjajjaabwe,
    olibafuula ng’abalangira mu nsi omwo.
17 (F)Erinnya lyo linajjukirwanga emirembe gyonna.
    Amawanga kyeganaavanga gakutendereza emirembe n’emirembe.

Oluyimba 2:8-13

(A)Wuliriza omwagalwa wange,
    Laba, ajja
ng’abuukirabuukira ku nsozi,
    ng’azinira ku busozi.
(B)Omwagalwa wange ali ng’empeewo oba ennangaazi ento.
    Laba ayimiridde emabega w’olukomera lwaffe,
Alingiza mu madirisa,
    alabikira mu mulimu ogulukibwa ogw’omu ddirisa.
10 Omwagalwa wange yaŋŋamba nti,
    “Golokoka, Owoomukwano,
    omulungi wange, ojje tugende,
11 kubanga laba ttoggo aweddeko,
    n’enkuba eweddeyo.
12 Ebimuli bimulisizza,
    n’ebiro eby’okuyimba bituuse,
era n’okukaaba kw’amayiba
    kuwulirwa mu nsi.
13 (C)Omutiini[a] gubala ettiini zaagwo,
    n’emizabbibu gimulisizza ne gibunya akawoowo kaagyo.
Golokoka Owoomukwano,
    omulungi wange ojje tugende.”

Abaruumi 7:15-25

15 (A)Kubanga kye nkola sikimanyi. Kye njagala si kye nkola, naye kye nkyawa kye nkola. 16 (B)Newaakubadde nga nkola kye mmanyi nga kikyamu, nzikiriza ng’amateeka malungi. 17 (C)Noolwekyo si nze nkola ebintu ebyo ebibi, wabula ekibi ekiri mu nze. 18 (D)Mmanyi nga mu nze, temuli kalungi n’akamu. Ne bwe njagala okukola ekirungi, tewali kirungi kye nkola. 19 (E)Ekirungi kye njagala okukola si kye nkola, naye ekibi kye saagala kye nkola. 20 (F)Naye obanga kye saagala kye nkola, si nze mba nkikola, wabula ekibi ekibeera mu nze.

21 (G)Noolwekyo nzudde mu mateeka nga bwe njagala okukola ebirungi, ekibi kimbeera kumpi. 22 (H)Mu nze mu muntu ow’omunda njagala nnyo okugondera amateeka ga Katonda. 23 (I)Naye mu mubiri gwange gwonna, ndaba amateeka ag’enjawulo nga gawakana n’etteeka lya Katonda amagezi gange ge limanyi. Ekyo kinfuula omusibe w’amateeka ag’ekibi, ekikolera mu mubiri gwange. 24 (J)Nga ndi muntu munaku! Ani alindokola mu mubiri guno ogugenda okufa? 25 Kyokka Katonda yeebazibwe mu Yesu Kristo Mukama waffe.

Nze kennyini mu birowoozo byange, ndi muddu w’amateeka ga Katonda era gwe mpeereza, newaakubadde ng’okwegomba kwange okw’omubiri, mpeereza etteeka ly’ekibi.

Matayo 11:16-19

16 “Eggwanga lino nnaaligeraageranya ku ki? Bafaanana ng’abaana abato abazannya emizannyo gyabwe mu katale, nga bagamba bato bannaabwe nti,

17 “ ‘Twabafuuyira omulere,
    ne mutazina;
ne tuyimba oluyimba olw’okukungubaga,
    ne mutakungubaga.’

18 (A)Kubanga Yokaana eyali talya wadde okunywa yajja ne mugamba nti, ‘Aliko dayimooni.’ 19 (B)Omwana w’Omuntu, bwe yajja ng’alya era ng’anywa, ne boogera nti, ‘Wa mululu, muntu munywi, era mukwano gw’abasolooza b’omusolo n’aboonoonyi. B’abeeramu!’ So nga amagezi geeragira mu bikolwa.”

Matayo 11:25-30

Abakooye n’Abazitoowereddwa

25 (A)Yesu n’asaba bw’ati nti, “Ayi Kitange, Mukama w’eggulu n’ensi, nkwebaza kubanga ebigambo byo bino eby’amazima wabikisa abo abeeyita ab’amagezi ennyo, naye n’obibikkulira abaana abato. 26 Weewaawo Kitange, bw’otyo bwe wasiima.”

27 (B)“Kitange yankwasa ebintu byonna era Kitange yekka y’amanyi Omwana, nange Omwana Nze nzekka Nze mmanyi Kitange, n’abo Omwana b’aba ayagadde okulaga Kitaawe nabo bamumanyi.”

28 (C)“Mujje gye ndi mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. 29 (D)Musitule ekikoligo kyange, muyigire ku nze, kubanga ndi muwombeefu era omuteefu mu mutima, n’emyoyo gyammwe girifuna ekiwummulo. 30 (E)Kubanga ekikoligo kyange kyangu, n’omugugu gwange teguzitowa.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.