Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 45:10-17

10 (A)Muwala, wuliriza bye nkugamba:
    “Weerabire ab’ewammwe n’ab’omu nnyumba ya kitaawo.
11 (B)Kabaka akulowoozaako nnyo, kubanga walungiwa n’oyitirira;
    nga bw’ali mukama wo, muwenga ekitiibwa.”
12 (C)Muwala w’e Ttuulo[a] alijja n’ekirabo,
    abasajja abagagga balikwegayirira obalage ekisa kyo.
13 (D)Omuwala wa kabaka ajjudde ekitiibwa mu kisenge kye,
    ng’ayambadde ekyambalo ekyalukibwa ne zaabu.
14 (E)Aleetebwa mu maaso ga kabaka ng’ayambadde ebyambalo eby’emidalizo emingi.
    Emperekeze ze zimuwerekerako;
    bonna ne bajja gy’oli.
15 Baleetebwa nga bajjudde essanyu n’okweyagala,
    ne bayingira mu lubiri lwa kabaka.

16 Batabani bo baliweebwa ebifo bya bajjajjaabwe,
    olibafuula ng’abalangira mu nsi omwo.
17 (F)Erinnya lyo linajjukirwanga emirembe gyonna.
    Amawanga kyeganaavanga gakutendereza emirembe n’emirembe.

Olubereberye 27:1-17

27 (A)Awo Isaaka bwe yali ng’akaddiye nnyo n’amaaso ge nga gayimbadde, nga takyayinza kulaba, n’ayita Esawu mutabani we omukulu, n’amugamba nti, “Mutabani,” n’amuddamu nti, “Nze nzuuno.”

(B)Isaaka n’amugamba nti, “Laba, nkaddiye, simanyi lwe ndifa. (C)Kale kaakano kwata by’oyizza, omutego gwo n’obusaale bwo, ogende mu nsiko onjiggire yo omuyiggo. (D)Onteekereteekere ekyokulya ekiwooma ennyo kye njagala, okindeetere nkirye, ndyoke nkusabire omukisa nga sinnafa.”

Lebbeeka Asala Olukwe ne Yakobo

Ne Lebbeeka yali awo ng’awuliriza, Isaaka ng’agamba mutabani we omukulu Esawu. Awo Esawu bwe yagenda mu nsiko okuyigga omuyiggo aguleete, (E)Lebbeeka n’agamba mutabani we Yakobo owookubiri nti, “Mpulidde kitaawo ng’agamba muganda wo Esawu nti, ‘Ndeetera omuyiggo onteekereteekere ekyokulya ekiwooma obulungi, nkirye, ndyoke nkusabire omukisa eri Mukama nga sinnafa.’ (F)Kale nno kaakano mwana wange wulira kye nkugamba. Genda eri ekisibo ondeeteremu embuzi bbiri ennungi, nfumbire kitaawo ekyokulya ekiwooma, nga bw’ayagala, 10 okitwalire kitaawo akirye, alyoke akusabire omukisa nga tannafa.”

11 (G)Naye Yakobo n’agamba Lebbeeka nnyina nti, “Muganda wange Esawu musajja wa byoya, so nga nze ndi muweweevu. 12 (H)Singa kitange anampeeweetako, siifuuke mulimba gy’ali, ne nfuna ekikolimo mu kifo ky’okufuna omukisa?”

13 (I)Nnyina n’amuddamu nti, “Ekikolimo kyo kibe ku nze mwana wange; wulira ekigambo kyange ogende ozindeetere.”

14 Awo Yakobo n’agenda, n’azikwata n’azireeteera nnyina, n’ateekerateekera Isaaka ekyokulya ekiwooma nga bwe yayagala. 15 (J)Lebbeeka n’addira ebyambalo ebisinga obulungi ebya Esawu, mutabani we omukulu, ebyali mu nnyumba; n’abyambaza Yakobo mutabani we omuto, 16 era n’addira n’amaliba g’embuzi n’agamwambaza ku mikono ne ku bitundu ebyobulago ebiweweera. 17 N’alyoka addira ekyokulya ekiwooma n’omugaati bye yafumba, n’abikwasa Yakobo mutabani we.

Abaruumi 7:7-20

Okulwanagana n’Ekibi

(A)Kale tunaayogera ki? Amateeka kye kibi? Kikafuuwe. Singa tewaali mateeka, sanditegedde kibi. N’okwegomba kw’omubiri sandikutegeeredde ddala singa amateeka tegaagamba nti, “Teweegombanga.” (B)Ekibi kyeyambisa etteeka lino, ne kindeetera okwegomba okwa buli ngeri. Noolwekyo awatali mateeka, ekibi kiba kifu. Edda nali mulamu awatali mateeka, naye etteeka bwe lyajja, ekibi ne kiramuka, n’okufa ne nfa. 10 (C)Era ne nkizuula ng’etteeka eryali liteekwa okumpa obulamu, lye lyandetera okufa. 11 (D)Ekibi kyeyambisa ekiragiro ekyo ne kinnimba, era ne kinzita. 12 (E)Noolwekyo amateeka matukuvu, era n’ekiragiro kitukuvu, kiruŋŋamya era kirungi.

13 Kale ekirungi gye ndi, ate kye kyafuuka okufa? Nedda. Ekibi kye kyakozesa ekiragiro ekirungi kiryoke kinzite. Noolwekyo tulaba ekibi bwe kiri, ekibi ddala.

14 (F)Tumanyi ng’amateeka mwoyo, naye nze omuntu obuntu, natundibwa ng’omuddu nfugibwe ekibi. 15 (G)Kubanga kye nkola sikimanyi. Kye njagala si kye nkola, naye kye nkyawa kye nkola. 16 (H)Newaakubadde nga nkola kye mmanyi nga kikyamu, nzikiriza ng’amateeka malungi. 17 (I)Noolwekyo si nze nkola ebintu ebyo ebibi, wabula ekibi ekiri mu nze. 18 (J)Mmanyi nga mu nze, temuli kalungi n’akamu. Ne bwe njagala okukola ekirungi, tewali kirungi kye nkola. 19 (K)Ekirungi kye njagala okukola si kye nkola, naye ekibi kye saagala kye nkola. 20 (L)Naye obanga kye saagala kye nkola, si nze mba nkikola, wabula ekibi ekibeera mu nze.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.