Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 86:1-10

Okusaba kwa Dawudi.

86 (A)Otege okutu kwo, Ayi Mukama, owulire okusaba kwange, onnyanukule,
    kubanga ndi mwavu atalina kintu.
(B)Okuume obulamu bwange, kubanga nkuweereza n’obwesigwa.
    Katonda wange, ondokole
    nze omuddu wo akwesiga.
(C)Onsaasire, Ayi Mukama,
    kubanga olunaku lwonna nsiiba nkukoowoola.
(D)Osanyuse omuweereza wo Ayi Mukama;
    kubanga omwoyo gwange
    nguyimusa eyo gy’oli.

(E)Ddala ddala olina ekisa era osonyiwa, Ayi Mukama;
    n’abo bonna abakukoowoola obaagala nnyo.
Owulire okusaba kwange, Ayi Mukama;
    owulirize eddoboozi erikaabirira ekisa kyo.
(F)Bwe nnaabanga mu buzibu nnaakukoowoolanga;
    kubanga ononnyanukulanga.

(G)Mu bakatonda bonna tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama;
    era teriiyo akola bikolwa ng’ebibyo.
(H)Ayi Mukama amawanga gonna ge watonda
    ganajjanga mu maaso go ne gakusinza;
    era ne bagulumiza erinnya lyo ery’ekitiibwa.
10 (I)Kubanga oli mukulu, era okola ebyewunyisa;
    ggwe wekka ggwe Katonda.

Olubereberye 35:1-4

Katonda Azza Obuggya Endagaano ne Yakobo

35 (A)Katonda n’agamba Yakobo nti, “Golokoka oyambuke e Beseri, obeere eyo, ozimbire Katonda ekyoto, eyakulabikira bwe wadduka muganda wo Esawu.”

(B)Awo Yakobo n’agamba ab’omu nnyumba ye ne bonna abaali naye nti, “Muggyeewo bakatonda abalala abali nammwe, mwetukuze mukyuse ebyambalo byammwe, (C)tulyoke twambuke tugende e Beseri ndyoke nzimbire Katonda ekyoto, Katonda eyanziramu mu nnaku ez’okunakuwala kwange, era abadde nange buli gye ŋŋenze. (D)Awo ne bawa Yakobo bakatonda abalala bonna be baalina, n’empeta ezaali ku matu gaabwe;[a] Yakobo n’abiziika wansi w’omuvule ogwali okumpi ne Sekemu.”

Ebikolwa by’Abatume 5:17-26

Abatume Bayigganyizibwa

17 (A)Awo Kabona Asinga Obukulu, n’abo abaali naye ab’omu kibiina ky’Abasaddukaayo ne bajjula obuggya. 18 (B)Ne bakwata abatume ne babateeka mu kkomera ly’abantu bonna. 19 (C)Naye mu kiro, malayika wa Mukama n’ajja n’aggulawo enzigi z’ekkomera n’abafulumya, 20 (D)n’abagamba nti, “Mugende muyimirire mu Yeekaalu mutegeeze abantu bonna ebigambo eby’obulamu buno.”

21 (E)Bwe baawulira ebyo ne bayingira mu Yeekaalu mu matulutulu, ne bayigiriza.

Kabona Asinga Obukulu ne be yali nabo ne bajja ne batuuza Olukiiko Olukulu olw’abakulu b’abaana ba Isirayiri, ne balyoka batuma mu kkomera okuleeta abasibe babawozese. 22 Naye abaweereza bwe baatuuka mu kkomera tebaabasangamu. Ne bakomawo ne bategeeza Olukiiko Olukulu 23 nga bagamba nti, “Tusanze enzigi z’ekkomera nga nsibe n’abakuumi bonna n’abaserikale nga bayimiridde ku nzigi; naye bwe tuziggudde, tetusanzeemu muntu n’omu.” 24 (F)Awo omukulu w’abaserikale ba Yeekaalu awamu ne bakabona abakulu bwe baawulira ebyo ne basamaalirira nga beewuunya ebintu ebyo gye binaakoma.

25 Omuntu omu n’ajja n’abategeeza nti, “Abasajja be mwasibye mu kkomera bali eri mu Yeekaalu bayigiriza bantu.” 26 (G)Awo omukulu w’abaserikale ba Yeekaalu, n’agenda n’abaserikale ne babaleeta, si lwa maanyi, nga batya abantu okwegugunga n’okukuba abaserikale amayinja.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.