Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
93 (A)Mukama afuga; ayambadde ekitiibwa.
Mukama ayambadde ekitiibwa
era yeesibye amaanyi.
Ensi yanywezebwa;
teyinza kunyeenyezebwa.
2 (B)Entebe yo ey’obwakabaka yanywezebwa okuva edda n’edda.
Ggwe, Ayi Katonda, oli wa mirembe na mirembe.
3 (C)Amayengo gatumbidde, Ayi Mukama;
ennyanja ziyimusizza amaloboozi gaazo,
n’amazzi g’ennyanja gayira.
4 (D)Mukama, Ali Waggulu Ennyo,
oli wa maanyi okusinga okuyira kw’amazzi amangi;
oli wa maanyi okusinga amayengo g’ennyanja.
5 (E)Ayi Mukama ebiragiro byo binywevu,
n’obutukuvu bujjudde ennyumba yo,
ennaku zonna.
Okutwalibwa kwa Eriya mu Ggulu
2 (A)Awo Mukama bwe yali ng’anaatera okutwala Eriya mu ggulu mu mbuyaga ey’amaanyi, nga Eriya ne Erisa bava e Girugaali, 2 (B)Eriya n’agamba Erisa nti, “Sigala wano, ŋŋende e Beseri[a] Mukama gy’antumye.” Naye Erisa n’amuddamu nti, “Mazima nga Mukama bw’ali omulamu, era nga nawe bw’oli omulamu, siireme kugenda naawe.”
Awo ne baserengeta bonna e Beseri. 3 (C)Ekibiina ekya bannabbi abaali e Beseri ne bagenda eri Erisa ne bamugamba nti, “Okimanyi nga Mukama anaatwala mukama wo olwa leero?”
Erisa n’abaddamu nti, “Nkimanyi, naye temukyogerako.”
4 (D)Eriya n’addamu omulundi ogwokubiri n’agamba Erisa nti, “Sigala wano, ŋŋende e Yeriko Mukama gy’antumye.” Naye Erisa n’amuddamu nti, “Mazima nga Mukama bw’ali omulamu, era nga nawe bw’oli omulamu, siireme kugenda naawe.”
Awo ne bagenda bonna e Yeriko.
5 (E)Awo ekibiina ekya bannabbi abaali e Yeriko ne batuukirira Erisa ne bamugamba nti, “Okimanyi nga Mukama anaatwala mukama wo olwa leero?” Erisa n’abaddamu nti, “Weewaawo nkimanyi, naye temukyogerako.”
6 (F)Eriya n’addamu nate n’amugamba nti, “Sigala wano, nserengete ku Yoludaani Mukama gy’antumye.” Naye Erisa n’amuddamu nti, “Mazima nga Mukama bw’ali omulamu, era nga nawe bw’oli omulamu, siireme kugenda naawe.”
Awo ne batambula bombi.
7 Ne waba ekibiina kya bannabbi amakumi ataano abaali bayimiridde akabanga okuva Eriya ne Erisa we baali ku lubalama lw’omugga Yoludaani. 8 (G)Awo Eriya n’addira omunagiro gwe n’aguzinga wamu n’akuba amazzi ne gaawulibwamu, agamu ne gadda ku luuyi olwa ddyo n’amalala ku luuyi olwa kkono, bombi ne bayita ku lukalu.
9 (H)Awo bwe baamala okusomoka, Eriya n’abuuza Erisa nti, “Kiki ky’oyagala nkukolere nga sinnaba kukuggyibwako?” Erisa n’amuddamu nti, “Nkusaba, nsikire emigabo ebiri egy’Omwoyo akuliko.” 10 N’amugamba nti, “Ky’osabye kigambo kizibu, naye bw’onondaba nga ntwalibwa, kale kinaaba nga bw’osabye, naye bw’otondabe tekiibe bwe kityo.” 11 (I)Awo bwe baali batambula nga bwe banyumya bokka na bokka, ne walabika eggaali ey’omuliro n’embalaasi ez’omuliro ne zibaawula, era mu kiseera kye kimu Eriya n’atwalibwa mu ggulu mu mbuyaga ey’amaanyi. 12 (J)Awo Erisa bwe yalaba ekyo, n’ayogerera waggulu nti, “Kitange, Kitange, amagaali n’abeebagala embalaasi aba Isirayiri!” Erisa n’ataddamu kumulaba nate. N’addira engoye ze yali ayambadde, n’aziyuzaayuza.
Okuggyibwa mu kufa n’okufuulibwa abalamu
2 (A)Edda mwali mufiiridde mu byonoono byammwe ne mu bibi byammwe. 2 (B)Ebyo bye mwatambulirangamu ng’emirembe egy’ensi bwe giri, nga mufugibwa omwoyo ogw’omukulu w’obuyinza obw’omu bbanga, omwoyo ogwa Setaani, ogufuga abajeemu bonna. 3 (C)Edda naffe twatambuliranga mu kwegomba kw’emibiri gyaffe, nga tukola ebyo ebyegombebwanga omubiri n’ebirowoozo. Era okufaanana ng’abantu abalala bonna, naffe mu buzaaliranwa twali baakubonerezebwa ng’abalala bonna. 4 Kyokka olw’okwagala kwe okungi, n’ekisa kye ekingi, 5 (D)ne bwe twali nga tufiiridde mu bibi byaffe, yatufuula abalamu awamu ne Kristo. Mwalokolebwa lwa kisa. 6 (E)Katonda yatuzuukiriza wamu ne Kristo okuva mu kufa ne tufuna obulamu, era atutuuzizza mu bifo eby’omu ggulu, okumpi ne Kristo Yesu. 7 (F)Ekyo Katonda yakikola alyoke alage, mu mirembe egigenda okujja, ekisa kye ekingi kye yatukwatirwa mu Kristo Yesu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.