Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Okusaba kw’oyo ali mu buyinike ng’ayigganyizibwa nga yeeyongedde okunafuwa, n’afukumula byonna ebimuli ku mutima mu maaso ga Mukama.
102 (A)Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama,
okkirize okukoowoola kwange kutuuke gy’oli.
2 (B)Tonneekweka
mu biseera eby’obuyinike bwange.
Ntegera okutu kwo
onnyanukule mangu bwe nkukoowoola!
3 (C)Kubanga ennaku zange zifuumuuka ng’omukka,
n’amagumba gange gaaka ng’amanda.
4 (D)Omutima gwange gulinnyirirwa ng’omuddo, era guwotose;
neerabira n’okulya emmere yange.
5 Olw’okwaziirana kwange okunene,
nzenna nfuuse ŋŋumbagumba.
6 (E)Ndi ng’ekiwuugulu eky’omu ddungu,
era ng’ekiwuugulu eky’omu nsiko.
7 (F)Nsula ntunula,
nga ndi ng’ekinyonyi ekitudde kyokka ku kasolya k’ennyumba.
8 Abalabe bange banvuma olunaku lwonna;
abo abanduulira bakozesa linnya lyange nga bakolima.
9 (G)Kubanga ndya evvu ng’alya emmere,
n’amaziga gange ne geegattika mu kyokunywa kyange.
10 (H)Olw’obusungu n’okunyiiga kwo;
onneegobyeko n’onsuula eyo.
11 (I)Ennaku zange ziri ng’ekisiikirize ky’olweggulo nga buziba;
mpotoka ng’omuddo.
12 (J)Naye ggwe, Ayi Mukama, obeera mu ntebe yo ey’obwakabaka emirembe n’emirembe;
erinnya lyo linajjukirwanga ab’omu mirembe gyonna.
13 (K)Olisituka n’osaasira Sayuuni,
kino kye kiseera okulaga Sayuuni omukwano;
ekiseera kye wateekateeka kituuse.
14 Kubanga amayinja gaakyo abaweereza bo bagaagala nnyo,
n’enfuufu y’omu kibuga ekyo ebakwasa ekisa.
15 (L)Amawanga gonna ganaatyanga erinnya lya Mukama;
ne bakabaka bonna ab’ensi banaakankananga olw’ekitiibwa kyo.
16 (M)Kubanga Mukama alizimba Sayuuni buto,
era n’alabika mu kitiibwa kye.
17 (N)Alyanukula okusaba kw’abanaku;
talinyooma kwegayirira kwabwe.
Empagi ey’Ekire n’Empagi ey’Omuliro
17 (A)Awo abantu, bwe baasitula nga Falaawo amaze okubaleka, Katonda teyabayisa mu kkubo eriyita mu nsi y’Abafirisuuti, newaakubadde lye lyali ery’okumpi.[a] Kubanga Katonda yagamba nti, “Singa bagwa mu lutalo, bayinza okwejjusa ne bawetamu ne baddayo e Misiri.” 18 (B)Bw’atyo Katonda n’abeekooloobya ng’abayisa mu kkubo ery’omu ddungu eriggukira ku Nnyanja Emyufu. Abaana ba Isirayiri baava mu nsi y’e Misiri nga bakutte ebyokulwanyisa byabwe nga beetegekedde okulwana.
19 (C)Awo Musa n’avaayo n’amagumba ga Yusufu, kubanga Yusufu yali alayizza abaana ba Isirayiri. Yabagamba nti, “Ddala, ddala Mukama agenda kubadduukirira. Kale, amagumba gange mugendanga nago nga muva wano.”
20 (D)Bwe baava e Sukkosi ne bakuba eweema zaabwe mu Yesamu eddungu we litandikira. 21 (E)Emisana Mukama yabakulemberanga ng’ali mu mpagi ey’ekire okubalaga ekkubo, n’ekiro ng’ali mu mpagi ey’omuliro okubamulisiza, balyoke batambulenga emisana n’ekiro. 22 Empagi ey’ekire ey’emisana, n’empagi ey’omuliro ey’ekiro tezaggibwawo mu maaso g’abantu obudde bwonna.
17 (A)“Ekiseera ky’ekisuubizo bwe kyagenda kisembera, Katonda kye yasuubiza Ibulayimu, abantu ne beeyongera ne baala mu Misiri. 18 (B)Awo kabaka omulala eyali tamanyi Yusufu n’atandika okufuga Misiri. 19 (C)Kabaka oyo n’asalira eggwanga lyaffe amagezi, n’abonyaabonya bajjajjaffe, ng’abasuuza abaana baabwe abawere baleme okuba abalamu.
20 (D)“Mu biseera ebyo ne Musa n’azaalibwa, n’ayagalwa nnyo Katonda. Bakadde be ne bamulabirira mu nnyumba yaabwe okumala emyezi esatu. 21 (E)Bwe yalekebwa mu mugga, muwala wa Falaawo n’amulonda n’amutwala n’amulera nga mutabani we. 22 (F)Musa n’ayigirizibwa mu magezi gonna ag’Abamisiri, n’akula nga w’amaanyi mu bigambo ne mu bikolwa.
23 “Awo Musa bwe yali awezezza emyaka amakumi ana, n’asalawo mu mutima gwe okukyalirako baganda be, abaana ba Isirayiri. 24 N’alaba Omuyisirayiri ng’anyigirizibwa, n’amutaasa, n’atta Omumisiri ng’awoolera eggwanga olw’oyo eyali anyigirizibwa. 25 Musa n’alowooza nti baganda be banaategeera nga Katonda amutumye okubalokola, naye ne batakitegeera. 26 Olunaku olwaddirira n’alaba abalwana. N’agezaako okubatabaganya ng’abagamba nti, ‘Abasajja lwaki mulwana nga muli baaluganda?’
27 “Naye oli eyali ayiikiriza munne n’asindika eri Musa ng’agamba nti, ‘Ani eyakufuula omufuzi waffe era omulamuzi waffe? 28 Oyagala kunzita nga bwe watta Omumisiri jjo?’ 29 (G)Musa bwe yawulira ebyo, n’adduka n’agenda abeera mugenyi mu nsi ya Midiyaani, era eyo n’azaalirayo abaana aboobulenzi babiri.
30 “Awo nga wayiseewo emyaka amakumi ana, Musa bwe yali ng’ali mu ddungu ly’olusozi Sinaayi, malayika n’amulabikira mu muliro ogwaka, wakati mu kisaka. 31 (H)Musa bwe yakiraba ne yeewuunya. N’agenda ng’asemberera ekisaka yeetegereze, eddoboozi lya Mukama ne limugamba nti, 32 (I)‘Nze Katonda wa bajjajja bo, Katonda wa Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo.’ Musa n’akankana, era n’atasobola na kwongera kutunulayo.
33 (J)“Awo Mukama n’agamba Musa nti, ‘Gyamu engatto zo, kubanga ekifo w’oyimiridde kitukuvu. 34 (K)Ndabye okubonaabona kw’abantu bange mu Misiri, ne mpulira n’okusinda kwabwe. Kyenvudde nzika okubalokola. Kaakano jjangu, nkutume e Misiri.’
35 (L)“Oyo Musa gwe baagaana nga bagamba nti, ‘Ani eyakufuula omufuzi era omulamuzi waffe?’ Oyo Katonda gwe yatuma ng’ayita mu malayika eyamulabikira mu kisaka eky’omuliro, abeere omufuzi waabwe era omununuzi waabwe. 36 (M)Oyo n’abaggyayo ng’amaze okukola ebyamagero n’ebyewuunyisa, mu nsi y’e Misiri, n’abayisa mu Nnyanja Emyufu[a], n’abatambuza mu ddungu okumala emyaka amakumi ana.
37 (N)“Oyo ye Musa eyategeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Katonda agenda kubayimusiza Nnabbi ng’amuggya mu baganda bammwe nga nze.’ 38 (O)Era Musa oyo ye yali ne bajjajjaffe mu ddungu nga bakuŋŋaanye nga malayika ayogera naye ku lusozi Sinaayi, era yaweebwa ebigambo eby’obulamu okubitutuusaako.
39 (P)“Naye bajjajjaffe baagaana okumugondera, ne bamujeemera, era mu mitima gyabwe ne baddayo e Misiri. 40 (Q)Ne bagamba Alooni nti, ‘Tukolere bakatonda abanaatukulembera, kubanga ono Musa eyatuggya mu nsi y’e Misiri tetumanyi kyabadde.’
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.