Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 116:1-4

116 (A)Mukama mmwagala,
    kubanga awulidde eddoboozi lyange n’okwegayirira kwange.
(B)Kubanga ateze okutu kwe gye ndi,
    kyennaavanga mmukoowoola ebbanga lyonna lye ndimala nga nkyali mulamu.

(C)Emiguwa gy’okufa gyansiba,
    n’okulumwa okw’emagombe kwankwata;
    ne nzijula ennaku nnyingi n’okutya.
(D)Ne ndyoka nkoowoola erinnya lya Mukama nti,
    “Ayi Mukama, ndokola.”

Zabbuli 116:12-19

12 Mukama ndimusasula ntya
    olw’ebirungi bye ebingi bwe bityo by’ankoledde?
13 (A)Nditoola ekikompe eky’obulokozi,
    ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
14 (B)Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama,
    mu maaso g’abantu be bonna.

15 (C)Okufa kw’abatukuvu ba Mukama kwa muwendo nnyo eri Mukama.
16 (D)Ayi Mukama,
    onsumuluddeko ebyansiba n’onfuula wa ddembe,
    nange nnaakuweerezanga ennaku zonna.

17 (E)Ndiwaayo ekiweebwayo eky’okwebaza,
    ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
18 Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama,
    mu maaso g’abantu be bonna,
19 (F)mu mpya z’ennyumba ya Mukama;
    wakati wo, ggwe Yerusaalemi.

Mutendereze Mukama.

Isaaya 25:6-9

(A)Ku lusozi luno Mukama Katonda ow’Eggye aliteekerateekerako
    abantu bonna ekijjulo eky’emmere ennungi,
n’embaga eya wayini omuka
    n’ennyama esingayo obulungi, ne wayini asinga obulungi.
(B)Ku lusozi luno alizikiriza
    ekibikka ekyetoolodde abantu bonna,
n’eggigi eribikka amawanga gonna,
    (C)era alimalirawo ddala okufa.
Mukama Katonda alisangula amaziga
    mu maaso gonna,
era aliggyawo okuswazibwa kw’abantu be
    mu nsi yonna.
Mukama ayogedde.

(D)Mu biro ebyo balyogera nti,

“Eky’amazima oyo ye Katonda waffe;
    twamwesiga n’atulokola.
Ono ye Mukama Katonda twamwesiga;
    tusanyukire mu bulokozi bwe, era tumujagulizeemu.”

Lukka 14:12-14

12 Awo Yesu n’akyukira eyamuyita n’amugamba nti, “Bw’otegekanga ekyemisana oba ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo, wadde baganda bo, wadde ab’olulyo lwo, wadde baliraanwa bo abagagga; kubanga bw’okola otyo nabo bayinza okukuyita olulala ne baba ng’abakusasula. 13 (A)Naye bw’ofumbanga ekijjulo, oyitanga abaavu, n’abagongobavu, n’abalema ne bamuzibe. 14 (B)Oliweebwa omukisa kubanga bo tebalina kya kukusasula. Olisasulibwa mu kuzuukira kw’Abatuukirivu.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.