Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 118:1-2

118 (A)Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
    okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

(B)Kale Isirayiri ayogere nti,
    “Okwagala kwa Mukama kubeerera emirembe gyonna.”

Zabbuli 118:14-24

14 (A)Mukama ge maanyi gange, era lwe luyimba lwange,
    afuuse obulokozi bwange.

15 (B)Muwulire ennyimba ez’essanyu ez’obuwanguzi,
    nga ziyimbirwa mu weema z’abatuukirivu nti,
    “Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!
16 Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gugulumizibbwa;
    omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!”
17 (C)Sijja kufa, wabula nzija kuba mulamu,
    ndyoke ntegeeze ebyo byonna Mukama by’akoze.
18 (D)Mukama ambonerezza nnyo,
    naye tandese kufa.
19 (E)Munzigulirewo emiryango egy’obutuukirivu,
    nnyingire, neebaze Mukama.
20 (F)Guno gwe mulyango omunene ogwa Mukama,
    abatuukirivu mmwe banaayingiriranga.
21 (G)Nkwebaza kubanga onnyanukudde
    n’ofuuka obulokozi bwange.

22 (H)Ejjinja abazimbi lye baagaana lye
    lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
23 Kino Mukama ye yakikola;
    era ffe tukiraba nga kya kitalo mu maaso gaffe.
24 Luno lwe lunaku Mukama lw’akoze;
    tusanyuke tulujagulizeeko.

Okuva 15:1-18

Oluyimba lwa Musa

15 (A)Awo Musa n’abaana ba Isirayiri ne bayimbira Mukama oluyimba luno nga bagamba nti,

“Nnaayimbiranga Mukama,
    kubanga awangudde n’ekitiibwa kingi.
Asudde mu nnyanja
    embalaasi n’omwebagazi waayo.
(B)Mukama ge maanyi gange era lwe luyimba lwange,
    era afuuse obulokozi bwange.
Ye Katonda wange, nange nnaamutenderezanga,
    ye Katonda wa kitange, nange nnaamugulumizanga.
(C)Mukama mulwanyi;
    MUKAMA, ly’erinnya lye.
(D)Amagaali ga Falaawo n’eggye lye
    abisudde mu nnyanja;
n’abaduumizi b’amaggye ge abalondemu
    basaanyeewo mu Nnyanja Emyufu.
(E)Obuziba bubasaanikidde;
    basse okutuuka ku ntobo ng’ejjinja.

(F)“Omukono gwo ogwa ddyo, Ayi Mukama,
    gwalina amaanyi n’ekitiibwa;
omukono gwo ogwa ddyo, Ayi Mukama,
    gwasesebbula omulabe.
(G)Mu bukulu obw’ekitiibwa kyo,
    wamegga abalabe bo,
wabalaga obusungu bwo,
    ne bubasiriiza ng’ebisasiro.
(H)Omukka bwe gwava mu nnyindo zo,
    amazzi ne geetuuma;
    amazzi g’ebuziba ne geekwata ng’ekisenge wakati mu nnyanja.

(I)“Omulabe n’ayogera nti,
    ‘Ka mbagobe, mbakwate.
Nnaagabana omunyago;
    mbeemalireko eggoga.
Nnaasowolayo ekitala kyange,
    ndyoke mbazikirize.’
10 (J)Naye wakunsa embuyaga zo,
    ennyanja n’ebasaanikira.
Bakka ng’ekyuma,
    ne basaanawo mu mazzi amangi ag’amaanyi.
11 (K)Ani akufaanana, Ayi Mukama,
    mu bakatonda bonna?
Ani akufaanana, ggwe,
    Omutukuvu Oweekitiibwa,
atiibwa era atenderezebwa,
    akola ebyamagero?

12 “Wagolola omukono gwo ogwa ddyo,
    ensi n’ebamira.
13 (L)Mu kwagala kwo okutaggwaawo,
    abantu be wanunula olibakulembera.
Mu maanyi go,
    olibatuusa mu kifo kyo ekitukuvu.
14 (M)Amawanga galikiwulira ne gakankana,
    ababeera mu Bufirisuuti balijjula ennaku.
15 (N)Abakungu b’omu Edomu balitangaalirira nga batidde;
    abakulembeze ab’amaanyi aba Mowaabu balikankana;
abatuuze b’omu Kanani baliggwaamu endasi.
16     (O)Okwesisiwala n’entiisa biribajjira.
Olw’omukono gwo ogw’amaanyi tebalinyega,
    balisirika ng’ejjinja okutuusa abantu bo lwe baliyitawo, Ayi Mukama,
okutuusa abantu bo, be wanunula,
    lwe baliyitawo.
17 (P)Olibayingiza n’obassa ku lusozi lwo lwe weerondera,
    kye kifo, Ayi Mukama kye weekolera mw’onoobeeranga,
ekifo kyo Ekitukuvu,
    kye weekolera, Ayi Mukama, n’emikono gyo.
18 Mukama anaafuganga
    emirembe n’emirembe.”

Abakkolosaayi 3:12-17

12 Ng’abalonde ba Katonda abatukuvu era abaagalwa, mwambalenga omwoyo ogusaasira, n’ekisa, n’obuwombeefu, n’obuteefu, n’obugumiikiriza. 13 (A)Bwe wabangawo omuntu yenna alina ensonga ku munne, muzibiikirizaganenga, era musonyiwaganenga. Nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa era nammwe musonyiwaganenga. 14 (B)Okwagala kwe kusinga ebintu ebirala byonna, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna.

15 (C)N’emirembe gya Kristo gifugenga emitima gyammwe, kubanga emirembe egyo gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mwebazenga.

Amateeka g’omu Nnyumba z’Abakristaayo

16 (D)Ekigambo kya Kristo mu bugagga bwakyo kibeerenga mu mmwe, mu magezi gonna nga muyigirizagananga era nga mubuuliragananga mwekka na mwekka mu Zabbuli, ne mu nnyimba, ne mu biyiiye eby’omwoyo nga muyimbira Katonda nga mujjudde ekisa mu mitima gyammwe. 17 (E)Na buli kye munaakolanga mu kigambo oba mu kikolwa, byonna mubikolenga mu linnya lya Mukama waffe Yesu nga muyita mu ye okwebaza Katonda Kitaffe.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.