Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 143

Zabbuli Ya Dawudi.

143 (A)Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama,
    wulira okwegayirira kwange!
Ggwe omwesigwa
    era omutuukirivu jjangu ombeere.
(B)Tonsalira musango,
    kubanga mu maaso go tewali n’omu atuukiridde.
Omulabe wange angoba n’ankwata n’ansuula wansi;
    anteeka mu kizikiza ne nfaanana ng’abaafa edda.
(C)Noolwekyo omwoyo gwange guweddemu endasi,
    n’omutima gwange gwennyise.
(D)Nzijukira ennaku ez’edda,
    ne nfumiitiriza ku ebyo bye wakola byonna,
    ne ndowooza ku mirimu gy’emikono gyo.
(E)Ngolola emikono gyange gy’oli,
    ne nkuyaayaanira ng’ettaka ekkalu bwe liyaayaanira enkuba.

(F)Yanguwa okunziramu, Ayi Mukama,
    kubanga omwoyo gwange guggwaamu amaanyi.
Tonkisa maaso go,
    nneme okufaanana ng’abafu.
(G)Obudde nga bukedde, nsaba ondage okwagala kwo okutaggwaawo;
    kubanga ggwe gwe neesiga.
Njigiriza ekkubo lye nsaana okutambuliramu,
    kubanga omwoyo gwange gwonna guli gy’oli.
(H)Mponya, Ayi Mukama, abalabe bange,
    kubanga ggwe kiddukiro kyange.
10 (I)Njigiriza okukola by’oyagala,
    kubanga ggwe Katonda wange!
Omwoyo wo omulungi ankulembere,
    antambulize mu kkubo eddungi ery’omuseetwe.

11 (J)Olw’erinnya lyo, Ayi Mukama, onkuume,
    mu butuukirivu bwo onzigye mu kabi.
12 (K)Omalewo abalabe bange olw’okwagala kwo,
    ozikirize n’abanjigganya bonna,
    kubanga nze ndi muddu wo.

1 Bassekabaka 17:17-24

17 Bwe waayitawo ebbanga, omwana wa nnamwandu n’alwala nnyo, obulwadde ne bweyongera okutuusa lwe yafa. 18 (A)Nnamwandu n’agamba Eriya nti, “Kiki ky’onnanga, omusajja wa Katonda? Wajja okunzijukiza ekibi kyange n’okutta omwana wange?”

19 Eriya n’amuddamu nti, “Mpa omwana wo.” N’amuggya mu kifuba kye, n’amusitula n’amutwala mu kisenge ekya waggulu[a] gye yabeeranga, n’amugalamiza ku kitanda kye. 20 N’akoowoola Mukama ng’agamba nti, “Ayi Mukama Katonda wange, ne nnamwandu ono gwe mbeera naye omuleeseko ekikangabwa kino, n’otta omwana we?” 21 (B)Eriya ne yeegololera ku mulenzi emirundi esatu, n’akaabira Mukama ng’agamba nti, “Ayi Mukama Katonda wange, obulamu bw’omulenzi ono bukomewo nate!”

22 Mukama n’awulira okukaaba kwa Eriya, obulamu bw’omulenzi ne bumuddamu, era n’alama. 23 Awo Eriya n’asitula omwana n’amuserengesa okuva mu kisenge n’amuleeta mu nnyumba, n’amuwa nnyina, n’amugamba nti, “Laba mutabani wo mulamu!”

24 (C)Awo nnamwandu n’agamba Eriya nti, “Kaakano ntegedde ng’oli musajja wa Katonda, era n’ekigambo kya Mukama ekiva mu kamwa ko kiba kya mazima.”

Ebikolwa by’Abatume 20:7-12

Pawulo Azuukiza Yutuko mu Tulowa

(A)Awo olumu ku nnaku za ssabbiiti, bwe twali tukuŋŋaanye okumenya omugaati, Pawulo n’abaako bye yali abayigiriza. Naye olwokubanga enkeera yali asitula, n’ayogerera ebbanga ddene nnyo, n’atuusa mu ttumbi ng’akyayogera! (B)Mu kisenge ekya waggulu mwe twali tukuŋŋaanidde mwalimu ettaala nnyingi nga zaaka. Waaliwo omuvubuka erinnya lye Yutuko, eyali atudde mu ddirisa, otulo ne tumukwata. Pawulo bwe yalwawo ng’akyayogera, omuvubuka ne yeebakira ddala, okutuusa lwe yasimattuka mu ddirisa ku mwaliiro ogwokusatu n’agwa ebweru n’afiirawo. 10 (C)Pawulo n’akka wansi n’amusitula n’amuwambaatira mu mikono gye. N’agamba nti, “Temweraliikirira, mulamu!” 11 (D)Awo bonna ne baddayo waggulu ne bamenya omugaati ne balya. Pawulo ne yeyongera okwogera okutuusiza ddala obudde okukya, n’alyoka asitula n’agenda. 12 Ne baddamu amaanyi, n’omuvubuka ne bamutwala eka nga mulamu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.