Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 2

(A)Lwaki amawanga geegugunga
    n’abantu ne bateganira obwereere okusala enkwe?
(B)Bakabaka ab’ensi bakuŋŋaanye,
    n’abafuzi ne bateeseza wamu
ku Mukama
    ne ku Kristo we, nga bagamba nti,
(C)“Ka tukutule enjegere zaabwe,
    era tweyambulemu ekikoligo kyabwe.”

(D)Naye Katonda oyo atuula mu ggulu,
    abasekerera busekerezi, n’enkwe zaabwe ezitaliimu zimusesa.
(E)N’alyoka abanenya ng’ajjudde obusungu,
    n’abatiisa nnyo ng’aswakidde.
N’abagamba nti, “Ddala ddala nateekawo kabaka owange
    ku lusozi lwange Sayuuni olutukuvu.”

(F)Nzija kulangirira ekiragiro kya Mukama:

kubanga yaŋŋamba nti, “Ggwe oli Mwana wange,
    olwa leero nfuuse kitaawo.
(G)Nsaba,
    nange ndikuwa amawanga gonna okuba obusika bwo,
    era n’ensi yonna gy’ekoma okuba amatwale go.
(H)Olibafugisa omuggo ogw’ekyuma,
    era olibabetenta ng’entamu y’omubumbi.”

10 Kale nno mubeere n’amagezi mmwe bakabaka;
    muyige okulabulwa mmwe abafuzi b’ensi.
11 (I)Muweereze Mukama nga mumutya,
    era musanyuke n’okukankana.
12 (J)Mwanirize Omwana, mumusembeze Mukama aleme okubasunguwalira
    n’okubazikiriza nga muli mu kkubo lyammwe;
kubanga obusungu bwe bubuubuuka mangu.
    Kyokka bonna abaddukira gy’ali balina omukisa.

1 Bassekabaka 21:20-29

20 (A)Akabu n’agamba Eriya nti, “Onsanze, ggwe omulabe wange!” N’amuddamu nti, “Nkusanze, kubanga weewaddeyo okukola ebibi mu maaso ga Mukama. 21 (B)Mukama agamba nti, ‘Laba ndikuleetako akabi, ndimalawo ennyumba yo yonna, era ndiggya ku Akabu buli musajja yenna mu Isirayiri, omuddu n’atali muddu. 22 (C)Ndifuula ennyumba yo okuba nga eya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, n’eya Baasa mutabani wa Akiya, olw’okusunguwaza kwe wansunguwaza bwe wayonoonyesa Isirayiri.’

23 (D)“Ate era n’eri Yezeberi Mukama bw’ati bw’agamba nti, ‘Embwa ziririira Yezeberi okuliraana bbugwe w’e Yezuleeri. 24 (E)Embwa ziririira omuntu yenna owa Akabu alifiira mu kibuga, ate ennyonyi zirye abo bonna abalifiira ku ttale.’ ”

25 (F)Tewali musajja eyafaanana nga Akabu, eyeewaayo okukola ebibi mu maaso ga Mukama ng’awalirizibwa mukazi we Yezeberi. 26 (G)Yakola eby’ekivve ng’agoberera ebifaananyi bya bakatonda, ng’Abamoli[a] be yagoba mu maaso g’abantu ba Isirayiri bwe baakolanga.

27 (H)Awo Akabu bwe yawulira ebigambo ebyo, n’ayuza engoye ze, n’ayambala ebibukutu n’okusiiba n’asiiba. N’agalamira mu bibukutu, era n’atambula nga yeewombeese.

28 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya Omutisubi nti, 29 (I)“Olabye Akabu bwe yeewombeese mu maaso gange? Olw’okubanga yeewombeese mu maaso gange, sirireeta kabi ako mu mirembe gye, naye ndikaleeta mu nnyumba ye mu mirembe gya mutabani we.”

Makko 9:9-13

(A)Bwe baali baserengeta olusozi, Yesu n’abakuutira ekyo kye balabye obutakyogerangako okutuusa ng’Omwana w’Omuntu amaze okuzuukira mu bafu. 10 Bwe batyo nabo ne bakikuuma nga kya kyama, naye ne beebuuzaganya ku by’okufa n’okuzuukira kwe.

11 Awo ne bamubuuza nti, “Lwaki abannyonnyozi b’amateeka bagamba nti Eriya asaanira asooke okujja.”

12 (B)Yesu n’abagamba nti, “Weewaawo Eriya y’ateekwa okusooka okujja alongoose ebintu byonna. Lwaki kyawandiikibwa ku Mwana w’Omuntu nti ateekwa okubonaabona ennyo n’okunyoomebwa? 13 (C)Naye mbagamba nti, Ddala ddala Eriya yajja! Naye yayisibwa bubi nnyo, nga bwe baayagala, nga bwe kyawandiikibwa ku ye.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.