Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
ב Bessi
9 (A)Omuvubuka anaakuumanga atya ekkubo lye nga ttereevu?
Anaalikuumanga ng’agoberera ekigambo kyo nga bwe kiri.
10 (B)Nkunoonya n’omutima gwange gwonna;
tonzikiriza kuva ku mateeka go.
11 (C)Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange;
ndyoke nneme okwonoona.
12 (D)Ogulumizibwe, Ayi Mukama;
onjigirize amateeka go.
13 (E)Njatula n’akamwa kange
amateeka go gonna ge walagira.
14 Nsanyukira okugondera ebiragiro byo,
ng’asanyukira eby’obugagga.
15 (F)Nnaafumiitirizanga ku biragiro byo,
ne nzisaayo omwoyo ku makubo go.
16 (G)Nnaasanyukiranga amateeka go,
era siigeerabirenga.
21 (A)“Bw’oneeyamanga obweyamo eri Mukama tolwangawo kubutuukiriza, kubanga ddala ddala Mukama Katonda wo agenda kukikulagira olyoke weewonye omusango olw’ekibi ekyo. 22 Naye bw’oteeyamanga bweyamo toobeerengako musango. 23 Ebyo byonna akamwa ko bye kanaayogeranga kikugwanira okubikolanga, mu ngeri y’emu nga bw’onoobanga weeyamye obweyamo eri Mukama Katonda wo n’akamwa ko.
24 “Bw’onooyingiranga mu nnimiro ya munno ey’emizabbibu, onooyinzanga okwenogeranga ku birimba by’emizabbibu n’olya nga bw’oneetaaganga n’okkuta, naye tossangako mu kibbo okwetwalirako eka. 25 (B)Bw’onooyingiranga mu nnimiro ya munno ey’emmere ey’empeke, onooyinzanga okwekungulirangako n’engalo zo, naye toddiranga kambe n’osala emmere y’empeke eyo eneebanga tennaba kusalibwa.”
Amateeka g’Ebyobufumbo
24 (C)Omusajja bw’anaawasanga omukazi, naye oluvannyuma n’amukyawa, kubanga amuvumbuddeko ebitamusanyusa, bw’atyo n’amuwandiikira ebbaluwa ey’okumugoba, n’agimukwasa, n’amugoba mu nnyumba ye, 2 omukazi oyo anaayinzanga okwefunira omusajja omulala n’amufumbirwa. 3 Omusajja ono owookubiri naye bw’anaamukyawanga n’amuwandiikira ebbaluwa ey’okumugoba, n’agimukwasa, n’amugoba mu nnyumba ye, oba omusajja oyo owookubiri bw’anaafanga; 4 (D)bba eyasooka, eyali amugobye takkirizibwenga kuddamu kumuwasa kuba mukazi we, kubanga omukazi oyo anaabanga amaze okwebaka n’omusajja omulala. Ekyo kinaabanga kya kivve mu maaso ga Mukama. Totwalanga kibi mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obutaka bwo obw’enkalakkalira.
10 Bw’owolanga munno ekintu eky’engeri yonna, toyingiranga mu nnyumba ya munno oyo okunonamu omusingo. 11 Ggwe awoze onaabeeranga wabweru n’olindirira oyo gw’onoobanga owoze, okukuleetera omusingo ogwo. 12 Gw’owoze bw’anaabanga omwavu, ekyambalo ky’anaabanga akuwadde ng’omusingo, tosulanga nakyo. 13 (A)Enjuba bw’eneebanga yaakagwa, onookiddizanga munno oyo alyoke akyebikke ekiro nga yeebase. Bw’atyo anaakwebazanga era kinaabanga kikolwa kya butuukirivu mu maaso ga Mukama Katonda wo.
14 (B)Toyiikirizanga mwavu n’omupakasi ali mu kwetaaga, n’olwawo okumusasula empeera ye; ne bw’anaabanga Omuyisirayiri munno oba ow’okubannamawanga abanaabeeranga mu nsi yo nga basula mu kimu ku bibuga byo. 15 (C)Onoomusasulanga empeera ye eya buli lunaku ng’enjuba tennaba kugwa, kubanga mwavu n’omutima gwe gubeera ku mpeera eyo. Kubanga bw’onoomulagajjaliranga, anaayinzanga okukaabirira Mukama Katonda n’akuloopayo, bw’otyo onoogwanga mu musango ogw’ekibi.
Obutabaamu kyekubiira
2 (A)Abooluganda, mmwe abakkiririza mu Mukama waffe Yesu Kristo, Mukama ow’ekitiibwa, temusosolanga mu bantu. 2 Kubanga singa omuntu omu ajja mu kuŋŋaaniro lyammwe, ng’ayambadde engoye ez’omuwendo omunene, ng’anaanise n’empeta eza zaabu ku ngalo ze, mu kiseera kye kimu ne wajjawo n’omusajja omwavu ng’ali mu ngoye ezisensusesensuse, 3 ne mwaniriza omugagga, ne mumugamba nti, “Tuulira wano kyokka ne mugamba omwavu nti ggwe oyinza okuyimirira wali, oba si ekyo tuula wano wansi w’akatebe kwe nteeka ebigere byange,” 4 (B)kale muba temwesosoddeemu mwekka na mwekka nga mukyamizibwa ebirowoozo byammwe ebibi?
5 (C)Mumpulirize, abooluganda abaagalwa, Katonda teyalonda abo ensi b’eyita abaavu, okuba abagagga mu kukkiriza, era okuba abasika ab’obwakabaka obw’omu ggulu, Katonda bwe yasuubiza abo abamwagala? 6 (D)Naye munyooma omwavu. Abagagga si be babanyigiriza ne babatwala ne mu mbuga z’amateeka? 7 Era si be banyoomoola erinnya eddungi lye muyitibwa?
8 (E)Kiba kirungi nnyo era kya kitiibwa bwe mugondera etteeka eriri mu Kyawandiikibwa erigamba nti, “Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.” 9 (F)Naye bwe musosola mu bantu muba mukoze kibi, n’etteeka libasingisa omusango ng’aboonoonyi. 10 (G)Era omuntu akwata amateeka gonna, naye n’asobyako erimu, omusango gumusinga mu ngeri y’emu ng’oli asobezza amateeka gonna. 11 (H)Kubanga Katonda eyagamba nti, “Toyendanga,” era y’omu eyagamba nti, “Tottanga.” Noolwekyo singa toyenda, naye n’otta oba mumenyi wa mateeka gonna.
12 (I)Noolwekyo mwogere era mukole ng’amateeka ag’eddembe bwe gali naye nga mumanyi nti tunaatera okulamulwa. 13 (J)Kubanga abo abatalina kisa, nabo tebalikwatirwa kisa. Ekisa kiwangula omusango.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.