Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 119:1-8

א Alefu

119 (A)Balina omukisa abo abatambulira mu butuukirivu;
    abatambulira mu mateeka ga Mukama.
(B)Balina omukisa abo abagondera ebiragiro bye,
    era abanoonya Mukama n’omutima gwabwe gwonna.
(C)Abo abatasobya, era abatambulira mu makubo ge.
Ggwe wateekawo ebiragiro byo;
    n’olagira bigonderwenga n’obwegendereza bungi.
Ayi Mukama, nsaba mbeerenga munywevu bulijjo;
    nga nkuuma bye walagira.
Bwe ntyo siriswazibwa, amaaso gange nga
    ngasimbye ku ebyo bye walagira byonna.
Nga njiga ebiragiro byo ebitukuvu,
    nnaakutenderezanga n’omutima omulungi.
Nnaakwatanga amateeka go;
    Ayi Mukama, tonsuulira ddala.

Olubereberye 26:1-5

Isaaka Abeera mu Gerali

26 (A)Ne wabaawo enjala mu nsi, eteri eri eyabaawo mu biseera bya Ibulayimu. Isaaka n’agenda mu Gerali, ewa Abimereki[a] kabaka w’Abafirisuuti. (B)Ne Mukama n’amulabikira, n’amugamba nti, “Toserengeta Misiri, beera mu nsi gye ndikulaga. (C)Beera mu nsi gye ndikulaga, nnaabeeranga naawe, n’akuwanga omukisa kubanga gwe n’abaana bo ndibawa ensi zino zonna, era ndituukiriza ekirayiro kye nalayirira kitaawo Ibulayimu. (D)Ndyaza abaana b’enda yo ne baba ng’emmunyeenye ez’eggulu, era ndibawa n’ensi zino zonna. Era mu bo amawanga gonna ag’oku nsi mwe galiweerwa omukisa; (E)kubanga Ibulayimu yagondera eddoboozi lyange, n’akwata bye namukuutira, n’ebiragiro byange, n’ebigambo byange awamu n’amateeka gange.”

Yakobo 1:12-16

12 (A)Alina omukisa omuntu agumira okukemebwa, kubanga bw’alimala okusiimibwa aliweebwa engule ey’obulamu Katonda gye yasuubiza abo abamwagala.

13 Omuntu yenna bw’akemebwanga, tagambanga nti, “Katonda ye yankemye,” kubanga Katonda takemebwa, era naye yennyini takema muntu n’omu. 14 Naye buli muntu akemebwa ng’okwegomba kwe okubi, bwe kuli, n’asendebwasendebwa. 15 (B)Okwegomba okwo bwe kumala okuba olubuto, ne kuzaala ekibi, n’ekibi bwe kikula ne kizaala okufa.

16 (C)Noolwekyo, abooluganda abaagalwa, temulimbibwalimbibwanga.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.