Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
7 (A)Wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama, nga nkukoowoola;
onkwatirwe ekisa onnyanukule!
8 Omutima gwange guwulidde eddoboozi lyo nga lyogera nti, “Munnoonye, munsinze.”
Omutima gwange ne guddamu nti, “Nnaakunoonyanga, Ayi Mukama.”
9 (B)Tonneekweka,
so tonyiigira muweereza wo,
kubanga ggw’obadde omubeezi wange bulijjo.
Tonneggyaako, so tonsuula,
Ayi Katonda, Omulokozi wange.
10 Kitange ne mmange bwe balindeka,
Mukama anandabiriranga.
11 (C)Njigiriza, Ayi Mukama, by’oyagala nkole,
era onkulembere mu kkubo lyo,
kubanga abalabe bange banneetoolodde.
12 (D)Tompaayo mu balabe bange,
kubanga abajulizi ab’obulimba bansitukiddeko n’enkwe zaabwe,
okunkambuwalira.
8 (A)Yuda gwe baganda bo banaakutenderezanga.
Omukono gwo gunaatulugunyanga abalabe bo.
Abaana ba kitaawo banaakuvuunamiranga.
9 (B)Yuda, mwana w’empologoma.
Oyambuse mwana wange, ng’ovudde ku muyiggo.
Yakutama, yabwama ng’empologoma.
Ddala ng’empologoma enkazi, ani anaakweŋŋanga?
10 (C)Era omuggo gw’omufuzi teguuvenga wakati wa bigere bya Yuda,
okutuusa Siiro lw’alijja;
era oyo amawanga gonna
gwe ganaawuliranga.
11 Alisiba endogoyi ku muzabbibu,
n’omwana gw’endogoyi ku muzabbibu ogusinga obulungi,
ayoza ebyambalo bye mu nvinnyo,
n’engoye ze mu musaayi gwe zabbibu.
12 Amaaso ge galimyuka wayini,
n’amannyo ge galitukula okusinga amata.
13 (D)Zebbulooni alibeera ku mabbali ga nnyanja;
anaabanga mwalo gw’amaato,
ensalo ze ziriba ku Sidoni.
21 (A)Nafutaali mpeewo ya ddembe,
avaamu ebigambo ebirungi.
22 (B)Yusufu lye ttabi eribala ennyo,
ettabi eribala ennyo eriri ku mugga;
abaana be babuna bbugwe.
23 (C)Abalasa obusaale baamulumba bubi nnyo,
baamulasa ne bamulumya nnyo;
24 (D)naye omutego gwe ne gunywera,
n’emikono gye ne gitasagaasagana.
Olw’omukono gwa Ayinzabyonna owa Yakobo,
olw’Omusumba, Olwazi lwa Isirayiri,
25 (E)olwa Katonda wa kitaawo, akuyamba,
olwa Ayinzabyonna akuwa omukisa,
omukisa oguva waggulu mu ggulu,
omukisa ogwa wansi mu buziba,
omukisa ogw’omu lubuto ne mu mabeere.
26 (F)Omukisa gwa kitaawo
gusinga omukisa gwa bajjajjange,
gusinga egyo egyaweebwa bajjajja ab’edda.
Gino gyonna gibeere ku mutwe gwa Yusufu,
gibeere ne ku bukowekowe bw’oyo eyayawukanyizibwa ne baganda be.
Oluyimba lwa Zaakaliya
67 (A)Awo Zaakaliya kitaawe, n’ajjula Mwoyo Mutukuvu n’awa obunnabbi nti,
68 (B)“Atenderezebwe Mukama Katonda wa Isirayiri,
kubanga akyalidde abantu be, era abanunudde.
69 (C)Yatuyimusiriza obuyinza obw’obulokozi,
mu nnyumba y’omuddu we Dawudi.
70 (D)Nga bwe yasuubiriza mu bigambo bya bannabbi be abatukuvu ab’edda ennyo,
71 Okulokolebwa mu balabe baffe,
n’okuva mu mukono gw’abo bonna abatukyawa,
72 (E)okulaga bajjajjaffe ekisa,
n’ajjukira n’endagaano ye entukuvu,
73 (F)ekirayiro kye yalayirira jjajjaffe Ibulayimu,
74 (G)okukituukiriza, n’okulokolebwa okuva mu mukono gw’abalabe baffe awatali kutya,
tulyoke tuweereze mu maaso ge,
75 (H)mu butukuvu ne mu butuukirivu ennaku zonna ez’obulamu bwaffe.
76 (I)“Naawe, mwana wange, oliyitibwa nnabbi w’Oyo Ali Waggulu Ennyo;
kubanga gw’olikulembera Mukama okumuteekerateekera amakubo ge.
77 (J)Okumanyisa abantu be obulokozi,
obw’okusonyiyibwa ebibi byabwe.
78 (K)Byonna birituukirira olw’ekisa kya Katonda waffe ekingi.
Emmambya esala eritukyalira okuva mu ggulu,
79 (L)okwakira abo abatudde mu kizikiza
ne mu kisiikirize eky’okufa,
okuluŋŋamya ebigere byaffe mu kkubo ery’emirembe.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.