Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
40 (A)Nalindirira Mukama n’obugumiikiriza,
n’antegera okutu, n’awulira okukoowoola kwange,
2 (B)n’anziggya mu kinnya eky’entiisa,
n’annyinyulula mu bitosi,
n’anteeka ku lwazi olugumu
kwe nyimiridde.
3 (C)Anjigirizza oluyimba oluggya,
oluyimba olw’okutenderezanga Katonda waffe.
Bangi bino balibiraba ne batandika okutya Mukama
n’okumwesiganga.
4 (D)Balina omukisa
abo abeesiga Mukama,
abatagoberera ba malala
abasinza bakatonda ab’obulimba.
5 (E)Ayi Mukama Katonda wange,
otukoledde eby’ewunyisa bingi.
Ebintu by’otuteekeddeteekedde
tewali ayinza kubikutegeeza.
Singa ngezaako okubittottola,
sisobola kubimalayo byonna olw’obungi bwabyo.
6 (F)Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala.
Ebiweebwayo ebyokebwa olw’okutangirira ebibi,
tobyetaaga.
Naye onzigudde amatu.
7 Kyenava njogera nti, “Nzuuno,
nzize nga bwe kyampandiikibwako mu muzingo gw’ekitabo.”
8 (G)Nsanyukira okukola ky’oyagala, Ayi Katonda wange,
kubanga amateeka go gali mu mutima gwange.
9 (H)Ntegeeza obutuukirivu mu lukuŋŋaana olunene.
Sisirika busirisi,
nga naawe bw’omanyi, Ayi Mukama.
10 (I)Bye mmanyi ku butuukirivu bwo sisirika nabyo mu mutima gwange,
naye ntegeeza ku bwesigwa bwo n’obulokozi bwo.
Abantu nga bakuŋŋaanye,
sirema kubategeeza ku mazima go n’okwagala kwo okungi.
11 (J)Onsasirenga bulijjo, Ayi Mukama,
amazima n’okwagala kwo byeyongerenga okunkuuma.
Esawu Agwa mu Lukwe
30 Amangu ddala nga Isaaka yakamala okuwa Yakobo omukisa, era nga Yakobo tannava wali Isaaka kitaabwe, Esawu n’atuuka ng’ava okuyigga. 31 (A)Era naye n’ateekateeka emmere ey’akawoowo n’agireetera kitaawe. N’agamba kitaawe nti, “Kitange golokoka olye ku muyiggo gw’omwana wo olyoke onsabire omukisa.”
32 (B)Kitaawe Isaaka n’amubuuza nti, “Gwe ani?” Kwe kumuddamu nti, “Nze omwana wo omubereberye Esawu.”
33 (C)Olwo Isaaka n’akankana nnyo n’abuuza nti, “Ani oyo ayizze omuyiggo n’agundeetera ne ngulya ne ngumalawo nga tonnajja ne mmusabira omukisa? Era ddala ajja kuweebwa omukisa.”
34 (D)Awo Esawu bwe yawulira ebigambo bya kitaawe ebyo, n’atulika n’akaaba nnyo nnyini, n’agamba kitaawe nti, “Nange mpa omukisa, ayi kitange.” 35 (E)Naye n’amuddamu nti, “Muganda wo azze n’annimba era akututteko omukisa gwo.”
36 (F)Esawu n’ayogera nti, “Teyatuumibwa linnya lye Yakobo? Laba, anyingiridde emirundi gino gyombi; yanziggyako eby’obukulu bwange, ate kaakano antutteko n’omukisa gwange.” Kwe kubuuza kitaawe nti, “Tondekeddeewo mukisa n’akatono?”
37 (G)Isaaka n’addamu Esawu nti, “Laba, mmufudde mukama wo, era mmuwadde baganda be bonna babe baweereza be, era mmusabidde abe n’emmere ey’empeke wamu n’envinnyo nga bingi ddala. Kale nnaakukolera ki mwana wange?”
38 (H)Esawu n’abuuza kitaawe nti, “Tolinaawo mukisa na gumu kitange? Nange mpa omukisa, ayi kitange.” Bw’atyo Esawu n’ayimusa eddoboozi lye n’akaaba.
Yesu Atwalibwa mu Ggulu
1 (A)Mu kitabo ekyasooka, munnange Teefiro, nakutegeeza ebintu byonna okuva Yesu lwe yatandika okukola emirimu gye n’okuyigiriza, 2 (B)okutuusa ku lunaku lwe yatwalibwa mu ggulu ng’amaze okuwa abatume be, be yalonda, ebiragiro ku bwa Mwoyo Mutukuvu. 3 (C)Mu nnaku amakumi ana ezaddirira, Yesu yalabikira abatume nga mulamu era n’abakakasa mu ngeri nnyingi, era buli lwe yabalabikiranga ng’ayogera nabo ku bigambo by’obwakabaka bwa Katonda. 4 (D)Awo bwe yali ng’alya nabo ekijjulo n’abalagira baleme kuva mu Yerusaalemi naye balindirire ekisuubizo kya Kitaawe. Yagamba nti, “Ekyo kye mwawulira nga mbagamba nti, 5 ‘Yokaana yabatiza na mazzi, naye mmwe mujja kubatizibwa na Mwoyo Mutukuvu mu nnaku si nnyingi.’ ”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.