Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Zabbuli ya Sulemaani.
72 Ayi Katonda, kabaka omuwe okuba omwenkanya,
ne mutabani we omuwe obutuukirivu,
2 (A)alyoke alamulenga abantu bo mu butuukirivu,
n’abaavu abalamulenga mu mazima.
3 Ensozi zireeterenga abantu bo okukulaakulana
n’obusozi bubaleetere obutuukirivu.
4 (B)Anaalwaniriranga abaavu,
n’atereeza abaana b’abo abeetaaga,
n’omujoozi n’amusaanyaawo.
5 Abantu bakutyenga ng’enjuba n’omwezi gye bikoma
okwaka mu mirembe gyonna.
6 (C)Abeere ng’enkuba bw’etonnya ku muddo ogusaliddwa,
afaanane ng’oluwandaggirize olufukirira ensi.
7 (D)Obutuukirivu bweyongere nnyo mu mulembe gwe,
n’okufuga kwe kujjule emirembe okutuusa omwezi lwe gulikoma okwaka!
8 (E)Afugenga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja,[a]
n’okuva ku mugga Fulaati[b] okutuuka ku nkomerero z’ensi!
9 Ebika eby’omu malungu bimugonderenga,
n’abalabe be bamujeemulukukire beekulukuunye ne mu nfuufu.
10 (F)Bakabaka b’e Talusiisi[c] n’ab’oku bizinga eby’ewala
bamuwenga omusolo;
bakabaka b’e Syeba n’ab’e Seeba[d]
bamutonerenga ebirabo.
11 Bakabaka bonna banaavuunamanga mu maaso ge;
amawanga gonna ganaamuweerezanga.
12 Kubanga anaawonyanga eyeetaaga bw’anaamukoowoolanga,
n’omwavu ne kateeyamba ataliiko mwasirizi.
13 Anaasaasiranga omunafu n’omwavu;
n’awonya obulamu bwa kateeyamba.
14 (G)Anaabanunulanga mu mikono gy’omujoozi n’abawonya obukambwe bwe;
kubanga obulamu bwabwe bwa muwendo mungi gy’ali.
15 (H)Awangaale!
Aleeterwe zaabu okuva e Syeba.
Abantu bamwegayiririrenga
era bamusabirenga emikisa buli lunaku.
16 (I)Eŋŋaano ebale nnyingi nnyo mu nsi,
ebikke n’entikko z’ensozi.
Ebibala byayo byale ng’eby’e Lebanooni;
n’abantu baale mu bibuga ng’omuddo ogw’oku ttale.
17 (J)Erinnya lye libeerengawo ennaku zonna,
n’okwatiikirira kwe kube kwa nkalakkalira ng’enjuba.
Amawanga gonna ganaaweebwanga omukisa ku lu lw’erinnya lye,
era abantu bonna bamuyitenga aweereddwa omukisa.
18 (K)Mukama Katonda agulumizibwe, Katonda wa Isirayiri,
oyo yekka akola ebyewuunyisa.
19 (L)Erinnya lye ekkulu ligulumizibwenga emirembe n’emirembe!
Ensi yonna ejjule ekitiibwa kye.
Amiina era Amiina!
20 Okusaba kwa Dawudi mutabani wa Yese kukomye awo.
Okuyitibwa kwa Musa
3 (A)Awo olwatuuka, Musa bwe yali ng’alunda ekisibo ky’endiga za mukoddomi we Yesero, kabona w’e Midiyaani, n’atwala ekisibo ku ludda olw’ebugwanjuba olw’eddungu; n’atuuka ku lusozi lwa Katonda oluyitibwa Kolebu[a]. 2 (B)Malayika wa Mukama n’amulabikira ng’asinziira mu muliro ogwaka, mu makkati g’ekisaka. Musa n’atunuulira ekisaka, n’alaba nga kyaka naye nga tekisiriira. 3 Musa n’ayogera mu mwoyo gwe nti, “Leka nneetoolooleko neetegereze ekintu kino ekitali kya bulijjo, eky’ekitalo, ekireetedde ekisaka obutasiriira.”
4 Mukama bwe yalaba nga Musa agenze okwetegereza, Katonda n’amuyita ng’asinziira mu kisaka wakati nti, “Musa, Musa!” Musa n’ayitaba nti, “Nze nzuuno.” 5 (C)Katonda n’amugamba nti, “Teweeyongera kusembera. Ggyamu engatto zo, kubanga ekifo w’oyimiridde kitukuvu.”
23 Olw’okukkiriza bakadde ba Musa bwe yazaalibwa baamukwekera emyezi esatu, kubanga baalaba nga mwana mulungi, ne batatya kiragiro kya Falaawo.
24 (A)Olw’okukkiriza Musa ng’akuze, yagaana okuyitibwa omwana w’omumbejja wa Falaawo 25 (B)n’alondawo okubonaabonera awamu n’abantu ba Katonda n’agaana okuba mu ssanyu ery’ekibi eriggwaawo amangu. 26 (C)Musa yalaba nti okuvumibwa olwa Kristo kisingira wala obugagga bw’e Misiri, kubanga yali asuubira empeera. 27 (D)Olw’okukkiriza Musa yava mu Misiri nga tatya busungu bwa Falaawo, kubanga yanywera ng’alaba Katonda oyo atalabika na maaso buuso ag’omubiri. 28 (E)Olw’okukkiriza Musa yassaawo Embaga ejjuukirirwako Okuyitako, n’amansira omusaayi omuzikiriza aleme okutta abaana ababereberye Abayisirayiri.
29 (F)Olw’okukkiriza Abayisirayiri baasomoka Ennyanja Emyufu ng’abayita ku lukalu. Naye Abamisiri bwe baakigezaako amazzi ne gabasaanyaawo.
30 (G)Olw’okukkiriza, bbugwe wa Yeriko yagwa nga kimaze okwebungululirwa ennaku musanvu.
31 (H)Olw’okukkiriza malaaya Lakabu, teyazikirizibwa n’abajeemu, kubanga yasembeza abakessi, n’emirembe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.