Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Zabbuli. Oluyimba lwa Ssabbiiti.
92 (A)Kirungi okwebazanga Mukama,
n’okuyimba ennyimba n’okutenderezanga erinnya lyo, Ayi Ggwe, Ali Waggulu Ennyo;
2 (B)okutendanga okwagala kwo okutakoma buli nkya,
n’okutendanga obwesigwa bwo buli kiro.
3 (C)Okukutenderezanga n’amaloboozi g’enkoba z’ennanga
n’endere awamu n’entongooli.
4 (D)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, onkoledde ebinsanyusizza;
kyenva nkuyimbira n’essanyu olw’emirimu gy’emikono gyo.
12 (A)Abatuukirivu balyegolola ng’enkindu,
ne bakula ne bawanvuwa ng’emivule gy’e Lebanooni.
13 (B)Egisimbibwa mu nnyumba ya Mukama.
Baligimukira mu mpya za Katonda waffe.
14 (C)Ne mu bukadde bwabwe balibala ebibala;
baliba balamu era abagimu,
15 (D)kiryoke kitegeeze nti, Mukama w’amazima,
lwe Lwazi lwange era mu ye temuli butali butuukirivu.
8 (A)Genda kaakano, okibawandiikire ku kipande,
okiwandiike ku mizingo,
kibabeererenga obujulizi
obw’emirembe n’emirembe mu nnaku ezigenda okujja.
9 (B)Weewaawo bano bantu bajeemu,
baana balimba, baana abateetegese kuwulira biragiro bya Mukama.
10 (C)Bagamba abalabi nti,
“Temuddayo kufuna kwolesebwa,”
N’eri bannabbi boogera nti,
“Temuddayo kututegeeza kwolesebwa kutuufu.
Mututegeeze ebitusanyusa,
mulagule ebituwabya.
11 (D)Muve mu kkubo lino,
mukyame muve ku luguudo luno,
mulekeraawo okututegeeza
ku Mutukuvu wa Isirayiri.”
12 (E)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Omutukuvu wa Isirayiri nti,
“Olw’okugaana obubaka buno,
ne mwesiga okunyigirizibwa,
ne mwesiga omulimba,
13 (F)ekibi kino kyekiriva kikufuukira bbugwe omuwanvu,
alimu enjatika era azimbye,
okutemya n’okuzibula ng’agudde.
14 (G)Alimenyekamenyeka mu bitundutundu ng’ensumbi eyakolebwa mu bbumba,
n’asaasaanyizibwa awatali kusaasira,
era tewaliba luggyo ku byamenyekamenyeka olulirabika
okusobola okuyoozesa omuliro mu kyoto,
oba okusenyesa amazzi mu kinnya.”
15 (H)Weewaawo bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna Omutukuvu wa Isirayiri nti,
“Mu kwenenya ne mu kuwummula mwe muli obulokozi bwammwe,
mu kusiriikirira ne mu kwesiga mwe muli amaanyi gammwe,
naye temufuddeeyo.
16 (I)Wayogera nti, ‘Nedda tuliddukira ku mbalaasi.’
Kyoliva odduka.
Wayogera nti, ‘Tuliddukira ku mbalaasi ezidduka ennyo.’
Ababagoba kyebaliva bawenyuka emisinde.
17 (J)Abantu olukumi balidduka
olw’okutiisibwatiisibwa kw’omuntu omu;
Olw’okutiisibwatiisibwa kw’abataano,
olidduka,
Okutuusa lw’olisigala ng’omulongooti okuwanikibwa bbendera oguli ku ntikko y’olusozi,
ng’ebendera eri ku kasozi.”
16 (A)“Ebyo mbibategeezezza muleme kwesittala. 2 Banaabagobanga mu makuŋŋaaniro, era ekiseera kijja buli anaabattanga n’alowooza nti aweereza Katonda. 3 Ebyo balibibakola kubanga Kitange tebaamumanya, era nange tebammanyi. 4 Kale bino mbibabuulidde nga tebinnabaawo, ekiseera bwe kirituuka ne bibaawo mulyoke mujjukire nti nabagamba. Ebyo saabibategeerezaawo ku lubereberye kubanga nnali nkyali nammwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.