Revised Common Lectionary (Complementary)
113 (A)Mutendereze Mukama!
Mumutendereze, mmwe abaweereza be,
mutendereze erinnya lya Mukama.
2 (B)Erinnya lya Mukama litenderezebwe
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
3 (C)Enjuba weeviirayo okutuusa bw’egwa,
erinnya lya Mukama litenderezebwenga.
4 (D)Mukama agulumizibwa okusinga amawanga gonna,
era n’ekitiibwa kye kisinga eggulu.
5 (E)Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe,
atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka eri waggulu ennyo,
6 (F)ne yeetoowaza
okutunuulira eggulu n’ensi?
7 (G)Abaavu abayimusa n’abaggya mu nfuufu;
n’abali mu kwetaaga n’abasitula ng’abaggya mu vvu,
8 (H)n’abatuuza wamu n’abalangira,
awamu n’abalangira abo abafuga abantu be.
9 (I)Omukazi omugumba amuwa abaana,
n’abeera mu maka ge n’ezzadde lye ng’ajjudde essanyu.
Mutendereze Mukama!
Batabani ba Biira ne Zirupa
30 (A)Laakeeri bwe yalaba nga tazaalidde Yakobo baana, n’akwatirwa muganda we obuggya; n’agamba Yakobo nti, “Mpa abaana oba si ekyo nzija kufa!”
2 (B)Obusungu bwa Yakobo ne bubuubuukira Laakeeri, n’amugamba nti, “Nze Katonda akummye okuzaala?”
3 (C)Laakeeri kwe kumwanukula nti, “Omuweereza wange Biira wuuno, weetabe naye azaalire ku maviivi gange, ndyoke nfune abaana nga mpita mu ye.[a]” 4 (D)N’alyoka amuwa omuweereza we Biira okuba mukazi we, Yakobo ne yeetaba naye. 5 Biira n’aba olubuto n’azaalira Yakobo omwana owoobulenzi.
6 (E)Awo Laakeeri n’agamba nti, “Katonda ankoze bulungi, n’awulira eddoboozi lyange, n’ampa omwana owoobulenzi.” Kyeyava amutuuma Ddaani. 7 Biira omuweereza omukazi owa Laakeeri n’aba olubuto ate, n’azaalira Yakobo omwana owoobulenzi owookubiri. 8 (F)Laakeeri n’alyoka agamba nti, “Nnwanye ne muganda wange okulwana okw’amaanyi era mpangudde;” omwana kyeyava amutuuma Nafutaali.
9 (G)Awo Leeya bwe yalaba akomye okuzaala, n’addira omuweereza we Zirupa n’amuwa Yakobo abe mukazi we. 10 Zirupa omuweereza wa Leeya n’alyoka azaalira Yakobo omwana owoobulenzi; 11 (H)Leeya n’agamba nti, “Guno mukisa gwennyini!” Kwe kumutuuma Gaadi.
12 Ate Zirupa omuweereza wa Leeya n’azaalira Yakobo omwana owoobulenzi owookubiri. 13 (I)Leeya n’agamba nti, “Neesiimye! Kubanga abakazi banampita wa mukisa;” kyeyava amutuuma Aseri.
14 (J)Lumu mu biseera eby’amakungula g’eŋŋaano Lewubeeni n’agenda mu nnimiro, n’anoga amadudayimu,[b] n’agaleetera nnyina Leeya. Laakeeri n’agamba Leeya nti, “Nkusaba ompe ku madudayimu g’omwana wo.” 15 (K)Kyokka ye n’amuddamu nti, “Okiyita kitono ggwe okunnyagako baze? Ate otwale n’amadudayimu g’omwana wange?” Laakeeri n’amugamba nti, “Kale anaaba naawe ekiro kino olw’amadudayimu g’omwana wo.”
16 Yakobo bwe yakomawo okuva mu nnimiro akawungeezi, Leeya n’afuluma okumusisinkana, n’amugamba nti, “Weetabe nange, kubanga nkuguze n’amadudayimu g’omwana wange.” Kwe kwetaba naye.
17 (L)Katonda n’awulira Leeya, n’aba olubuto, n’azaalira Yakobo omwana owoobulenzi owookutaano. 18 (M)Leeya n’agamba nti, “Katonda ansasudde empeera yange, kubanga nawa baze, omuweereza wange,” omwana kyeyava amutuuma Isakaali.
19 Leeya n’aba olubuto ate, n’azaalira Yakobo Omwana owoobulenzi ow’omukaaga. 20 (N)Leeya kwe kugamba nti, “Katonda ampadde ekirabo, kaakano baze anaabanga nange, kubanga muzaalidde abaana aboobulenzi mukaaga.” Ow’omukaaga kyeyava amutuuma Zebbulooni.
21 Oluvannyuma n’azaala omwana owoobuwala, n’amutuuma Dina. 22 (O)Ate Katonda n’ajjukira Laakeeri, n’amuwulira n’aggula olubuto lwe. 23 (P)N’aba olubuto n’azaalira Yakobo omwana owoobulenzi, Laakeeri n’agamba nti, “Katonda anziggyeeko okunyoomebwa;” 24 (Q)n’amutuuma Yusufu, ng’agamba nti, “Mukama annyongere omwana omulenzi.”
Ekitiibwa ekijja
18 (A)Okubonaabona kwe tubonaabona kaakano kutono nnyo bwe kugeraageranyizibwa n’ekitiibwa ekiritubikulirwa. 19 Ebitonde birindirira n’essuubi lingi ekiseera abaana ba Katonda lwe baliragibwa. 20 (B)Kubanga ebitonde tebyafugibwa butaliimu nga byeyagalidde, wabula ku bw’oyo eyabifugisa, mu kusuubira. 21 (C)Ebitonde birifuulibwa bya ddembe okuva mu kufugibwa okuvunda ne bigabanira wamu n’abaana ba Katonda ekitiibwa eky’okuba mu ddembe.
22 (D)Tumanyi ng’ebitonde byonna bisinda era ne birumwa ng’omukazi alumwa okuzaala bw’abeera. 23 (E)Naye ate si ekyo kyokka, era naffe abalina ebibala ebibereberye eby’Omwoyo, naffe tusinda munda yaffe nga tulindirira okufuuka abaana, kwe kununulibwa kw’emibiri gyaffe. 24 (F)Twalokolebwa lwa ssuubi eryo. Naye essuubi erirabibwa si ssuubi; kubanga ani asuubira ky’alabako? 25 Naye bwe tusuubira kye tutalabako, tukirindirira n’okugumiikiriza.
26 (G)N’Omwoyo bw’atyo atubeera mu bunafu bwaffe. Tetumanyi kusaba nga bwe kitugwanira, naye Omwoyo yennyini atwegayiririra n’okusinda okutayogerekeka. 27 (H)Oyo akebera emitima, amanyi Omwoyo ky’alowooza, kubanga yeegayiririra abatukuvu ng’okusiima kwa Katonda bwe kuli. 28 (I)Era tumanyi nga eri abo abaagala Katonda, era abo abayitibwa ng’okuteesa kwe bwe kuli, ebintu byonna bibatuukako olw’obulungi. 29 (J)Kubanga abo be yamanya olubereberye, yabalonda okufaananyizibwa mu kifaananyi ky’Omwana we, ye abeerenga omubereberye mu booluganda abangi. 30 (K)Abo be yalonda, n’okubayita yabayita, n’abo be yayita, yabawa obutuukirivu, n’abo be yawa obutuukirivu yabagulumiza.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.