Revised Common Lectionary (Complementary)
10 (A)Byonna bye watonda binaakutenderezanga, Ayi Mukama;
n’abatukuvu bo banaakugulumizanga.
11 Banaayogeranga ku kitiibwa ky’obwakabaka bwo,
era banaatendanga amaanyi go.
12 (B)Balyoke bategeeze abantu bonna ebikolwa byo eby’amaanyi,
n’ekitiibwa ky’obukulu obw’obwakabaka bwo.
13 (C)Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera,
n’obufuzi bwo bwa mirembe na mirembe.
Mukama by’ayogera byonna bya bwesigwa,
n’ebikolwa bye bijjudde okusaasira.
14 (D)Mukama awanirira abo bonna abazitoowereddwa,
era ayimusa bonna abagwa.
15 (E)Amaaso g’abantu bonna gatunuulira ggwe, Ayi Mukama,
era bonna gw’obawa ebyokulya mu biseera byabyo.
16 (F)Oyanjuluza engalo zo,
ebiramu byonna n’obigabira bye byetaaga ne bikkuta.
17 Mukama mutuukirivu mu bikolwa bye byonna
era ayagala byonna bye yatonda.
18 (G)Mukama abeera kumpi n’abo bonna abamukoowoola;
abo bonna abamukoowoola mu mazima.
4 (A)Mesa Kabaka wa Mowaabu yalundanga endiga, era yalina omutemwa ogw’okuwangayo abaana b’endiga emitwalo kkumi, n’ebyoya by’endiga ennume emitwalo kkumi eri Akabu. 5 (B)Naye Akabu olwafa, kabaka wa Mowaabu n’atandika okujeemera kabaka wa Isirayiri. 6 Awo mu biro ebyo kabaka Yekolaamu n’asitula okuva e Samaliya, n’akunga Isirayiri yenna okugenda naye. 7 (C)N’atumira ne Yekosafaati kabaka wa Yuda nti, “Kabaka wa Mowaabu anjeemedde, onooyinza okumbeera tumulwanyise?”
Yekosafaati n’amuddamu nti, “Nnaagenda naawe, kubanga nze ndi nga bw’oli, era abantu bange be bantu bo, n’embalaasi zange ze zizo.”
8 Yekosafaati n’amubuuza nti, “Ye, tunaalumba kuva ku luuyi ki?” Yekolaamu n’amuddamu nti, “Tunaayita mu ddungu erya Edomu.” 9 (D)Awo kabaka wa Isirayiri, n’asitukira wamu ne kabaka wa Yuda ne kabaka wa Edomu[a] ne bagenda mu lutalo. Ne batambula olugendo lwa nnaku musanvu, n’oluvannyuma ne beesanga ng’eggye amazzi galiweddeko, nga n’ebisolo byabwe tebirina wadde ettondo. 10 Kabaka wa Isirayiri ne yeekanga nnyo. N’ayogera nti, “Zitusanze! Ffenna abasatu, Mukama atuwaddeyo mu mukono gwa Mowaabu?” 11 (E)Kyokka Yekosafaati n’abuuza nti, “Tewali wano nnabbi wa Mukama tumwebuuzeeko?” Awo omu ku bakungu ba kabaka wa Isirayiri n’amuddamu nti, “Wano waliwo Erisa mutabani wa Safati. Ye yali omuweereza wa Eriya ow’oku mwanjo.” 12 (F)Yekosafaati n’ayogera nti, “Alina ekigambo okuva eri Mukama.” Awo Yekosafaati kabaka wa Yuda, awamu ne kabaka wa Isirayiri, ne kabaka wa Edomu ne baserengeta gy’ali.
13 Awo Erisa n’agamba kabaka wa Isirayiri nti, “Onnanga ki? Genda eri bannabbi ba kitaawo n’aba maama wo.” Kabaka wa Isirayiri n’amuddamu nti, “Nedda sijja kugendayo; kubanga kirabika nga Mukama atukuŋŋaanyiza ffensatule, okutuwaayo mu mukono gwa Mowaabu.”
14 Erisa n’ayogera nti, “Nga Mukama Katonda Ayinzabyonna gwe mpeereza bw’ali omulamu, singa nnali siwa Yekosafaati kabaka wa Yuda kitiibwa, sandikukubyeko munye ya liiso wadde okukusaako omwoyo. 15 (G)Naye kaakano, mundeetere omukubi w’ennanga.” Omukubi w’ennanga bwe yali ng’akyakuba ennanga, amaanyi ga Mukama ne gakka ku Erisa, 16 n’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Musime ensalosalo mu kiwonvu kino.’ 17 (H)Mukama agamba nti, ‘Temuulabe mbuyaga wadde enkuba, naye ekiwonvu kino kijja kujjula amazzi, era mmwe munaanywa, n’ente zammwe zinaanywa, n’ebisolo byammwe ebirala nabyo binywe. 18 (I)Eyo nsonga nnyangu mu maaso ga Mukama, era n’Abamowaabu mujja kubawangula. 19 Mulizikiriza buli kibuga ekyetooloddwa bbugwe na buli kibuga ekikulu, era mulitema buli muti omulungi, ne muziyiza n’enzizi okuleeta amazzi, era ne mwonoona buli nnimiro nga mugijjuza amayinja.’ ”
20 (J)Awo obudde bwe bwakya, mu kiseera eky’okuweerayo ssaddaaka, amazzi ne gakulukuta nga gava ku luuyi olwa Edomu, ensi n’ejjula amazzi.
12 Ng’abalonde ba Katonda abatukuvu era abaagalwa, mwambalenga omwoyo ogusaasira, n’ekisa, n’obuwombeefu, n’obuteefu, n’obugumiikiriza. 13 (A)Bwe wabangawo omuntu yenna alina ensonga ku munne, muzibiikirizaganenga, era musonyiwaganenga. Nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa era nammwe musonyiwaganenga. 14 (B)Okwagala kwe kusinga ebintu ebirala byonna, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna.
15 (C)N’emirembe gya Kristo gifugenga emitima gyammwe, kubanga emirembe egyo gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mwebazenga.
Amateeka g’omu Nnyumba z’Abakristaayo
16 (D)Ekigambo kya Kristo mu bugagga bwakyo kibeerenga mu mmwe, mu magezi gonna nga muyigirizagananga era nga mubuuliragananga mwekka na mwekka mu Zabbuli, ne mu nnyimba, ne mu biyiiye eby’omwoyo nga muyimbira Katonda nga mujjudde ekisa mu mitima gyammwe. 17 (E)Na buli kye munaakolanga mu kigambo oba mu kikolwa, byonna mubikolenga mu linnya lya Mukama waffe Yesu nga muyita mu ye okwebaza Katonda Kitaffe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.