Revised Common Lectionary (Complementary)
Ya mukulu wa Bayimbi. Ya ndere. Zabbuli ya Dawudi.
5 Otege okutu eri ebigambo byange, Ayi Mukama;
olowooze ku kunyolwa kwange.
2 (A)Wuliriza eddoboozi ly’omulanga gwange,
Ayi Kabaka wange era Katonda wange:
kubanga ggwe gwe nsaba.
3 (B)Ayi Mukama, buli nkya owulira eddoboozi lyange;
buli nkya ndeeta gy’oli okusaba kwange,
ne nnindirira onziremu.
4 (C)Kubanga ggwe Ayi Katonda, tosanyukira bibi:
n’ebitasaana tobigumiikiriza.
5 (D)Ab’amalala era abakola ebibi tobeetaaga mu maaso go:
kubanga okyawa abakola ebibi bonna.
6 (E)Abalimba bonna obazikiriza;
Mukama akyawa abatemu
era n’abalimba.
7 (F)Naye olw’ekisa kyo ekingi,
nze nnaayingiranga mu nnyumba yo:
ne nkusinziza mu Yeekaalu yo Entukuvu
n’okutya okungi.
8 (G)Onkulembere, Ayi Mukama, mu butuukirivu bwo,
olw’abalabe bange,
ondage ekkubo eggolokofu ery’okutambulirangamu.
9 (H)Abalabe bange bye boogera tebyesigibwa;
emitima gyabwe gijjudde bussi bwereere.
Emimiro gyabwe ntaana eyasaamiridde:
akamwa kaabwe koogera bya bulimba.
10 (I)Basalire omusango gubasinge, Ayi Katonda;
baleke bagwe mu mitego gyabwe.
Bagobe
kubanga baakujeemera.
11 (J)Naye leka abo bonna abakwesiga basanyukenga;
ennaku zonna bayimbenga n’essanyu,
obakuumenga,
abo abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe.
12 (K)Kubanga, Ayi Mukama, omutuukirivu omuwa omukisa;
era omukuuma, n’omwetoolooza okwagala ng’engabo.
21 (A)Abalina emitima egy’amagezi baliyitibwa bategeevu,
n’enjogera ennungi eyongera okuyamba okutegeera.
22 (B)Amagezi nsulo ya bulamu eri oyo agalina,
naye obusirusiru buleetera abasirusiru okubonerezebwa.
23 Omutima gw’omuntu ow’amagezi gumuwa enjogera ennungi,
era akamwa ke kayigiriza abalala.
24 (C)Ebigambo ebirungi biri ng’ebisenge by’omubisi gw’enjuki,
biwoomera emmeeme, ne biwonya n’amagumba.
25 (D)Wabaawo ekkubo erirabika ng’ettuufu eri omuntu,
naye ku nkomerero limutuusa mu kufa.
26 Okwagala okulya kuleetera omuntu okukola n’amaanyi,
kubanga enjala emukubiriza okweyongera okukola.
27 (E)Omuntu omusirusiru ategeka okukola ebitali bya butuukirivu,
era n’ebigambo bye, biri ng’omuliro ogwokya ennyo.
28 (F)Omuntu omubambaavu asiikuula entalo,
n’ow’olugambo ayawukanya ab’omukwano enfirabulago.
29 (G)Omuntu omukyamu asendasenda muliraanwa we
n’amutwala mu kkubo eritali ttuufu.
30 Omuntu atemya ku liiso ateekateeka kwonoona,
n’oyo asongoza emimwa ategeka kukola bitali birungi.
31 (H)Omutwe ogw’envi ngule ya kitiibwa,
gufunibwa abo abatambulira mu bulamu obutuukirivu.
32 Omuntu omugumiikiriza asinga omutabaazi,
n’oyo afuga obusungu bwe akira awamba ekibuga.
33 (I)Akalulu kayinza okukubibwa,
naye okusalawo kwa byonna kuva eri Mukama.
Obulongoofu n’Obutali Bulongoofu
15 Awo Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne bava e Yerusaalemi ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti: 2 (A)“Abayigirizwa bo lwaki banyoomoola obulombolombo bw’Abakadde? Kubanga tebanaaba mu ngalo nga bagenda okulya emmere.”
3 Naye Yesu naye n’ababuuza nti, “Lwaki mumenya amateeka ga Katonda, nga mwerimbika mu bulombolombo bwammwe? 4 (B)Katonda yagamba nti, ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa. Oyo anaavumanga kitaawe ne nnyina battanga mutte,’ 5 Naye mmwe mugamba nti, Buli agamba kitaawe oba nnyina nti, ‘Ekirabo kye nandikuwadde nkiwaddeyo eri Katonda,’ omuntu oyo teyeetaaga kussaamu kitaawe kitiibwa. 6 Noolwekyo tassaamu kitaawe oba nnyina kitiibwa. Bwe mutyo ne mudibya etteeka lya Katonda olw’obulombolombo bwammwe. 7 Mmwe bannanfuusi! Nnabbi Isaaya yayogera bulungi ebyobunnabbi ebibakwatako bwe yagamba nti,
8 “ ‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa.’
Naye emitima gyabwe gindi wala.
9 (C)‘Okusinza kwabwe kwa bwereere.
Kubanga bayigiriza amateeka abantu ge beekoledde.’ ”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.