Revised Common Lectionary (Complementary)
Ya mukulu wa Bayimbi. Ya ndere. Zabbuli ya Dawudi.
5 Otege okutu eri ebigambo byange, Ayi Mukama;
olowooze ku kunyolwa kwange.
2 (A)Wuliriza eddoboozi ly’omulanga gwange,
Ayi Kabaka wange era Katonda wange:
kubanga ggwe gwe nsaba.
3 (B)Ayi Mukama, buli nkya owulira eddoboozi lyange;
buli nkya ndeeta gy’oli okusaba kwange,
ne nnindirira onziremu.
4 (C)Kubanga ggwe Ayi Katonda, tosanyukira bibi:
n’ebitasaana tobigumiikiriza.
5 (D)Ab’amalala era abakola ebibi tobeetaaga mu maaso go:
kubanga okyawa abakola ebibi bonna.
6 (E)Abalimba bonna obazikiriza;
Mukama akyawa abatemu
era n’abalimba.
7 (F)Naye olw’ekisa kyo ekingi,
nze nnaayingiranga mu nnyumba yo:
ne nkusinziza mu Yeekaalu yo Entukuvu
n’okutya okungi.
8 (G)Onkulembere, Ayi Mukama, mu butuukirivu bwo,
olw’abalabe bange,
ondage ekkubo eggolokofu ery’okutambulirangamu.
9 (H)Abalabe bange bye boogera tebyesigibwa;
emitima gyabwe gijjudde bussi bwereere.
Emimiro gyabwe ntaana eyasaamiridde:
akamwa kaabwe koogera bya bulimba.
10 (I)Basalire omusango gubasinge, Ayi Katonda;
baleke bagwe mu mitego gyabwe.
Bagobe
kubanga baakujeemera.
11 (J)Naye leka abo bonna abakwesiga basanyukenga;
ennaku zonna bayimbenga n’essanyu,
obakuumenga,
abo abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe.
12 (K)Kubanga, Ayi Mukama, omutuukirivu omuwa omukisa;
era omukuuma, n’omwetoolooza okwagala ng’engabo.
18 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Naye ne mu nnaku ezo sigenda kubazikiririza ddala kubamalawo. 19 (B)Era abantu bammwe bwe bagamba nti, ‘Lwaki Katonda waffe atukoze ebintu bino byonna?’ Onoobagamba nti, ‘Nga bwe mwanvaako ne muweereza bakatonda abalala mu nsi yammwe, mujja kuweereza bakatonda abagwira mu nsi eteri yammwe.’
20 “Langirira kino mu nnyumba ya Yakobo,
kirangirire mu Yuda.
21 (C)Wulira kino, mmwe abantu abasirusiru abatalina kutegeera,
abalina amaaso naye nga tebalaba,
abalina amatu naye nga tebawulira.
22 (D)Temuntya?” bw’ayogera Mukama;
“temunkankanira?
Nateeka omusenyu okuba ensalo y’ennyanja,
olukomera olutaliggwaawo, lwetasobola kuvvuunuka;
wadde ng’amayengo galukubaakuba, tegasobola kuluwaguza,
gayinza okuwuluguma, naye tegasobola kuluyitako.
23 (E)Naye abantu bano balina omutima omwewagguze era omujeemu.
Bajeemye banvuddeko.
24 (F)Abateekuba mu kifuba kugamba nti, ‘Tutye Mukama Katonda waffe agaba enkuba,
eya ddumbi n’eya ttoggo,
mu ntuuko zaayo;
atugerekera ssabbiiti ez’okukunguliramu.’ ”
25 Obutali butuukirivu bwammwe bubibakwese
ebibi byammwe bibaggyeeko ebirungi.
26 (G)“Kubanga abasajja abakozi b’ebibi basangibwa mu bantu bange;
abagalamira ne balindirira ng’abasajja abatezi b’obunyonyi.
Batega abantu omutego.
27 (H)Ng’ebisero ebijjudde ebinyonyi,
enju zaabwe bwe zijjudde eby’enkwe.
Noolwekyo bafuuse ab’amaanyi abagagga,
ne bagejja era ne banyirira.
28 (I)Ekibi kyabwe tekiriiko kkomo, tebasala misango mu bwenkanya,
abatawolereza bataliiko ba kitaabwe okubayamba basinge emisango,
era abatafaayo ku ddembe lya bakateeyamba.
29 Lwaki sibabonereza olw’ebintu ebyo?”
bw’ayogera Mukama.
“Nneme okwesasuza ku ggwanga
eriri nga eryo?
13 (A)Naffe kyetuva twebaza Katonda obutayosa, kubanga bwe mwawulira ekigambo ekiva gye tuli, temwakiwulira ng’ekiva eri abantu wabula ng’ekiva eri Katonda, nga ky’ekigambo kya Katonda kyennyini, ekikolera ne mu mmwe, abakkiriza. 14 (B)Nammwe, abooluganda abaagalwa, mwabonaabona ng’Ekkanisa za Katonda eziri mu Buyudaaya mu Kristo Yesu, nga muyigganyizibwa abantu b’eggwanga lyammwe mmwe, nga nabo bwe baayigganyizibwa abantu b’eggwanga lyabwe Abayudaaya. 15 (C)Bwe baamala okutta bannabbi baabwe, ne batta ne Mukama waffe Yesu, era naffe baatuyigganya nnyo; tebaasanyusa Katonda era balabe b’abantu bonna, 16 (D)era baatugaana okubuulira Abaamawanga olw’okutya nti bajja kulokoka, kale ebibi byabwe byeyongera bulijjo; ku nkomerero, obusungu bwa Katonda bubabuubuukiddeko.
Pawulo okwagala okulaba Abasessaloniika
17 (E)Abooluganda bwe twabaawukanako nga wayiseewo akaseera akatono, wadde essaawa emu, so ng’emitima gyaffe gisigadde eyo, twegomba nnyo okukomawo twongere okubalabako. 18 (F)Twayagala nnyo okudda gye muli, na ddala nze, Pawulo; nagezaako emirundi n’emirundi, naye Setaani n’atuziyiza. 19 (G)Kale Mukama waffe Yesu bw’alijja, si mmwe mulibeera essuubi n’essanyu lyaffe, n’engule ey’okwenyumiriza kwaffe? 20 (H)Kubanga mmwe kitiibwa kyaffe era essanyu lyaffe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.