Revised Common Lectionary (Complementary)
Zabbuli ya Dawudi.
24 (A)Ensi ya Mukama n’ebigirimu byonna,
n’ensi zonna n’abo abazibeeramu.
2 Kubanga yasimba emisingi gyayo mu nnyanja,
n’agizimba ku mazzi amangi.
3 (B)Alyambuka ku lusozi lwa Mukama ye afaanana atya?
Era wa ngeri ki aliyingira n’ayimirira mu nnyumba ye entukuvu?
4 (C)Oyo alina omutima omulongoofu, nga n’emikono gye mirongoofu;
atasinza bakatonda abalala,
era atalayirira bwereere.
5 Oyo Mukama anaamuwanga omukisa,
n’obutuukirivu okuva eri Katonda ow’obulokozi bwe.
6 (D)Ogwo gwe mulembe gw’abo abakunoonya,
Ayi Katonda wa Yakobo.
7 (E)Mweggulewo, mmwe bawankaaki!
Muggulwewo, mmwe enzigi ez’edda,
Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
8 (F)Kabaka ow’ekitiibwa ye ani?
Ye Mukama ow’amaanyi era ow’obuyinza,
omuwanguzi mu ntalo.
9 Mweggulewo, mmwe bawankaaki,
muggulwewo mmwe enzigi ez’edda!
Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
10 Kabaka ow’ekitiibwa oyo ye ani?
Mukama Ayinzabyonna;
oyo ye Kabaka ow’ekitiibwa.
18 (A)“Nga bwe ndi omulamu,” bw’ayogera oyo Kabaka
ayitibwa Mukama Katonda ow’Eggye,
“Waliwo alijja ali nga Taboli wakati mu nsozi,
nga Kulumeeri ku nnyanja.
19 (B)Musibe engugu zammwe muwaŋŋanguke,
mmwe abali mu Misiri
kubanga Noofu kirifuuka matongo,
ekiryaawo omutali bantu.
20 (C)“Misiri nte nduusi nnungi nnyo,
naye kawawa avudde mu bukiikakkono azze okumulumba.
21 (D)N’abajaasi be abapangise
bagezze ng’ennyana.
Nabo bajja kukyuka badduke,
tebaasobole kuyimirirawo,
kubanga olunaku olw’ekikangabwa lubajjira,
ekiseera kyabwe eky’okubonerezebwa kisembedde.
22 Misiri alikaaba ng’omusota ogudduka,
omulabe alimulumba mu maanyi,
amujjire n’embazzi,
ng’abatemi b’emiti.
23 (E)Balitema ekibira kye,” bw’ayogera Mukama Katonda,
“newaakubadde nga kikutte nnyo.
Bangi n’okusinga enzige,
tebasobola kubalika.
24 (F)Muwala wa Misiri aliswazibwa,
aweebweyo mu mukono gw’abo abava mu bukiikakkono.”
25 (G)Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, agamba nti, “Nnaatera okuleeta ekibonerezo ku Amoni katonda w’e Tebeesi, ne ku Falaawo, ne ku Misiri, ne ku bakatonda be, ne ku bakabaka be, ne ku abo abeesiga Falaawo. 26 (H)Ndibawaayo eri abo abaagala okubatta, eri Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’abakungu be. Wabula oluvannyuma, Misiri eribeeramu abantu nga bwe yali edda,” bw’ayogera Mukama Katonda.
27 (I)“Totya, ggwe Yakobo omuweereza wange;
toggwaamu maanyi, ggwe Isirayiri.
Ddala ddala ndikununula okuva mu kifo eky’ewala,
n’ezzadde lyo ndinunule okuva mu nsi ey’obuwaŋŋanguse bwalyo.
Yakobo aliddamu okufuna emirembe n’atebenkera,
era tewali alimutiisa.
28 (J)Totya, ggwe Yakobo omuddu wange,
kubanga ndi naawe,” bw’ayogera Mukama.
“Wadde nga nazikiririza ddala amawanga gonna
gye nabasaasaanyiza,
naye mmwe siribazikiririza ddala.
Ndibabonereza naye mu bwenkanya;
siribaleka nga temubonerezebbwa.”
5 (A)Oyo eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka n’agamba nti, “Laba, ebintu byonna mbizzizza buggya.” Era n’aŋŋamba nti, “Wandiika bino, kubanga bigambo bya bwesigwa era bya mazima!”
6 (B)N’aŋŋamba nti, “Bituukiridde, Nze Alufa era nze Omega, Entandikwa era Enkomerero. Buli alumwa ennyonta ndimuwa okunywa ku nsulo ez’amazzi amalamu, ag’obuwa. 7 Buli awangula alifuna ebyo byonna ng’omugabo, era nze nnaaberanga Katonda we, naye anaabanga mwana wange. 8 (C)Naye abo ababi n’abatakkiriza n’abagwagwa, n’abassi, n’abenzi, n’abalogo n’abasinza ebifaananyi, n’abalimba bonna, omugabo gwabwe kuliba kuzikirizibwa mu nnyanja ey’omuliro ogwaka ne salufa. Okwo kwe kufa okwokubiri.”
9 (D)Awo omu ku bamalayika omusanvu abaali bamaze okuyiwa ebibya ebyalimu ebibonoobono omusanvu eby’enkomerero n’ajja n’aŋŋamba nti, “Jjangu nkulage omugole w’Omwana gw’Endiga.” 10 (E)N’antwala ku ntikko y’olusozi olunene era oluwanvu mu kwolesebwa; n’andaga ekibuga Yerusaalemi ekitukuvu nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda, 11 (F)nga kyonna kijjudde ekitiibwa kya Katonda era nga kimasamasa ng’ejjinja ery’omuwendo omungi, erya yasepi, eritangalijja. 12 (G)Bbugwe waakyo yali mugazi era nga mugulumivu, ng’aliko emiryango kkumi n’ebiri era nga gikuumibwa bamalayika kkumi na babiri, n’amannya g’ebika ekkumi n’ebibiri ebya Isirayiri nga gawandiikibbwa ku miryango egyo. 13 Ku luuyi olw’ebuvanjuba kwaliko emiryango esatu, ne ku luuyi olw’obukiikakkono nga kuliko emiryango esatu, ne ku luuyi olw’obukiikaddyo nga kuliko emiryango esatu, era ne ku luuyi olw’obugwanjuba nga kuliko emiryango esatu. 14 Bbugwe yaliko amayinja ag’omusingi kkumi n’abiri ag’abatume b’Omwana gw’Endiga.
15 (H)Malayika eyali ayogera nange yali akutte mu mukono gwe omuggo ogwa zaabu ogupimisibwa, apime ekibuga, emiryango gyakyo era ne bbugwe waakyo. 16 Ekibuga kyali kyenkanankana enjuuyi zonna, n’obuwanvu nabwo nga bwenkana n’obugazi awamu n’obukiika. Byonna byali bipima kilomita enkumi bbiri mu ebikumi bina, buli kimu nga kyenkanankana ne kinnaakyo. 17 Ate n’apima ne bbugwe waakyo ne kiweza mita nkaaga mu mukaaga ng’ekipimo ky’omuntu bwe kiri ng’apimye, awamu n’eky’abamalayika. 18 (I)Bbugwe waakyo yali azimbiddwa n’amayinja agayesipi nga n’ekibuga kya zaabu omulongoose nga kitangalijja ng’endabirwamu ennungi. 19 (J)Emisingi gya bbugwe w’ekibuga nga giyooyooteddwa n’amayinja ag’omuwendo omungi ennyo aga buli ngeri. Omusingi ogusooka gwayooyootebwa n’amayinja aga yasepi, ogwokubiri aga safiro, ogwokusatu aga kalukedoni, ogwokuna aga nnawandagala, 20 (K)ogwokutaano aga sadonukisi, ogw’omukaaga sadiyo, ogw’omusanvu aga kerusoliso, ogw’omunaana aga berulo, ogw’omwenda aga topazi, ogw’ekkumi aga kerusoperaso, ogw’ekkumi n’ogumu aga kuwakinso, n’ogw’ekkumi n’ebiri aga amesusito. 21 (L)Ate emiryango ekkumi n’ebiri gyakolebwa n’amayinja ag’omuwendo aga luulu ennungi kkumi n’abiri, nga buli mulyango gukoleddwa n’ejjinja lya luulu limu. Ate lwo oluguudo olunene olw’ekibuga lwali lwa zaabu ennungi etangalijja ng’endabirwamu.
22 (M)Mu kibuga ekyo saalabamu yeekaalu, Mukama Katonda Ayinzabyonna awamu n’Omwana gw’Endiga, bo ye yeekaalu yaakyo. 23 (N)Era ekibuga ekyo tekyetaaga njuba wadde omwezi okukyakira, kubanga ekitiibwa kya Katonda kye kikimulisa, era Omwana gw’Endiga ye ttabaaza yaakyo. 24 (O)Ekitangaala kyakyo kye kinaamulisanga amawanga ag’omu nsi, era abafuzi ab’omu nsi balijja ne bakireetera ekitiibwa. 25 (P)Emiryango gyakyo tegiggalwenga emisana, era yo teriba kiro. 26 Kirifuna ekitiibwa n’ettendo eby’amawanga. 27 (Q)Tewali ekitali kirongoofu ekirikkirizibwa okuyingira mu kyo, wadde abo abatambulira mu mpisa ezitali nnongoofu oba abalimba, wabula abalikibeeramu, beebo bokka, amannya gaabwe agaawandiikibwa mu kitabo eky’obulamu eky’Omwana gw’Endiga.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.