Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 141

Zabbuli Ya Dawudi.

141 (A)Ayi Mukama nkukaabira; oyanguwe okujja gye ndi!
    Owulire eddoboozi lyange, nga nkukoowoola.
(B)Okusaba kwange kubeere ng’ebyakaloosa mu maaso go,
    n’okugolola emikono gyange gy’oli kubeere nga ssaddaaka ey’akawungeezi.

Onkuume, Ayi Mukama, nneme okwasamya akamwa kange,
    era bwe njogera onkomeko.
(C)Okyuse omutima gwange guleme kugoberera kibi,
    n’okwemalira mu bikolwa ebibi;
nneme okwetaba n’abantu abakola ebitali bya butuukirivu,
    wadde okulya ku mmere yaabwe.

(D)Leka omuntu omutuukirivu ankube, kubanga anaaba ankwatiddwa ekisa;
    muleke annenye, ekyo kinaaba ng’amafuta amalungi agafukiddwa ku mutwe gwange;
    sijja kugagaana.
Naye nnaasabanga bulijjo nga sikkiriziganya na babi wadde n’ebikolwa byabwe.
    Abakola ebibi bwe baliweebwayo eri ab’okubasalira omusango,
    olwo ne balyoka bayiga nti ebigambo byange bya mazima.
(E)Balyogera nti, “Ng’omuntu bw’akabala n’akuba amavuunike,
    n’amagumba gaffe bwe galisaasaanyizibwa bwe gatyo mu kamwa k’emagombe.”

(F)Naye nze amaaso ngatadde ku ggwe, Ayi Mukama Katonda;
    mu ggwe mwe neekwese, tondeka nga sirina anambeera!
(G)Nkuuma omponye omutego gwe banteze,
    n’ebitimba by’abo abakola ebitali bya butuukirivu.
10 (H)Ebitimba bye banteze abakola ebibi abo bonna, baleke babigwemu, kyokka nze mpone.

Ezeekyeri 39:21-40:4

21 (A)“Ndyoleka ekitiibwa kyange mu mawanga, era amawanga gonna galiraba ekibonerezo kye ndikuwa, nga n’omukono gwange gubateekeddwaako. 22 Okuva ku lunaku olwo, ennyumba ya Isirayiri balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe. 23 (B)N’amawanga galimanya ng’abantu ba Isirayiri balitwalibwa mu buwaŋŋanguse olw’ebibi byabwe, kubanga tebaali beesigwa gye ndi. Kyenava mbakweka amaaso gange ne mbawaayo mu mukono gw’abalabe baabwe, bonna ne battibwa ekitala. 24 (C)Nababonereza ng’obutali butuukirivu bwabwe n’ebikolwa byabwe bwe byali, ne mbakisa amaaso gange.

25 (D)“Noolwekyo Mukama Katonda ayogera nti, Ndikomyawo Yakobo okuva mu buwaŋŋanguse, era ndikwatirwa ekisa ennyumba ya Isirayiri yonna, era ndirwanirira erinnya lyange ettukuvu. 26 (E)Balyerabira okuswazibwa kwabwe, n’obutali bwesigwa bwe bandaga, bwe baabeera mu nsi yaabwe emirembe, nga tebaliiko abatiisa. 27 (F)Bwe ndibakomyawo okuva mu mawanga, nga mbakuŋŋaanyizza okuva mu nsi ez’abalabe baabwe, ndyoleka obutukuvu bwange mu bo eri amawanga mangi. 28 Olwo balimanya nga nze Mukama Katonda, kubanga nabasindika mu buwaŋŋanguse mu mawanga, ate ne mbakuŋŋaanya eri ensi yaabwe, ne sirekaayo n’omu. 29 (G)Siribakisa maaso gange nate, bwe ndifuka Omwoyo wange ku nnyumba ya Isirayiri, bw’ayogera Mukama Katonda.”

Ekifo Ekiggya ekya Yeekaalu

40 (H)Ku ntandikwa ey’omwaka ogw’amakumi abiri mu etaano nga tuli mu buwaŋŋanguse, ku lunaku lw’omwezi ogw’ekkumi, oluvannyuma lw’emyaka kkumi n’ena ng’ekibuga kigudde, omukono gwa Mukama ne gunzikako ku lunaku olwo lwennyini, n’antwalayo. (I)Mu kwolesebwa, Katonda n’antwala mu nsi ya Isirayiri n’anteeka ku luuyi olw’Obukiikaddyo obw’olusozi oluwanvu ennyo okwali ebizimbe ebyali ng’ekibuga. (J)N’antwala eyo, ne ndaba omusajja, ng’alabika ng’ayakolebwa mu kikomo, ng’ayimiridde mu mulyango ng’akutte omuguwa ogwa linena n’oluti olupima. (K)Omusajja n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, tunula n’amaaso go owulire n’amatu go osseeyo omwoyo ku buli kye nnaakulaga, kyovudde oleetebwa wano. Byonna by’onoolaba obitegeeze ennyumba ya Isirayiri.”

1 Abakkolinso 10:23-11:1

23 (A)Byonna bikkirizibwa, naye si byonna ebirimu omugaso. Byonna bikkirizibwa naye si byonna ebizimba. 24 (B)Omuntu yenna alemenga okwefaako yekka, naye afengayo ne ku bya munne.

25 (C)Mwegulire ennyama eya buli ngeri gye batunda mu katale mulye, awatali kusooka kwebuuza olw’omwoyo gwammwe. 26 (D)Kubanga ensi ya Mukama n’okujjula kwayo.

27 (E)Singa omu ku batali bakkiriza abayita ku kijjulo, ne mwagala okugenda, kale mulyenga kyonna kye banaabagabulanga nga temuliiko kye mubuuzizza olw’obulungi bw’omwoyo gwammwe. 28 (F)Kyokka omuntu yenna bw’abategeezanga nti, “Kino kyaweereddwayo eri bakatonda abalala,” temukiryanga olw’oyo abategeezezza n’olw’obulungi bw’omwoyo gwammwe, 29 (G)bwe njogera bwe ntyo, njogera ku mwoyo gwe so si ogw’oli omulala. Kubanga lwaki eddembe lyange lisalirwa omusango omwoyo gw’omulala? 30 (H)Bwe ndya nga neebazizza, lwaki nnenyezebwa olw’ekyo kye ndya nga neebazizza?

31 (I)Kubanga buli kye mukola, oba kulya oba kunywa, mukikole nga mugenderera kugulumiza Katonda. 32 (J)Temukolanga ekyo ekineesittaza Abayudaaya oba Abayonaani wadde ab’ekkanisa ya Katonda. 33 (K)Nange bwe ntyo ngezaako okusanyusa abantu bonna mu byonna bye nkola, nga sinoonya byange, wabula nga nfa ku bulungi bw’abalala balyoke balokolebwe.

11 (L)Mundabireko nga nange bwe ndabira ku Kristo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.