Revised Common Lectionary (Complementary)
Oluyimba nga balinnya amadaala.
123 (A)Nnyimusa amaaso gange gy’oli,
Ayi ggwe atuula ku ntebe ey’obwakabaka mu ggulu.
2 (B)Amaaso g’abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe;
n’amaaso g’omuweereza omukazi nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we[a],
n’amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe,
okutuusa lw’alitusaasira.
3 Tusaasire, Ayi Mukama, tusaasire,
kubanga tunyoomeddwa nnyo ddala.
4 Emitima gyaffe gijjudde ennaku olw’okuduulirwa abo abeeyagala,
n’okunyoomebwa ab’amalala.
Birudaadi Addamu
25 Awo Birudaadi Omusuki n’addamu n’ayogera nti,
2 (A)“Okufuga kwa Katonda n’entiisa ya Katonda;
ateekawo enkola entuufu mu bifo ebya waggulu mu ggulu.
3 (B)Amaggye ge gasobola okubalibwa?
Ani atayakirwa musana gwe?
4 (C)Olwo omuntu ayinza atya okwelowooza nti mutuukirivu awali Katonda?
Omuntu eyazaalibwa omukazi ayinza atya okuba omulongoofu?
5 (D)Laba n’omwezi tegulina bye gwaka,
n’emmunyeenye si nnongoofu mu maaso ge.
6 (E)Ate omuntu obuntu oyo envunyu obuvunyu,
omwana w’omuntu, oyo olusiriŋŋanyi, ayinza atya okwelowooza nti mulongoofu!”
Yobu Ayanukula
26 Awo Yobu n’addamu nti,
2 (F)“Ng’oyambye oyo atalina maanyi!
Ng’oyambye omukono ogwo ogutalina maanyi!
3 Ng’amagezi ga kitalo ago g’owadde oyo atalina magezi!
Ng’owadde okuluŋŋamizibwa okuyitirivu!
4 Ani akuyambye okwogera ebigambo ebyo?
Era mwoyo ki ogwogeredde mu kamwa ko?
5 (G)“Abafu kye balimu tekigumiikirizika,
n’abo abali wansi w’amazzi ne bonna abagabeeramu.
6 (H)Amagombe gali bwereere mu maaso ga Katonda;
n’okuzikiriza tekulina kikubisse.
7 (I)Ayanjuluza eggulu ery’obukiikakkono mu bbanga ejjereere,
awanika ensi awatali kigiwanirira.
8 (J)Asiba amazzi mu bire bye;
ate ebire tebyabika olw’okuzitoowererwa.
9 (K)Abikka obwenyi bw’omwezi,
agwanjululizaako ebire bye.
10 (L)Ateekawo ekipimo ekiraga waggulu amazzi g’ennyanja we gayita,
ng’ensalo eyawula ekitangaala n’ekizikiza.
11 Empagi z’eggulu zikankana,
zeewuunya olw’okunenya kwe.
12 (M)Afuukuula ennyanja n’obuyinza bwe,
n’asalaasala Lakabu mu bitundutundu n’amagezi ge.
13 (N)Yafuuwa omukka ogwatereeza eggulu,
omukono gwe gwafumita omusota oguwulukuka.
14 (O)Naye nga bino katundu butundu ku bye yakola.
Nga kye tumuwulirako katundu butundu ku ekyo ky’ali!
Ani ayinza okutegeera okubwatuka kw’obuyinza bwe?”
19 (A)Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Omwana taliiko ky’akola ku bubwe, wabula ekyo ky’alaba Kitaawe ng’akola. Kubanga ye by’akola n’Omwana by’akola. 20 (B)Kubanga Kitaawe w’Omwana ayagala Omwana we era amulaga ky’akola, era Omwana ajja kukola ebyamagero bingi ebyewuunyisa okusinga na bino. 21 (C)Kubanga nga Kitaawe w’Omwana bw’azuukiza abafu, bw’atyo n’Omwana awa obulamu abo baayagala. 22 (D)Era Kitaawe w’Omwana talina n’omu gw’asalira musango, naye obuyinza obw’okusala emisango gyonna yabuwa Omwana we, 23 (E)abantu bonna balyoke bassengamu Omwana ekitiibwa nga bwe bassa mu Kitaawe ekitiibwa. Atassaamu Mwana kitiibwa, ne Kitaawe eyamutuma tamussaamu kitiibwa.
24 (F)“Ddala ddala mbagamba nti, Awulira ebigambo byange, n’akkiriza eyantuma, aba n’obulamu obutaggwaawo, era talisingibwa musango, kubanga aliba avudde mu kuzikirira ng’atuuse mu bulamu. 25 (G)Ddala ddala mbagamba nti, Ekiseera kijja, era kituuse, abafu lwe baliwulira eddoboozi ly’Omwana wa Katonda, era n’abaliwulira baliba balamu. 26 Kubanga nga Kitaawe w’Omwana bw’alina obulamu mu ye, bw’atyo bwe yawa Omwana okuba n’obulamu mu ye, 27 (H)era yamuwa obuyinza okusalira abantu emisango, kubanga ye Mwana w’Omuntu.
28 (I)“Ekyo tekibeewuunyisa, kubanga ekiseera kijja abafu abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye 29 (J)ne bavaamu kubanga be baakola ebintu ebirungi, era balifuna obulamu obutaggwaawo, naye abo abaakolanga ebibi balizuukira ne babonerezebwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.