Revised Common Lectionary (Complementary)
Oluyimba nga balinnya amadaala.
123 (A)Nnyimusa amaaso gange gy’oli,
Ayi ggwe atuula ku ntebe ey’obwakabaka mu ggulu.
2 (B)Amaaso g’abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe;
n’amaaso g’omuweereza omukazi nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we[a],
n’amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe,
okutuusa lw’alitusaasira.
3 Tusaasire, Ayi Mukama, tusaasire,
kubanga tunyoomeddwa nnyo ddala.
4 Emitima gyaffe gijjudde ennaku olw’okuduulirwa abo abeeyagala,
n’okunyoomebwa ab’amalala.
Yobu Ayanukula
21 Awo Yobu n’addamu n’ayogera nti,
17 (A)“Ettaala y’abakozi b’ebibi yo, ezikira emirundi emeka?
Ennaku ebajjira emirundi emeka?
Katonda abatuusaako obulumi, ng’abasunguwalidde.
18 (B)Bali ng’ebisasiro ebitwaalibwa empewo;
ng’ebisusunku embuyaga bye zitwala.
19 (C)Katonda abonereza abaana olw’ekibi kya bakitaabwe.
Asasule omuntu yennyini oyo alyoke ategeere!
20 (D)Leka amaaso ge ye yennyini galabe okuzikirira;
leka anywe ku kiruyi kya Ayinzabyonna.
21 (E)Kubanga aba afaayo ki ku maka g’aba alese,
nga emyezi gye egyamutegekerwa giweddeko?
22 (F)“Eriyo ayinza okuyigiriza Katonda amagezi,
kubanga asalira omusango n’abo abasinga okuba aba waggulu?
23 Omusajja omu afiira w’abeerera ow’amaanyi,
nga munywevu ddala ali mu mirembe gye,
24 (G)omubiri gwe nga guliisiddwa bulungi,
amagumba ge nga gajjudde obusomyo.
25 Omusajja omulala n’afa ng’alina obulumi ku mutima,
nga teyafuna kintu kyonna kirungi.
26 (H)Ne beebaka kye kimu mu ttaka,
envunyu ne zibabikka bombi.
27 “Mmanyi bulungi ddala kye mulowooza,
enkwe ze mwagala okunsalira.
28 (I)Mugamba nti, ‘Kaakano eruwa ennyumba y’omusajja ow’amaanyi,
eweema abasajja abakozi b’ebibi mwe baabeeranga?’
29 Temwebuuzanga ku abo abatambula eŋŋendo?
Temukkiriza bye babagamba,
30 (J)nti omusajja omukozi w’ebibi awona ku lunaku olw’emitawaana,
era awona ku lunaku olw’ekiruyi?
31 Ani avumirira ebikolwa bye maaso ku maaso,
ani amusasula ebyo by’akoze?
32 Atwalibwa ku ntaana,
era amalaalo ge gakuumibwa.
33 (K)Ettaka eriri mu lusenyi limuwoomera,
abantu bonna bamugoberera,
n’abalala abatamanyiddwa muwendo ne bamukulembera.
34 (L)“Kaakano musobola mutya okuŋŋumya n’ebitaliimu?
Tewali kisigaddeyo ku bye mwanzizeemu wabula obulimba!”
1 (A)Nze omukadde mpandiikira omukyala omulonde awamu n’abaana be, be njagalira ddala mu mazima, si nze mbaagala nzekka, wabula n’abo bonna abategeera amazima. 2 (B)Amazima ago gabeera mu ffe, era gajjanga kubeera mu ffe emirembe gyonna.
3 (C)Ekisa, n’okusaasira n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Omwana wa Kitaffe bijjanga kubeera naffe mu mazima ne mu kwagala.
4 (D)Nnasanyuka nnyo, bwe nnasanga abamu ku baana bo nga batambulira mu mazima nga bwe twalagirwa Kitaffe. 5 (E)Naye nnyabo kaakano nkusaba nga siri ng’akuwa ekiragiro ekiggya, naye nkujjukiza ekiragiro ekyo Katonda kye yatuwa okuva ku lubereberye nti, “Twagalanenga.” 6 (F)Era kuno kwe kwagalana nti tugonderenga ebiragiro bya Katonda. Kubanga okuva ku lubereberye twategeezebwa nga bwe tuteekwa okutambula.
7 (G)Mwekuume, abalimba bangi mu nsi abatakkiriza nti Yesu yayambala omubiri. Buli muntu ayogera bw’atyo mulimba era mulabe wa Kristo. 8 (H)Mwekuume, muleme okufiirwa kye twakolerera, wabula mukikuume kubanga mulifuna empeera yammwe yonna. 9 (I)Buli asukka ku ebyo Kristo by’ayigiriza n’atabinywereramu, talina Katonda; naye oyo anywerera mu kuyigiriza okwo alina Kitaffe n’Omwana. 10 (J)Omuntu yenna bw’ajja gye muli, n’atayigiriza bw’atyo, temumwanirizanga mu nnyumba yammwe, n’okulamusa temumulamusanga. 11 (K)Kubanga buli amusembeza aba yeenyigidde mu bikolwa ebyo ebibi.
12 (L)Mbadde na bingi eby’okubawandiikira, kyokka saagala byonna kubibawandiikira buwandiikizi, wabula nsuubira okubakyalira tulyoke twogeraganye nga tulabagana amaaso n’amaaso, essanyu lyaffe liryoke lituukirire.
13 (M)Abaana ba mwannyoko omulonde bakulamusizza.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.