Revised Common Lectionary (Complementary)
Okusaba kwa Dawudi.
17 (A)Wulira, Ayi Mukama, okukoowoola kwange nga nneegayirira,
wuliriza okukaaba kwange.
Tega okutu owulirize okukoowoola kwange,
kubanga tekuva ku mimwa gya bulimba.
2 Nzigyako omusango;
kubanga olaba ekituufu.
3 (B)Weekenneenyezza omutima gwange era n’onkebera n’ekiro.
Ne bw’onongezesa toobeeko kibi ky’onsangamu;
kubanga mmaliridde obutayogeranga bya bulimba.
4 Ggwe, gwe nkoowoola,
ngoberedde ebigambo by’akamwa ko,
ne neewala
ebikolwa by’abantu abakambwe.
5 (C)Nnyweredde mu makubo go,
era ebigere byange tebiigalekenga.
6 (D)Nkukoowoola, Ayi Katonda, kubanga mmanyi ng’onnyanukula;
ontegere okutu kwo owulire okusaba kwange.
7 (E)Ndaga okwagala kwo okutaggwaawo, okwewuunyisa,
ggwe alokola n’omukono gwo ogwa ddyo
abo bonna abakweyuna nga badduka abalabe baabwe.
8 (F)Onkuume ng’emmunye ey’eriiso lyo; onkweke mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo.
9 (G)Omponye ababi abannumba,
n’abalabe bange abanneetoolodde.
Obuvunaanyizibwa eri Owooluganda Afudde
5 (A)Abooluganda bwe banaabanga babeera wamu, omu n’afa nga talina mwana wabulenzi, nnamwandu we tafumbirwanga musajja atali wa mu luggya lwa bba. Muganda wa bba anaatwalanga nnamwandu oyo n’amuwasa, n’atuukiriza obuvunaanyizibwa bwa muganda we omugenzi eri nnamwandu oyo. 6 (B)Omwana owoobulenzi gw’anaasookanga okuzaala y’anaasikiranga erinnya lya muganda we omugenzi, bwe lityo erinnya ly’omugenzi ne litasangulwawo mu Isirayiri. 7 (C)Naye omusajja bw’anaabanga tayagala kuwasa nnamwandu wa muganda we, nnamwandu oyo anaagendanga eri abakulembeze abakulu ab’omu kibuga kye, ku wankaaki, n’abagamba nti, “Muganda wa baze agaanye okuwangaaza erinnya lya muganda we mu Isirayiri. Kubanga agaanye okutuukiriza gye ndi obuvunaanyizibwa bw’alina ku muganda we.” 8 Abakulembeze abakulu b’omu kibuga banaayitanga omusajja oyo ne boogera naye. Bw’anaakakanyalanga n’agamba nti, “Saagala kumuwasa,” 9 (D)kale, nnamwandu wa muganda we anaatambulanga n’alaga awali omusajja oyo mu maaso g’abakulembeze abakulu b’omu kibuga, anaamwambulangamu engatto mu kigere kye ekimu, era anaamuwandiranga amalusu mu maaso n’ayogera nti, “Bwe kityo bwe kinaakolebwanga ku musajja atazimba lunyiriri lwa luggya lwa muganda we.” 10 Oluggya lw’omusajja oyo lunaamanyibwanga mu Isirayiri ng’Oluggya lw’Omwambule Engatto.
Pawulo Omuruumi
22 (A)Ekibiina ky’abantu ne bawuliriza Pawulo okutuusa lwe yatuuka ku bigambo ebyo, bonna ne balyoka baleekaanira wamu nti, “Mumuggyeewo! Mumutte! Tasaanira kuba mulamu!” 23 (B)Ne bawowoggana nnyo nga bwe bakasuka n’engoye zaabwe waggulu mu bbanga, ne bayoola enfuufu nga bagiyiwa mu bbanga. 24 (C)Omukulu w’abaserikale n’ayingiza Pawulo munda mu nkambi yaabwe, n’alagira akubwemu embooko nga bwe bamubuuza ayogere omusango gwe yazzizza oguleetedde ekibiina kyonna okwecwacwana. 25 (D)Bwe baali bamugalamizza nga bagenda okumusiba bamukube, Pawulo n’abuuza omuserikale eyali amuyimiridde okumpi nti, “Amateeka gabakkiriza okukuba omuntu Omuruumi nga temunnaba na kumuwozesa?”
26 Omuserikale n’agenda eri omuduumizi waabwe n’amutegeeza nti, “Kiki kino ky’ogenda okukola? Omusajja ono Muruumi.”
27 Omuduumizi w’abaserikale n’ajja n’abuuza Pawulo nti, “Mbulira, oli Muruumi?”
Pawulo n’amuddamu nti, “Yee, bwe kiri.”
28 Omuduumizi w’abaserikale n’amugamba nti, “Nange ndi Muruumi, naye nabusasulira ensimbi nnyingi.”
Pawulo n’amuddamu nti, “Nze mwe nazaalirwa!”
29 (E)Abaserikale abaali beetegese okumubuuza ne baseebulukuka ne bavaawo bwe baategeera nga Pawulo Muruumi, n’omuduumizi waabwe naye n’atya nnyo kubanga yali alagidde okumusiba n’okumukuba kibooko.
30 (F)Enkeera omuduumizi w’abaserikale bwe yayagala okumanyira ddala ensonga Abayudaaya gye bamulanze, n’asumulula Pawulo mu njegere, n’alagira bakabona abakulu bayite Olukiiko lw’Abayudaaya Olukulu lutuule. N’alagira Pawulo aleetebwe mu Lukiiko ensonga Abayudaaya gye bamuvunaana eryoke etegeerebwe.
23 (G)Awo Pawulo n’atunuulira Olukiiko enkaliriza, n’agamba nti, “Baganda bange, obulamu bwange bwonna mbadde ntambulira mu makubo ga Katonda okutuusiza ddala ne ku lunaku lwa leero.” 2 (H)Bwe yayogera atyo, Ananiya, Kabona Asinga Obukulu, n’alagira abo abayimiridde okumpi ne Pawulo bamukubemu oluyi ku mimwa. 3 (I)Pawulo n’amugamba nti, “Naawe Katonda agenda kukukuba oluyi, oli ng’ekisenge ekiva okusiigibwa ennoni! Oli mulamuzi ki ggwe amenya amateeka ng’olagira bankube mu ngeri eyo, so ng’osuubirwa okugagoberera ng’onsalira omusango?”
4 Abo abaali bayimiridde okumpi ne Pawulo ne bamugamba nti, “Bw’otyo bw’oyogera ne Kabona Asinga Obukulu owa Katonda?”
5 (J)Pawulo n’addamu nti, “Baganda bange, sitegedde nga ye Kabona Asinga Obukulu, kubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti, ‘Toyogeranga bubi ku bafuzi bammwe.’ ”
6 (K)Awo Pawulo bwe yalaba ng’abamu abali mu Lukiiko Basaddukaayo n’abalala nga Bafalisaayo, n’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka eri olukiiko nti, “Baganda bange, nze ndi Mufalisaayo, ne bakadde bange Bafalisaayo! Kaakano mpozesebwa lwa kubanga nzikiriza nga waliwo okuzuukira kw’abafu!” 7 Bwe baawulira ebyo, Olukiiko ne lwawukanamu wabiri ne wabaawo empaka za maanyi wakati w’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo, 8 (L)kubanga Abasaddukaayo bagamba nti tewali kuzuukira wadde bamalayika, wadde omwoyo ogutafa, naye bo Abafalisaayo ebyo byonna babikkiriza.
9 (M)Awo empaka ne zikwata wansi ne waggulu, abamu ku bannyonnyozi b’amateeka, nga ba mu kibiina kya Bafalisaayo, ne beekubira ku ludda lwa Pawulo nga bagamba nti, “Ffe tetulaba kisobyo kyonna omusajja ono ky’akoze. Obanga malayika yayogera naye, oba Mwoyo, ogwo nagwo guba musango?” 10 (N)Ne beeyongera nnyo okuwakana ng’abamu Pawulo bamusika bamulaza eno, ng’abalala bamulaza eri. Okutuusa omuduumizi w’abaserikale lwe yatandika okutya ng’alaba Pawulo baagala kumuyuzaamu wabiri, n’alagira abaserikale be bagende bamubaggyeko n’amaanyi bamuzzeeyo munda mu nkambi yaabwe.
11 (O)Ekiro ekyo Mukama waffe n’ayimirira awali Pawulo, n’amugamba nti, “Guma omwoyo, kubanga nga bw’onjulidde n’obuvumu wano mu Yerusaalemi, era bw’otyo bw’onookola ne mu Ruumi.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.