Revised Common Lectionary (Complementary)
8 Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye;
mpuliriza, Ayi Katonda wa Yakobo.
9 (A)Ayi Katonda, Engabo yaffe,
tunuulira kabaka wo n’okusaasira oyo gwe wafukako amafuta.
10 (B)Okumala olunaku olumu mu mpya zo,
kisinga okubeera emyaka olukumi mu bifo ebirala.
Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange,
okusinga okubeeranga mu weema z’abakola ebibi.
11 (C)Kubanga Mukama Katonda ye njuba yaffe era ye ngabo yaffe;
atuwa emikisa gye awamu n’ekitiibwa;
tewaliiwo kirungi na kimu ky’ataawa
abo abatambulira mu makubo ge nga tebaliiko kyakunenyezebwa.
12 (D)Ayi Mukama ow’Eggye
alina omukisa omuntu akwesiga.
Ekiwandiiko ku Kisenge
5 (A)Kabaka Berusazza n’agabula embaga nnene eri abakungu be lukumi, ne banywa omwenge naye. 2 (B)Awo Berusazza, yali ng’anywa omwenge, n’atumya ebikompe ebya zaabu n’ebya ffeeza, Nebukadduneeza kitaawe bye yaggya mu yeekaalu mu Yerusaalemi, ye n’abakungu be, n’abakyala be n’abazaana be babinyweremu. 3 Era ne baleeta ebikompe ebya zaabu n’ebya ffeeza ebyaggyibwa mu yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi, kabaka n’abakungu be, n’abakyala be n’abazaana be ne babinyweramu. 4 (C)Ne banywa omwenge ne batandika okutendereza bakatonda aba zaabu n’aba ffeeza, n’ab’ebikomo, n’ab’ekyuma, n’ab’emiti n’ab’amayinja.
5 Mu kiseera ekyo ne walabika engalo z’omukono gw’omuntu ne ziwandiika ku kisenge okuliraana ettaala mu lubiri lwa kabaka; kabaka n’alaba ekibatu ky’omukono nga kiwandiika. 6 (D)Entunula ye n’ekyuka, n’atya nnyo, n’amaviivi ge ne gakubagana n’amagulu ge ne galemererwa okumuwanirira.
7 (E)Kabaka n’alagira mu ddoboozi ery’omwanguka baleete abafumu, n’Abakaludaaya, n’abalaguzi. Kabaka n’agamba abasajja abagezigezi abo ab’e Babulooni nti, “Omuntu yenna anaasoma ekiwandiiko ekyo, n’antegeeza amakulu gaakyo, alyambazibwa engoye ez’effulungu era alyambazibwa omukuufu ogwa zaabu mu bulago, era aliba mukulu owa waggulu ow’ekifo ekyokusatu mu bwakabaka.”
8 (F)Awo abasajja ba kabaka abagezigezi bonna ne bajja, naye ne balemwa okusoma ekiwandiiko ekyo newaakubadde okutegeeza kabaka amakulu gaakyo. 9 (G)Kabaka Berusazza ne yeeyongera nnyo okweraliikirira, n’entunula ye ne yeeyongera okukyuka; n’abakungu be amagezi ne gababula.
10 (H)Awo muka kabaka bwe yawulira ebigambo ebyatuuka ku kabaka n’abakungu be, n’agenda mu kisenge ekinene embaga mwe yali n’ayogera nti, “Ayi kabaka, owangaale! Leka kweraliikirira, so tokeŋŋentererwa. 11 (I)Waliwo omusajja mu bwakabaka bwo alimu omwoyo gwa bakatonda abatukuvu. Mu mirembe gya kitaawo yasangibwa okuba n’okutegeera, n’amagezi, ng’aga bakatonda, era Kabaka Nebukadduneeza kitaawo, n’amufuula omukulu w’abasawo, n’abafumu, n’Abakaludaaya, n’abalaguzi. 12 (J)Omusajja oyo Danyeri, kabaka gwe yatuuma Berutesazza, yasangibwa ng’alina omwoyo ogw’okutegeera, n’okumanya, n’okulootolola ebirooto, n’okubikkula ebigambo eby’ekyama, n’okutta ebibuuzo ebizibu ennyo. Kale Danyeri ayitibwe, anaakutegeeza amakulu g’ekiwandiiko.”
Katonda Talemererwa
5 (A)Noolwekyo mbulirira abakadde abali mu mmwe nze mukadde munnammwe, omujulirwa w’okubonaabona kwa Kristo, era agabanira awamu ekitiibwa ekigenda okubikkulirwa. 2 (B)Mulundenga ekisibo kya Katonda ekiri mu mmwe, mukiriisenga nga mukirabirira n’okwagala so si na kwemulugunya, nga mukolerera amagoba ag’obukuusa wabula olw’okujjumbira Katonda. 3 (C)Be mukulembera temubakambuwaliranga wabula mubakulemberenga nga mubalaga ekyokulabirako ekirungi. 4 (D)Era Omusumba Omukulu bw’alikomawo, muliweebwa engule ey’ekitiibwa ekitaliggwaawo.
5 (E)Mmwe abavubuka, mugonderenga abakulu. Muweerezeganenga mwekka na mwekka n’obuwombeefu kubanga
“Katonda akyawa ab’amalala
naye abawombeefu abawa omukisa.”
6 (F)Noolwekyo mwewombeeke wansi w’omukono gwa Katonda ogw’amaanyi, naye alibagulumiza ng’obudde butuuse. 7 (G)Mumutwalirenga byonna bye mweraliikirira kubanga abalumirwa era afaayo ku buli ekibatuukako.
8 (H)Mutunulenga, mwekuume omulabe wammwe Setaani, atambulatambula ng’empologoma enjala gy’eruma egenda ng’ewuluguma ng’enoonya gw’eneerya. 9 (I)Mumwaŋŋange ng’abalumbye, nga mwesiga Mukama, era mujjukire nti ebibonoobono ebiri ng’ebyo bituuka ne ku bakkiriza abalala mu nsi yonna.
10 (J)Bwe mulibonaabonera akaseera, Katonda waffe atukwatirwa ekisa ng’ayita mu Kristo, alibawa ekitiibwa kye ekitaliggwaawo. Alibakomyawo, alibazzaamu amaanyi, alibawanirira era alibanyweza. 11 (K)Ekitiibwa n’amaanyi bibeerenga gy’ali emirembe n’emirembe. Amiina.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.