Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 84:8-12

Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye;
    mpuliriza, Ayi Katonda wa Yakobo.
(A)Ayi Katonda, Engabo yaffe,
    tunuulira kabaka wo n’okusaasira oyo gwe wafukako amafuta.

10 (B)Okumala olunaku olumu mu mpya zo,
    kisinga okubeera emyaka olukumi mu bifo ebirala.
Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange,
    okusinga okubeeranga mu weema z’abakola ebibi.
11 (C)Kubanga Mukama Katonda ye njuba yaffe era ye ngabo yaffe;
    atuwa emikisa gye awamu n’ekitiibwa;
tewaliiwo kirungi na kimu ky’ataawa
    abo abatambulira mu makubo ge nga tebaliiko kyakunenyezebwa.

12 (D)Ayi Mukama ow’Eggye
    alina omukisa omuntu akwesiga.

1 Samwiri 2:1-10

Okusaba kwa Kaana

(A)Awo Kaana n’asaba mu bigambo bino nti,

“Omutima gwange gusanyukira Mukama;
    amaanyi gange geenyumiririza mu Mukama Katonda.
Akamwa kange kasekerera abalabe bange,
    kubanga essanyu lyange liri mu bulokozi bwo.”

(B)Tewali mutukuvu nga Mukama Katonda
    tewali mulala wabula ggwe;
    tewali Lwazi oluli nga Katonda waffe.

(C)Toyogera nate nga weewaanawaana
    wadde okuleka akamwa ko okwogera eby’amalala,
kubanga Mukama Katonda y’amanyi byonna,
    era y’apima ebikolwa.

(D)Emitego egy’ab’amaanyi gimenyebbwa
    naye abanafu baweereddwa amaanyi.
(E)Abo abakkutanga, be bapakasa okufuna emmere
    naye abo abeetaaga, tebakyalumwa njala.
Eyali omugumba azadde abaana musanvu,
    n’oyo alina abaana abangi, asobeddwa.

(F)Mukama Katonda y’aleeta okufa, era y’awa obulamu;
    atwala emagombe ate n’azuukiza.
(G)Mukama Katonda y’ayavuwaza era y’agaggawaza;
    atoowaza ate n’agulumiza.
(H)Ayimusa abaavu okuva mu nfuufu;
    asitula abali mu bwetaavu okuva mu ntuumu y’evvu;
n’abatuuza n’abalangira, era ne basikira entebe ey’ekitiibwa.
    Kubanga emisingi gy’ensi gya Mukama Katonda, era okwo kw’atuuzizza ensi.

(I)Anaakuumanga ebigere by’abatukuvu be,
    naye ababi balisirisibwa mu kizikiza;
kubanga omuntu tawangula lw’amaanyi.
10     (J)Abalabe ba Mukama Katonda balisaasaanyizibwa;
alibabwatukira ng’asinziira mu ggulu.
    Mukama alisalira ensonda ez’ensi omusango;
aliwa kabaka we amaanyi,
    era n’agulumiza amaanyi g’oyo gwe yafukako amafuta.

1 Peetero 4:12-19

Okubonyaabonyezebwa olw’Okuba Omukristaayo

12 (A)Abaagalwa, temwewuunya obulumi obw’amaanyi bwe bubatuukako ng’abatuukiddwako ekintu ekitali kya bulijjo. 13 (B)Kyokka musanyuke kubanga mugabanye ku kubonaabona kwa Kristo, mulyoke mujjule essanyu, ng’ekitiibwa kye kirabise. 14 (C)Mulina omukisa bwe muvumibwa olw’erinnya lya Kristo kubanga Omwoyo ow’ekitiibwa owa Katonda ali ku mmwe. 15 Mu mmwe temusaana kubaamu mutemu, oba mubbi, oba omukozi w’ebibi, wadde eyeeyingiza mu by’abalala. Kubanga buli abonyaabonyezebwa olw’ebyo taliiko ky’agasibwa. 16 (D)Naye bw’abonyaabonyezebwa olw’okuba Omukristaayo aleme kukwatibwa nsonyi, wabula yeebazenga Katonda olw’okuba owa Kristo. 17 (E)Kubanga ekiseera kituuse Katonda okulamula ng’atandikira mu nnyumba ya Katonda. Obanga okulamula kutandikidde ku ffe, kale kiriba kitya ku abo abajeemera Enjiri ya Katonda?

18 (F)“Era obanga kizibu omutuukirivu okulokolebwa,
    kale aboonoonyi n’abatatya Katonda balikolebwa batya?”

19 Noolwekyo abo ababonaabona olw’okutuukiriza ekyo Katonda ky’ayagala, basaanidde okuwaayo obulamu bwabwe eri Katonda waabwe omwesigwa, bakole obulungi.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.