Revised Common Lectionary (Complementary)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka Sawulo, n’alaga mu mpuku.
57 (A)Onsaasire, Ayi Katonda, onsaasire,
kubanga neesiga ggwe.
Nzija kwekweka mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo
okutuusa okuzikirira bwe kulikoma.
2 (B)Nkoowoola Katonda Ali Waggulu Ennyo,
Katonda atuukiriza bye yantegekera.
3 (C)Alisinzira mu ggulu n’andokola,
n’amponya abo abampalana.
Katonda anandaganga obwesigwa bwe n’okwagala kwe okutaggwaawo.
4 (D)Mbeera wakati mu mpologoma,
nsula mu bisolo ebirya abaana b’abantu.
Amannyo g’abalabe bange gali ng’amafumu n’obusaale.
Ennimi zaabwe ziri ng’ebitala ebyogi.
5 (E)Ayi Katonda, ogulumizibwenga okusinga eggulu;
n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.
6 (F)Baatega ekitimba mu kkubo lyange,
ne ntya nnyo;
ne basimamu obunnya,
ate bo bennyini ne babugwamu.
7 (G)Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda,
omutima gwange munywevu.
Nnaakutenderezanga n’ennyimba.
8 (H)Zuukuka, ggwe omwoyo gwange!
Zuukuka ggwe ennanga ey’enkoba, naawe entongooli,
ndyoke nnyimbe okukeesa obudde.
9 Ayi Mukama, ndikwebaza mu mawanga;
ndiyimba nga nkutendereza mu bantu.
10 (I)Kubanga okwagala kwo kungi nnyo, kutuuka ne ku ggulu;
n’obwesigwa bwo butuuka ku bire.
11 (J)Ogulumizibwenga, Ayi Katonda, okusinga eggulu;
n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.
23 (A)Awo Abbigayiri bwe yalengera Dawudi, n’ayanguwa okuva ku ndogoyi ye, n’avuunama mu maaso ga Dawudi. 24 N’agwa ku bigere bye n’ayogera nti, “Mukama wange omusango gubeere ku nze nzekka. Nkwegayiridde leka omuweereza wo ayogere naawe; wuliriza omuweereza wo ky’anaayogera. 25 (B)Mukama wange aleme okussa omwoyo ku musajja omusirusiru oyo Nabali, kubanga n’erinnya lye litegeeza musirusiru, atambulira mu busirusiru bwe. Naye nze omuweereza wo, ssaalabye bavubuka mukama wange be watumye.
26 (C)“Kale nno mukama wange, nga Mukama bw’ali omulamu, akubedde obutayiwa musaayi newaakubadde obutawalana ggwanga n’omukono gwo, era naawe bw’oli omulamu, abalabe bo, n’abo abakuyigganya bonna mukama wange babeere nga Nabali. 27 (D)Era n’ekirabo kino omuweereza wo ky’aleetedde mukama wange kiweebwe abavubuka abatambula ne mukama wange. 28 (E)Nkwegayiridde osonyiwe ekyonoono kw’omuweereza wo, era Mukama talirema kuzimbira mukama wange obwakabaka obw’enkalakkalira, kubanga mukama wange alwana entalo za Mukama. Waleme okulabika ekikolwa ekikyamu kyonna mu ggwe ennaku zonna ez’obulamu bwo. 29 (F)Ne bwe walibaawo omuntu yenna alikulumba okukuyigganya okutwala obulamu bwo, obulamu bwa mukama wange bukuumibwenga Mukama Katonda wo mu lulyo olw’abalamu. Naye obulamu bw’abalabe bo alibuvuumuula ng’ejjinja bwe liva mu nvuumuulo. 30 (G)Awo Mukama bw’alikolera mukama wange ebirungi byonna bye yamusuubiza, era n’amufuula okuba omukulembeze wa Isirayiri, 31 (H)mukama wange talibeera na kulumirizibwa mu mutima olw’okuyiwa omusaayi awatali nsonga, wadde okwewalanira eggwanga. Era Mukama bw’alikukolera ebirungi mukama wange, ojjukiranga omuweereza wo.”
32 (I)Awo Dawudi n’agamba Abbigayiri nti, “Mukama Katonda wa Isirayiri atenderezebwe, akutumye okujja okunsisinkana leero. 33 (J)Akuwe omukisa oyo akubedde okusalawo obulungi, era akubedde okundabula obutayiwa musaayi leero n’obuteewalanira ggwanga. 34 Kubanga mazima ddala nga Mukama Katonda wa Isirayiri bw’ali omulamu, ambedde obutakukolako kabi, singa toyanguye kujja kunsisinkana, tewandibadde musajja n’omu owa Nabali eyandiwonyeewo, obudde we bwandikeeredde enkya.”
35 (K)Awo Dawudi n’akkiriza okutwala Abbigayiri bye yaleeta, n’ayogera nti, “Genda ewuwo mirembe. Mpulidde ebigambo byo, era nzikkirizza okwegayirira kwo.”
Okugumiikiriza
7 (A)Noolwekyo abooluganda mugumiikirize, okutuusa amadda ga Mukama waffe, ng’omulimi bw’agumiikiriza ng’alindirira enkuba eya ddumbi n’eya ttoggo okukuza ebibala bye biryoke byengere. 8 (B)Mugumiikirize, era mugume omwoyo, kubanga amadda ga Mukama waffe gali kumpi. 9 (C)Temwemulugunyizagananga mwekka na mwekka, muleme okusalirwa omusango, kubanga Omulamuzi ayimiridde ku luggi.
10 (D)Ekyokulabirako eky’okugumiikiriza n’okubonaabona, be bannabbi abaayogeranga mu linnya lya Mukama. 11 (E)Laba tubayita ba mukisa abo abaagumiikiriza. Yobu yeesiga Mukama, era obulamu bwe butulaga ng’entegeka ya Mukama bwe yatuukirizibwa obulungi; kubanga Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira.
12 (F)Naye okusingira ddala byonna, abooluganda, temulayiranga ggulu, oba ensi, oba ekintu kyonna ekirala. Ensonga bw’ebeeranga weewaawo, gamba weewaawo. Bw’ebeeranga si weewaawo gamba si weewaawo, mulyoke mwewale okusalirwa omusango okubasinga.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.