Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Olubereberye 32:22-31

Yakobo Amegganira e Penieri

22 (A)Mu kiro ekyo Yakobo n’agolokoka n’atwala bakazi be bombi, n’abaweereza be abakazi ababiri, n’abaana be ekkumi n’omu n’asomokera e Yaboki. 23 N’abatwala ne byonna bye yalina n’abasomosa omugga. 24 (B)Ye Yakobo n’asigala yekka, omusajja n’ameggana naye okutuusa obudde okukya. 25 (C)Omusajja bwe yalaba nga taasobole Yakobo, n’akoma ku kinywa ky’ekisambi kye. Yakobo n’atandika okuwenyera nga bw’ameggana n’omusajja. 26 (D)Omusajja n’alyoka agamba Yakobo nti, “Ndeka ŋŋende kubanga obudde bugenda kukya.”

Naye Yakobo n’ayogera nti, “Sijja kukuta nga tompadde mukisa.” 27 Omusajja n’amubuuza nti, “Erinnya lyo gw’ani?” N’amuddamu nti, “Yakobo.”

28 (E)Awo n’amugamba nti, “Tokyaddayo kuyitibwa Yakobo. Wabula onooyitibwanga Isirayiri, kubanga omegganye ne Katonda, awamu n’abantu n’owangula.”

29 (F)Awo ne Yakobo n’amugamba nti, “Mbuulira erinnya lyo.” Naye ye n’amuddamu nti, “Lwaki ombuuza erinnya lyange?” Awo n’amuwa omukisa.

30 (G)Yakobo ekifo ekyo kyeyava akiyita Penieri, ng’agamba nti, “Kubanga ndabaganye ne Katonda, kyokka obulamu bwange ne busigalawo.”

31 Enjuba n’evaayo ne mwakako nga bw’asala Penieri, ng’awenyera olw’obuvune mu kisambi kye.

Zabbuli 121

Oluyimba nga balinnya amadaala.

121 Nnyimusa amaaso gange eri ensozi,
    okubeerwa kwange kuva wa?
(A)Okubeerwa kwange kuva eri Mukama,
    eyakola eggulu n’ensi.

Taliganya kigere kyo kusagaasagana;
    oyo akukuuma taabongootenga.
Laba, oyo akuuma Isirayiri
    taabongootenga so teyeebakenga.

(B)Mukama ye mukuumi wo;
    Mukama y’akusiikiriza ku mukono gwo ogwa ddyo;
(C)emisana enjuba teekwokyenga,
    wadde omwezi ekiro.

(D)Mukama anaakukuumanga mu buli kabi;
    anaalabiriranga obulamu bwo.
(E)Mukama anaakukumanga amagenda go n’amadda,
    okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.

2 Timoseewo 3:14-4:5

14 (A)Kyokka ggwe nywereranga mu ebyo bye wayiga era n’obikkiririza ddala, ng’omanyi abaabikuyigiriza bwe bali. 15 (B)Kubanga okuva mu buto bwo wamanya Ebyawandiikibwa Ebitukuvu ebiyinza okukufuula ow’amagezi, n’olokolebwa olw’okukkiriza Kristo Yesu. 16 (C)Ebyawandiikibwa Ebitukuvu byonna, Katonda ye yabiruŋŋamya nga biwandiikibwa, era bigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kuluŋŋamya ne mu kubuuliranga omuntu abe omutuukirivu, 17 (D)omuntu wa Katonda alyoke abe ng’atuukiridde, ng’alina byonna ebyetaagibwa okukola buli mulimu omulungi.

(E)Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, anaatera okusalira abalamu n’abafu omusango, era n’olw’okujja kwe, n’olw’obwakabaka bwe, (F)buuliranga ekigambo kya Katonda, ng’oli mwetegefu mu kiseera ekituufu n’ekitali kituufu, ng’olaga ebikwekeddwa, ng’onenya, ng’ozaamu amaanyi, wakati mu kugumiikiriza, n’okubonaabona okungi, n’okuyigiriza. (G)Kubanga ekiseera kijja lwe baligaana okuwulira enjigiriza entuufu, era olw’okugoberera okwegomba kwabwe balyekuŋŋaanyiza abayigiriza, abalibayigiriza bye baagala, okuwulira. Baligaana okuwuliriza eby’amazima, ne bagoberera enfumo obufumo. (H)Naye ggwe weefugenga mu bintu byonna, ogumirenga ebizibu, ng’okola omulimu ogw’omubuulizi w’enjiri, ng’otuukiririza ddala obuweereza bwo.

Lukka 18:1-8

Olugero lwa Nnamwandu n’Omulamuzi

18 (A)Awo Yesu n’agerera abayigirizwa be olugero ng’agamba nga bwe bagwanidde obutakoowanga kusaba n’obutaggwaamu mwoyo, ng’agamba nti, “Waaliwo omulamuzi mu kibuga ekimu, nga tatya Katonda era nga tafa ku muntu yenna. (B)Mu kibuga ekyo mwalimu nnamwandu eyajjanga ew’omulamuzi oyo buli lunaku ng’amwegayirira nti, ‘Nnamula n’omulabe wange.’

“Omulamuzi n’amala ebbanga ng’akyagaanyi. Naye oluvannyuma n’agamba mu mutima gwe nti, ‘Newaakubadde nga sitya Katonda era nga sirina muntu gwe nzisaamu kitiibwa, (C)naye olwokubanga nnamwandu ono aneetayiridde nnyo, nzijja kumumalira ensonga ze, kubanga ajja kunkooya olw’okuneetayirira ng’ajja gye ndi buli lunaku!’ ”

(D)Awo Mukama waffe n’agamba nti, “Muwulire omulamuzi atali wa mazima bw’agamba. (E)Kale Katonda talisingawo nnyo kulamula abantu be, be yeerondera, abamukaabirira emisana n’ekiro ate ng’abagumiikiriza? (F)Mbagamba nti agenda kubalamula mangu. Naye Omwana w’Omuntu, bw’alijja, alisanga okukkiriza ku nsi?”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.