Revised Common Lectionary (Complementary)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.
61 (A)Wulira okukaaba kwange, Ayi Katonda;
wulira okusaba kwange.
2 (B)Nkukoowoola okuva ku nkomerero y’ensi,
omutima gwange nga gugenda gunafuwa.
Onkulembere ontuuse ku lwazi olunsinga obuwanvu mwe nnyinza okwekweka.
3 (C)Kubanga gw’oli kiddukiro kyange.
Oli kigo eky’amaanyi mwe neekweka omulabe.
4 (D)Nnaabeeranga mu weema yo ennaku zonna;
ndyoke nkuumirwenga mu biwaawaatiro byo.
5 (E)Kubanga ggwe, Ayi Katonda, owulidde obweyamo bwange:
ompadde omugabo awamu n’abo abatya erinnya lyo.
6 (F)Oyongere ku nnaku z’obulamu bwa kabaka;
emyaka gye gimutuuse mu mirembe mingi,
7 (G)alyoke abeerenga mu maaso ga Katonda ennaku zonna.
Okwagala kwo n’obwesigwa bwo bimukuumenga.
8 (H)Ndyoke nnyimbenga nga ntendereza erinnya lyo ennaku zonna,
nga ntuukiriza obweyamo bwange buli lunaku.
19 (A)Erisa n’amuddamu nti, “Genda mirembe.”
Omululu gwa Gekazi n’Ekibonerezo kye
Naye Naamani bwe yali yakagendako ebbanga ttono, 20 (B)Gekazi omuweereza wa Erisa omusajja wa Katonda, n’alowooza mu mutima gwe nti, “Laba mukama wange bw’asaasidde Naamani ono Omusuuli, n’atakkiriza kirabo kimuweerebbwa. Mazima ddala, nga Mukama bw’ali omulamu nzija kumugoberera, mbeeko kye muggyako.”
21 Amangwago, Gekazi n’agoberera Naamani. Naamani bwe yamulengera ng’ajja adduka, n’ava mu gaali lye okumusisinkana, n’amubuuza nti, “Byonna biri bulungi?” 22 (C)N’amuddamu nti, “Byonna biri bulungi, naye mukama wange antumye okukutegeeza nti, ‘Wabaddewo bannabbi abavubuka babiri abazze gy’ali okuva mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, era akusabye obaweeko kilo amakumi asatu mu nnya eza ffeeza n’ebika by’engoye bya mirundi ebiri.’ ”
23 Naamani n’amugamba nti, “Tewali kikugaana kutwala kilo nkaaga munaana.” N’awaliriza Gekazi, n’amusibirako kilo bbiri eza ffeeza mu nsawo bbiri, n’ebika by’engoye bya mirundi ebiri, Naamani n’abitikka abaddu be babiri, abaabyetikka nga bakulembeddemu Gekazi. 24 Gekazi bwe yatuuka ku lusozi, n’abibaggyako, n’abiteeka mu nnyumba ye, n’abasindika bagende. 25 N’ayingira n’ayimirira mu maaso ga Erisa mukama we. Erisa n’amubuuza nti, “Ova wa Gekazi?” Gekazi n’addamu nti, “Omuddu wo taliiko gy’agenze.” 26 (D)Naye Erisa n’amugamba nti, “Ssaagenze naawe mu mwoyo, omusajja bwe yavudde mu ggaali lye okukusisinkana? Kino ky’ekiseera eky’okutwala ensimbi, oba engoye, oba ennimiro ez’emizeeyituuni, oba ez’emizabbibu, oba endiga, oba ente, oba abaddu, oba abaweereza abawala? 27 (E)(F)Noolwekyo ebigenge bya Naamani binaakuberangako gwe ne bazzukulu bo emirembe gyonna.” Awo Gekazi n’ava mu maaso ga Erisa nga mugenge, atukula ng’omuzira.
Ebyokulwanyisa bya Katonda
10 (A)Eky’enkomerero, mubenga n’amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw’amaanyi ge. 11 (B)Mwambale ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwolekera enkwe za Setaani. 12 (C)Kubanga tetumeggana na mubiri wadde musaayi, wabula tulwanyisa abafuzi, n’ab’obuyinza, n’amaanyi ag’ensi ag’ekizikiza, n’emyoyo emibi egy’omu bifo ebya waggulu. 13 Noolwekyo mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwaŋŋanga omulabe ku lunaku olw’akabi, era bwe mulimala okukola byonna, mulyoke musigale nga muli banywevu. 14 (D)Muyimirire nga muli banywevu, ng’amazima lwe lukoba lwammwe lwe mwesibye mu kiwato kyammwe, ate ng’obutuukirivu kye ky’omu kifuba, 15 (E)nga mwambadde n’engatto mu bigere byammwe nga mugenda okubuulira Enjiri ey’emirembe. 16 (F)Era ku ebyo byonna okukkiriza kwammwe kubeerenga engabo eneebasobozesanga okuzikiza obusaale bwonna obw’omuliro obulasibwa omubi. 17 (G)Obulokozi bubafuukire enkuufiira gye mwambadde, n’ekigambo kya Katonda kibabeerere ekitala eky’Omwoyo, 18 (H)nga musabiririranga mu ssaala zonna nga mwegayiririranga mu mwoyo buli kiseera. Mwekuumenga nga mugumiikirizanga, era nga mwegayiririranga abatukuvu, be bantu bonna aba Katonda.
19 (I)Era nange munsabirenga bwe nnaabanga njogera mpeebwe eby’okwogera, era mbyogerenga n’obuvumu nga ntegeeza abantu ekyama ky’Enjiri. 20 Ndi mubaka wa Njiri ali mu njegere. Munsabire ndyoke ngibuulire abantu n’obuvumu nga bwe kinsaanira.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.