Revised Common Lectionary (Complementary)
Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka mutabani we Abusaalomu.
3 Ayi Mukama, abalabe bange nga beeyongedde obungi!
Abanfubutukiddeko okunnumba nga bangi!
2 (A)Bangi abanjogerako nti,
“Katonda tagenda kumununula.”
3 (B)Naye ggwe, Ayi Mukama, ggwe ngabo yange enkuuma;
ggwe kitiibwa kyange, era gw’onzizaamu amaanyi.
4 (C)Nkoowoola Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka,
n’annyanukula ng’asinziira ku lusozi lwe olutukuvu.
5 (D)Ngalamira ne neebaka, era ne nzuukuka bulungi,
kubanga Mukama ye ampanirira.
6 (E)Siityenga enkumi n’enkumi z’abalabe bange
abanneetoolodde, okunnumba.
7 (F)Golokoka, Ayi Mukama,
ondokole Ayi Katonda wange
okube abalabe bange bonna
omenye oluba lw’abakola ebibi.
8 (G)Obulokozi buva gy’oli, Ayi Mukama.
Emikisa gyo gibeerenga ku bantu bo.
12 (A)Zimusanze oyo azimba ekibuga n’omusaayi,
atandika ekibuga n’obutali butuukirivu.
13 (B)Tekyategekebwa Mukama ow’Eggye
nti okutegana kw’abantu nku buku za muliro,
n’amawanga geemalamu ensa olw’ebintu ebitaliimu?
14 (C)Kubanga ensi erijjula okumanya ekitiibwa kya Mukama,
ng’amazzi bwe ganjaala ku nnyanja.
15 Zimusanze oyo awa baliraanwa be ekitamiiza
n’akibafukira okuva mu kita n’abawa banywe okutuusa lwe batamiira
asobole okutunuulira ensonyi zaabwe!
16 (D)Olijjuzibwa ensonyi mu kifo ky’ekitiibwa.
Naawe olinywa n’oswala.
Ekikompe eky’omu mukono gwa Mukama ogwa ddyo kirikyusibwa kidde gy’oli,
n’ensonyi ez’obuwemu zisaanikire ekitiibwa kyo.
17 (E)Ebikolwa eby’obukambwe bye watuusa ku Lebanooni,
n’okutta ensolo, birikutiisa.
Osse abantu
n’ozikkiriza ensi n’ebibuga n’abantu ababibeeramu.
18 (F)“Ekifaananyi ekyole kigasa ki? Anti kibajje bubazzi.
Oba ekifaananyi eky’ekyuma, ekisomesa obulimba?
Kubanga omuweesi yeesiga mirimu gya mikono gye
nga akola ebifaananyi ebitayogera!
19 (G)Zimusanze oyo agamba omuti nti, ‘Lamuka;’
agamba ejjinja nti, ‘Golokoka!’
Kino kisobola okuluŋŋamya?
Kibikiddwa zaabu ne ffeeza,
so tekiriimu bulamu n’akatono.
20 (H)Naye Mukama ali mu yeekaalu ye entukuvu:
ensi zonna zisiriikirire mu maaso ge.”
Yesu Akolimira Omuti Ogutabala
12 Enkeera bwe baali bava e Besaniya, Yesu n’alumwa enjala. 13 (A)N’alengera omutiini, nga guddugazza bulungi amalagala, n’agendayo alabe obanga anaasangako ebibala. Yagenda okugutuukako nga kuliko makoola meereere, kubanga si kye kyali ekiseera kyagwo okubaako ebibala. 14 Awo Yesu n’agamba omuti nti, “Omuntu yenna alemenga okuddayo okulya ekibala kyo!” Abayigirizwa be ne bamuwulira ng’akyogera.
Eky’okuyiga ku Mutiini Ogwakala
20 Awo enkeera mu makya abayigirizwa be ne balaba omuti omutiini Yesu gwe yakolimira nga gukaze okuviira ddala ku kikolo! 21 (A)Peetero n’ajjukira n’agamba Yesu nti, “Omuyigiriza, laba omutiini gwe wakolimira gukaze!”
22 Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Mukkiririze mu Katonda. 23 (B)Ddala ddala mbagamba nti buli aligamba olusozi luno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ n’atabuusabuusa mu mutima gwe, naye n’aba n’okukkiriza, ky’ayogedde kirituukirira. 24 (C)Noolwekyo mbagamba nti buli kye munaasabanga, mukkirize nti mukiweereddwa, era kinaabanga bwe kityo gye muli.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.