Revised Common Lectionary (Complementary)
1 (A)Buno bwe bubaka bwa Mukama, Kaabakuuku nnabbi bwe yafuna.
Kaabakuuku yeemulugunya olw’Obutali Bwenkanya
2 (B)Ayi Mukama, ndituusa ddi okukukaabirira
naye nga tompuliriza?
Lwaki nkukaabirira nti, “Ebikolwa eby’obukambwe bimpitiriddeko,”
naye n’otonnyamba?
3 (C)Lwaki ondaga obutali bwenkanya
era lwaki ogumiikiriza obukyamu?
Kubanga okuzikiriza n’ebikolwa eby’obukambwe biri mu maaso gange,
empaka n’ennyombo byeyongede.
4 (D)Amateeka kyegavudde gatagonderwa
era n’obwenkanya ne butakolebwa.
Ababi be basinga abatuukirivu obungi era babeebunguludde,
n’obwenkanya ne bulinnyirirwa.
Obulamu eri Abatuukirivu
2 (A)Kale ndiyimirira mu kifo kyange we ntera okubeera
ntunule nga ndi waggulu eyo ku ggulumu
nnindirire ky’aliŋŋamba,
era ne kye ndimuddamu ekikwata ku kwemulugunya kw’abantu.
2 (B)Awo Mukama n’anziramu n’ayogera nti,
“Wandiika okwolesebwa okwo ku bipande.
Kuwandiike bulungi
ate omubaka gwe banaatuma, akutwale bunnambiro.
3 (C)Kubanga okwolesebwa okwo kujja mu kiseera kyakwo ekigere.
Kwogera ku by’enkomerero
ate si kwa bulimba.
Bwe kunaaba ng’okuluddewo, mukulindirire,
kujja kutuukirira, tekugya kulwa.
4 (D)“Laba oyo ow’emmeeme eteri nnongoofu wa kugwa,
naye omutuukirivu aliba mulamu olw’obwesigwa bwe.”
Zabbuli ya Dawudi.
37 (A)Teweeraliikiriranga olw’abantu ababi,
so tokwatirwanga buggya abo abakola ebitasaana.
2 (B)Kubanga bagenda kuwotoka ng’omuddo,
bafiire ddala ng’essubi ekkalu.
3 (C)Weesigenga Mukama okolenga bulungi,
onoobeeranga n’emirembe mu nsi n’ofuna ebirungi.
4 (D)Sanyukiranga mu Mukama,
anaakuwanga omutima gwo bye gwetaaga.
5 (E)By’okola byonna byesigamyenga ku Mukama;
mwesigenga, anaakukoleranga ky’oyagala.
6 (F)Anaayolekanga obutuukirivu bwo ng’omusana,
n’obwenkanya bw’ebikolwa byo ne bwakaayakana ng’enjuba ey’omu ttuntu.
7 (G)Siriikirira awali Mukama,
ogumiikirize ng’olindirira ky’anaakola.
Tofangayo ng’abalala bafunye ebirungi nga bayita mu kutetenkanya kwabwe okubi.
1 (A)Nze, Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olw’okwagala kwa Katonda, ng’okusuubiza bwe kuli okw’obulamu obuli mu Kristo Yesu, 2 (B)nkuwandiikira ggwe Timoseewo omwana wange omwagalwa, nga nkwagaliza ekisa n’okusaasirwa, n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe, ne Kristo Yesu Mukama waffe.
Okwebaza n’Okugumya
3 (C)Neebaza Katonda gwe mpeereza mu mwoyo omulungi nga bajjajjange bwe baakola, nga nkujjukira obutayosa mu kusaba kwange emisana n’ekiro. 4 (D)Bwe nzijukira amaziga go ne neegomba okukulaba ndyoke nzijule essanyu. 5 (E)Nzijukira okukkiriza kwo okw’amazima olubereberye okwali mu jjajjaawo Looyi ne mukadde wo Ewuniike; era nga nkakasiza ddala nga naawe okulina. 6 (F)Kyenva nkujjukiza okuseesanga ekirabo kya Katonda ekiri mu ggwe kye yakuwa, bwe nakussaako emikono gyange. 7 (G)Kubanga Mwoyo wa Katonda, gwe yatuwa tatufuula bati, wabula atuwa amaanyi, n’okwagala era n’okwegendereza.
8 (H)Noolwekyo tokwatibwa nsonyi kwogera ku bya Mukama waffe, wadde ku nze omusibe we, wabula naawe bonaabona olw’Enjiri ng’oyambibwa amaanyi ga Katonda, 9 (I)eyatulokola n’atuyita tubeere babe. Ekyo yakikola nga tasinziira ku bikolwa byaffe, wabula ng’asinziira mu kuyitibwa okutukuvu, si ng’ebikolwa byaffe bwe biri, naye olw’ekigendererwa kye ye, n’ekisa kye, kye yatukwatirwa ng’ayita mu Kristo Yesu okuva edda n’edda Lyonna. 10 (J)Kaakano ekisa ekyo kyolesebbwa mu kulabika kw’Omulokozi waffe Kristo Yesu eyaggyawo okufa, n’aleeta obulamu obutazikirizibwa ng’ayita mu Njiri, 11 (K)gye nalonderwa okugisaasaanya, n’okuba omutume, era omuyigiriza, 12 (L)era kyenva mbonaabona bwe ntyo. Kyokka sikwatibwa nsonyi, kubanga mmanyi gwe nakkiriza, era nkakasa nti ayinza okukuuma ekyo kye namuteresa okutuusa olunaku luli.
13 (M)Gobereranga ebigambo ebireeta obulamu bye wawulira njogera, mu kukkiriza ne mu kwagala mu Kristo Yesu. 14 (N)Ekintu ekirungi eky’omuwendo kye wateresebwa kikuumenga ng’oyambibwa Mwoyo Mutukuvu abeera mu ffe.
5 (A)Awo abatume ne bagamba Mukama waffe nti, “Twongereko okukkiriza.”
6 (B)Mukama waffe n’abagamba nti, “Singa okukkiriza kwammwe kuba ng’akaweke ka kaladaali, mwandigambye omukenene guno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ era ne gubagondera.
7 “Naye ani ku mmwe, ng’omuddu we yaakakomawo okuva okulima oba okulunda endiga, amugamba nti, ‘Jjangu mangu otuule ku mmere?’ 8 (C)Tamugamba nti, ‘Teekateeka emmere yange, weerongoose olabike bulungi, olyoke ompeereze nga ndya era nga nnywa, bwe nnaamala naawe n’onywa era n’olya emmere yo?’ 9 Mulowooza nti Mukama w’omuweereza oyo amwebaza olw’okugondera bye yalagirwa okukola? 10 (D)Nammwe bwe mutyo bwe mumalanga okutuukiriza ebyo ebyabagambibwa okukola, mugambenga nti, ‘Ffe abaddu bo abatasaanira tukoze omulimu gwaffe ogutugwanidde.’ ”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.