Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 37:1-9

Zabbuli ya Dawudi.

37 (A)Teweeraliikiriranga olw’abantu ababi,
    so tokwatirwanga buggya abo abakola ebitasaana.
(B)Kubanga bagenda kuwotoka ng’omuddo,
    bafiire ddala ng’essubi ekkalu.

(C)Weesigenga Mukama okolenga bulungi,
    onoobeeranga n’emirembe mu nsi n’ofuna ebirungi.
(D)Sanyukiranga mu Mukama,
    anaakuwanga omutima gwo bye gwetaaga.

(E)By’okola byonna byesigamyenga ku Mukama;
    mwesigenga, anaakukoleranga ky’oyagala.
(F)Anaayolekanga obutuukirivu bwo ng’omusana,
    n’obwenkanya bw’ebikolwa byo ne bwakaayakana ng’enjuba ey’omu ttuntu.

(G)Siriikirira awali Mukama,
    ogumiikirize ng’olindirira ky’anaakola.
    Tofangayo ng’abalala bafunye ebirungi nga bayita mu kutetenkanya kwabwe okubi.

(H)Tonyiiganga era weewale ekiruyi;
    teweeraliikiriranga kubanga bivaamu bibi byereere.
(I)Kubanga ababi balisalibwako,
    naye abeesiga Mukama baligabana ensi.

2 Bassekabaka 19:8-20

(A)Labusake bwe yawulira nti kabaka w’e Bwasuli avudde mu Lakisi, n’avaayo, n’asanga kabaka ng’alwana ne Libuna.

Awo Sennakeribu n’afuna obubaka obukwata ku Tiraka kabaka w’e Esiyopya nti, “Laba amaliridde okulwana naawe,” era n’addamu n’atuma ababaka eri Keezeekiya ng’agamba nti, 10 (B)“Bwe muti bwe munagamba Keezeekiya kabaka wa Yuda nti, ‘Tokkiriza Katonda wo gwe weesiga kukulimbalimba ng’akusuubiza nti Yerusaalemi teriweebwayo mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli.’ 11 Ekyamazima wawulira bakabaka b’e Bwasuli kye bakoze amawanga gonna, nga bagasaanyizaawo ddala. Olowooza nti olirokolebwa? 12 (C)Bakatonda baamawanga ag’e Gozani, n’e Kalani, n’e Lezefu, n’abantu ba Adeni abaali mu Terasali, abasaanyizibwawo bajjajjange, babalokola? 13 (D)Kabaka w’e Kamasi, kabaka w’e Alupadi, kabaka w’ekibuga kya Sefavayimu, oba kabaka w’e Kena oba kabaka w’e Yiva, bali ludda wa?”

Okusaba kwa Keezeekiya

14 Keezeekiya n’afuna ebbaluwa eyaleetebwa ababaka, n’agisoma. N’ayambuka n’agenda mu yeekaalu ya Mukama, n’agyanjuluza mu maaso ga Mukama. 15 (E)Keezeekiya n’asaba eri Mukama ng’agamba nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, atuula waggulu ku bakerubi, ggwe wekka, ggwe Katonda ow’obwakabaka bwonna obw’ensi, era ggwe wakola eggulu n’ensi. 16 (F)Otege okutu kwo, Ayi Mukama, owulire; ozibule amaaso go Ayi Mukama, olabe; owulire ebigambo bya Sennakeribu, byayogedde ng’avvoola Katonda omulamu.

17 “Kya mazima, Ayi Mukama, nti bakabaka b’e Bwasuli baazikiriza amawanga n’ensi zaabwe, 18 (G)ne basuula bakatonda baabwe mu muliro. Naye abo tebaali Katonda, baali mirimu gy’emikono gy’abantu, nga mbaawo n’amayinja, era kyebaava bazikirizibwa. 19 (H)Kaakano, Ayi Mukama, Katonda waffe, tukwegayiridde, otulokole mu mukono gwe, amawanga gonna ku nsi gamanye nga ggwe, Ayi Mukama, gwe Katonda wekka.”

Isaaya Ayogera Ebyobunnabbi ku kugwa kwa Sennakeribu

20 (I)Awo Isaaya mutabani wa Amozi n’aweereza Keezeekiya obubaka nti: “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Mpulidde okusaba kwo ku bikwata ku Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli.

2 Bassekabaka 19:35-37

35 (A)Ekiro ekyo malayika wa Mukama n’agenda mu nkambi ey’Abasuuli n’atta abasajja emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano. Ku makya abantu bwe baagolokoka, laba nga bonna mirambo. 36 (B)Awo Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’ava mu nkambi, n’addayo ewuwe, n’agenda n’abeera e Nineeve.

37 (C)Awo bwe yali ng’asinziza mu ssabo lya katonda we Nisuloki Adulammereki ne Salezeri batabani be ne bamutta n’ekitala, ne baddukira mu nsi y’e Alalati. Esaladoni mutabani we n’amusikira.

Okubikkulirwa 2:12-29

Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Perugamo

12 (A)“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’e Perugamo wandiika nti:

Bw’ati bw’ayogera oyo alina ekitala ekyogi eky’obwogi obubiri 13 (B)nti, Mmanyi gy’obeera awo awali entebe y’obwakabaka bwa Setaani, kyokka ng’onywezezza erinnya lyange era wasigala n’okukkiriza kwo, ne mu biseera Antipa omujulirwa wange omwesigwa mwe yattirwa wakati mu mmwe, eyo Setaani gy’abeera.

14 (C)Naye nkulinako ensonga ntono: eyo olinayo ab’enjigiriza eya Balamu eyayigiriza Balaki okutega abaana ba Isirayiri omutego n’abaliisa ennyama ey’omuzizo eyassaddaakirwa eri bakatonda abalala, era n’okwenda. 15 (D)Ate era olinayo n’abakkiririza mu njigiriza y’Abanikolayiti. 16 (E)Noolwekyo weenenye, bw’otookikole ndijja mangu ne nnwanyisa abantu abo n’ekitala eky’omu kamwa kange.

17 (F)Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula ndimuwa ku maanu eyakwekebwa. Era ndimuwa ejjinja eryeru eriwandiikiddwako erinnya eriggya eritamanyiddwa muntu mulala yenna wabula oyo aliweereddwa.”

Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Suwatira

18 (G)“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Suwatira wandiika nti:

Bw’ati bw’ayogera Omwana wa Katonda, oyo alina amaaso agali ng’ennimi ez’omuliro, n’ebigere ebimasamasa ng’ekikomo ekizigule 19 (H)nti, Mmanyi ebikolwa byo, n’okwagala kwo, n’okukkiriza kwo, n’obutuukirivu bwo, n’okugumiikiriza kwo, era n’ebikolwa byo eby’oluvannyuma bisinga ebyasooka.

20 (I)Kyokka nkulinako ensonga eno. Ogumiikiriza omukazi Yezeberi eyeeyita nnabbi omukazi akyamya abaweereza bange ng’abayigiriza obwenzi n’okulya emmere eweereddwayo eri bakatonda abalala. 21 (J)Namuwa ekiseera yeenenye, kyokka tayagala kwenenya bwenzi bwe. 22 (K)Laba, ndimulwaza obulwadde obulimusuula ku ndiri, era n’abo baayenda nabo mbatuuse ku bulumi obw’amaanyi, okuggyako nga beenenyezza ebikolwa byabwe. 23 (L)Era nditta abaana be. Olwo Ekkanisa zonna ziryoke zitegeere nti nkebera emitima n’ebirowoozo era ndibasasula ng’ebikolwa byabwe bwe biri.

24 (M)Kale mmwe abalala abali mu Suwatira abatagoberera kuyigiriza kuno abatamanyi bintu bya Setaani eby’obuziba ng’enjogera bw’egamba, sigenda kubassaako mugugu mulala. 25 (N)Wabula munyweze nnyo kye mulina okutuusa lwe ndijja.

26 (O)Oyo aliwangula era n’oyo alisigala ng’akola emirimu gyange okutuusa ku nkomerero, ndimuwa obuyinza okufuga amawanga. 27 (P)‘Alibafuga n’omuggo ogw’ekyuma, n’abayasaayasa ng’ayasaayasa ebibya eby’ebbumba.’ 28 (Q)Era ndimuwa emmunyeenye ey’enkya nga nange bwe nagiweebwa Kitange. 29 (R)Alina amatu awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.