Revised Common Lectionary (Complementary)
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi.
62 (A)Emmeeme yange ewummulira mu Katonda yekka;
oyo obulokozi bwange mwe buva.
2 (B)Ye yekka, lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange;
ye kye kigo kyange siinyeenyezebwenga n’akatono.
3 (C)Mulituusa ddi nga mulumba omuntu,
mmwe mwenna okwagala okumusuula wansi
ng’ekisenge ekyewunzise era ng’olukomera oluyuuguuma?
4 (D)Bateesa okumuggya
mu kifo kye ekinywevu,
basanyukira eby’obulimba.
Basaba omukisa n’emimwa gyabwe
so nga munda bakolima.
5 Emmeeme yange ewummulire mu Katonda yekka;
kubanga mu ye mwe muli essuubi lyange.
6 Ye yekka lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange,
ye kye kigo kyange, siinyeenyezebwenga.
7 (E)Okulokolebwa kwange n’ekitiibwa kyange biri mu Katonda yekka;
ye lwe lwazi lwange olw’amaanyi era kye kiddukiro kyange.
8 (F)Mumwesigenga bulijjo mmwe abantu,
mumutegeezenga byonna ebiri mu mitima gyammwe,
kubanga Katonda kye kiddukiro kyaffe.
9 (G)Abaana b’abantu mukka bukka,
abazaalibwa mu bugagga bulimba bwereere;
ne bwe bageraageranyizibwa ku minzaani,
n’omukka gubasinga okuzitowa.
10 (H)Temwesigamanga ku bujoozi
wadde ku bintu ebibbe.
Temuyitirira okwewaanirawaanira mu bugagga bwammwe ne bwe bweyongeranga,
era temubumalirangako mwoyo gwammwe.
11 Katonda ayogedde ekintu kimu,
kyokka nze nziggyemu ebintu bibiri nti:
Katonda, oli w’amaanyi,
12 (I)era ggwe, Ayi Mukama, ojjudde okwagala.
Ddala olisasula buli muntu
ng’ebikolwa bye bwe biri.
9 (A)Okuva mu nnaku za Gibea, wayonoona, ggwe Isirayiri
era eyo gye wagugubira.
Entalo tezakwatira abakozi b’ebibi mu Gibea?
10 (B)Bwe ndiba nga njagadde, ndibabonereza;
amawanga galikuŋŋaana okulwana nabo,
ne basibibwa mu masanga olw’ebibi byabwe eby’emirundi ebiri.
11 Efulayimu nnyana ntendeke
eyagala okuwuula;
kyendiva nteeka ekikoligo
mu nsingo ye ennungi.
Ndigoba Efulayimu
ne Yuda ateekwa okulima
ne Yakobo ateekwa okukabala.
12 (C)Musige ensigo ez’obutuukirivu,
mukungule ebibala eby’okwagala okutaggwaawo;
mukabale ettaka lyammwe eritali ddime,
kubanga ekiseera kituuse okunoonya Mukama,
okutuusa lw’alidda
n’abafukako obutuukirivu.
13 (D)Naye mwasimba obutali butuukirivu
ne mukungula ebibi,
era mulidde ebibala eby’obulimba.
Olw’okwesiga amaanyi go,
n’abalwanyi bo abangi,
14 (E)olutalo kyeluliva lubawuumira mu matu,
n’ebigo byammwe byonna ne bizikirizibwa,
nga Sulemaani bwe yazikiriza Beswaluberi ku lunaku olw’olutalo,
abakyala ba nnakazadde lwe baggundwa ku ttaka n’abaana baabwe.
15 (F)Bwe kityo bwe kiribeera, ggwe Besweri
kubanga ekibi kyo kinene nnyo.
Olunaku olwo bwe lulituuka,
kabaka wa Isirayiri alizikiririzibwa ddala.
Okulabula abagagga
5 (A)Kale, mmwe abagagga, mukaabe era mwaziirane. Mugenda kujjirwa ennaku. 2 (B)Eby’obugagga byammwe bivunze, n’ebyambalo byammwe biriiriddwa ennyenje. 3 (C)Ezaabu yammwe ne ffeeza bitalazze, era obutalagge bwabyo bwe buliba obujulirwa obulibalumiriza omusango, ne bumalawo omubiri gwammwe ng’omuliro. Mweterekera obugagga olw’ennaku ez’oluvannyuma. 4 (D)Laba abakozi abaakola mu nnimiro zammwe ne mulyazaamaanya empeera yaabwe, bakaaba, n’abaakungula bakungubaga, era amaloboozi g’okwaziirana kwabwe gatuuse mu matu ga Mukama ow’Eggye. 5 (E)Mwesanyusiza ku nsi ne mwejalabya mu bugagga bwammwe. Mwagezza emitima gyammwe nga muli ng’abeetegekera olunaku olw’okubaagirako ebyassava. 6 (F)Atasobyanga mwamusalira omusango okumusinga ne mumutta, ng’ate ye talina bwe yeerwanirako.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.