Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 146

146 (A)Tendereza Mukama!

Tendereza Mukama ggwe emmeeme yange!

(B)Nnaatenderezanga Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwange;
    nnaayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyali mulamu.
(C)Teweesiganga bafuzi,
    wadde abantu obuntu omutali buyambi.
(D)Kubanga bafa ne bakka emagombe;
    ne ku lunaku olwo lwennyini, byonna bye baba bateeseteese ne bifa.
(E)Yeesiimye oyo ayambibwa Katonda wa Yakobo;
    ng’essuubi lye liri mu Mukama Katonda we,
(F)eyakola eggulu n’ensi
    n’ennyanja ne byonna ebirimu,
    era omwesigwa emirembe gyonna.
(G)Atereeza ensonga z’abajoogebwa mu bwenkanya,
    n’abalumwa enjala abawa ebyokulya.
Mukama asumulula abasibe.
    (H)Mukama azibula amaaso ga bamuzibe,
era awanirira abazitoowereddwa.
    Mukama ayagala abatuukirivu.
(I)Mukama alabirira bannamawanga,
    era ayamba bamulekwa ne bannamwandu;
    naye ekkubo ly’abakola ebibi alifaafaaganya.

10 (J)Mukama anaafuganga emirembe gyonna,
    Katonda wo, Ayi Sayuuni, anaabanga Katonda wa buli mulembe.

Mutendereze Mukama!

Engero 22:2-16

(A)Abagagga n’abaavu balina kimu ekibagatta,
    Mukama ye Mutonzi waabwe bonna.

(B)Omuntu omutegeevu bw’alaba akabi yeekweka,
    naye abatalina magezi bagenda bugenzi mu maaso ne balumizibwa.

Obugagga n’ekitiibwa n’obulamu
    y’empeera ey’okwetoowazanga n’okutyanga Mukama.

(C)Amaggwa n’emitego biri mu kkubo ly’omubambaavu;
    naye oyo akuuma emmeeme ye anaabyewalanga.

(D)Manyiiriza omwana mu kkubo erimugwanira okutambulirangamu,
    ne bw’alikula talirivaamu.

Omugagga afuga abaavu,
    naye eyeewola aba muddu w’oyo amuwola.

(E)Asiga obutali butuukirivu akungula mitawaana,
    n’oluga olw’obusungu bwe lulizikirizibwa.

(F)Omuntu omugabi anaabanga n’omukisa,
    kubanga emmere ye agirya n’abaavu.

10 (G)Goba omunyoomi, entalo zinaagenda,
    ennyombo n’okuvumagana binaakoma.

11 (H)Omuntu eyeegomba omutima omulongoofu
    era ayogera n’eggonjebwa, talirema kuganja ewa kabaka.

12 Amaaso ga Mukama galabirira amazima,
    era adibya entegeka z’abatali beesigwa.

13 (I)Omugayaavu ayogera nti, “Ebweru eriyo empologoma,”
    oba nti, “Nnyinza okutemulirwa mu kkubo.”

14 (J)Malaaya mutego gwa kabi,
    akolimiddwa Mukama mw’afiira.

15 (K)Obusirusiru busibiddwa ku mutima gw’omwana omuto,
    naye omuggo ogukangavvula gulimuwonyeza ddala.

16 Omuntu atulugunya abaavu ne yeeyongera okugaggawala,
    n’oyo agabira omugagga awa abagagga enguzi, enkomerero ya bombi bwavu.

2 Abakkolinso 8:8-15

(A)Sibawa kiragiro, wabula olw’okunyiikira kw’abalala n’okugezesa okwagala kwammwe nga kw’amazima. (B)Kubanga mumanyi ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo nga bwe yafuka omwavu ku lwammwe, mwe mulyoke mugaggawale.

10 (C)Amagezi ge mbawa ge gano nti mumalirize ekyo kye mwatandikako mu mwaka ogwayita, kubanga si mmwe mwasooka okuleeta ekirowoozo ekyo ate era si mmwe mwali ababereberye mu kutandika okukikolerako. 11 (D)Naye kaakano mu bumalirivu bwammwe mu kwagala okukikola, mumalirize omulimu ogwo, okusinziira kw’ekyo kye mulina. 12 (E)Kuba obanga mulina obumalirivu nga buli muntu bw’alina, buli muntu aweeyo okusinziira ku ekyo ky’alina so si ky’atalina.

13 Abalala baleme kuyambibwa ate nga mmwe munyigirizibwa, walyoke wabeewo, okwenkanankana. 14 (F)Kaakano bye mulina ebingi biyambe abo abali mu kwetaaga, ate ebyabwe bye baliba nabyo ebingi biribayamba nga muli mu kwetaaga. 15 (G)Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Oyo eyakuŋŋaanyanga ennyingi teyasigazangawo, n’eyakuŋŋaanyanga entono ng’emumala bumazi.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.