Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 12

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

12 (A)Tuyambe, Ayi Mukama, kubanga tewakyali n’omu amanyi Katonda;
    abantu abeesigwa bonna baweddewo.
(B)Buli muntu alimba munne;
    akamwa kaabwe akawaana koogera bya bulimba.

(C)Mukama, osirise akamwa k’abo bonna abeewaanawaana,
    na buli lulimi olwenyumiriza;
nga boogera nti, “Tujja kuwangula n’olulimi lwaffe, era tufune byonna bye twetaaga n’akamwa kaffe,
    kubanga ani alitukuba ku mukono.”

(D)Mukama ayogera nti, “Olw’okujoogebwa kw’abanafu,
    n’olw’okusinda kw’abali mu bwetaavu,
nnaasituka kaakano
    ne nnwanirira abo abalumbibwa.”
(E)Ebigambo bya Mukama bya bwesigwa era bya mazima.
    Bigeraageranyizibwa n’effeeza
    erongoosebbwa obulungi emirundi musanvu mu kyoto eky’ebbumba.

(F)Ayi Mukama, tukwesiga ng’onootukuumanga,
    n’otuwonya abantu abali ng’abo emirembe gyonna.
(G)Ababi beeyisaayisa
    nga bagulumiza ebitaliimu nsa.

Engero 21:10-16

10 Emmeeme y’omubi yeegomba okukola ebibi;
    talaga muliraanwa we kisa n’akatono.

11 (A)Omukudaazi bw’abonerezebwa, atalina magezi agafuna;
    n’ow’amagezi bw’ayigirizibwa afuna okutegeera.

12 (B)Katonda alaba ebifa mu nnyumba y’omubi,
    era abakozi b’ebibi abazikkiririza ddala.

13 (C)Oyo aziba amatu ge eri okulaajana kw’omwavu,
    naye alikoowoola nga talina amwanukula.

14 (D)Ekirabo ekigabire mu kyama kikakkanya obusungu obungi,
    n’enguzi ebikiddwa mu munagiro eggyawo ekiruyi ekingi.

15 (E)Ensonga bwe zisalibwa mu bwenkanya, lye ssanyu eri abatuukirivu,
    naye kiba kyekango eri abakozi b’ebibi.

16 (F)Omuntu awaba okuva mu kkubo ly’okutegeera,
    agukira mu bafu.

Lukka 20:45-21:4

45 Awo abantu bonna nga bawulira, Yesu n’akyukira abayigirizwa be n’abagamba nti, 46 (A)“Mwekuume abannyonnyozi b’amateeka. Baagala nnyo okutambula nga bambadde amaganduula agagenda gakweya, n’abantu okugenda nga babalamusa mu butale, era baagala nnyo okutuula mu bifo eby’ekitiibwa mu makuŋŋaaniro ne ku mbaga! 47 Balimbalimba nga basaba essaala empanvu, ng’eno bwe basala enkwe okunyaga ebintu bya bannamwandu. Noolwekyo bagenda kufuna ekibonerezo ekisingira ddala obunene.”

Okugaba kwa Nnamwandu

21 (B)Awo Yesu bwe yayimusa amaaso n’alaba abantu abagagga nga bateeka ebirabo byabwe mu ggwanika mu Yeekaalu. N’alaba nnamwandu omwavu ng’awaayo busente bubiri. N’agamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti nnamwandu oyo omwavu agabye okusinga bali abagagga bonna. (C)Kubanga bagabye kitono nga bakiggya ku bugagga bwe bafisizzaawo, naye nnamwandu mu bwavu bwe awaddeyo kyonna ky’alina.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.