Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 113

113 (A)Mutendereze Mukama!

Mumutendereze, mmwe abaweereza be,
    mutendereze erinnya lya Mukama.
(B)Erinnya lya Mukama litenderezebwe
    okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
(C)Enjuba weeviirayo okutuusa bw’egwa,
    erinnya lya Mukama litenderezebwenga.

(D)Mukama agulumizibwa okusinga amawanga gonna,
    era n’ekitiibwa kye kisinga eggulu.
(E)Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe,
    atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka eri waggulu ennyo,
(F)ne yeetoowaza
    okutunuulira eggulu n’ensi?

(G)Abaavu abayimusa n’abaggya mu nfuufu;
    n’abali mu kwetaaga n’abasitula ng’abaggya mu vvu,
(H)n’abatuuza wamu n’abalangira,
    awamu n’abalangira abo abafuga abantu be.
(I)Omukazi omugumba amuwa abaana,
    n’abeera mu maka ge n’ezzadde lye ng’ajjudde essanyu.

Mutendereze Mukama!

Isaaya 5:8-23

(A)Zibasanze mmwe aboongera amayumba ku ge mulina,
    n’ennimiro ne muzongerako endala
ne wataba kafo konna kasigadde,
    ne mubeera mwekka wakati mu nsi!

(B)Mukama Katonda alayidde nga mpulira nti,

“Mu mazima ennyumba nnyingi zirifuuka bifulukkwa,
    n’ezo ennene ez’ebbeeyi zibulemu abantu.
10 (C)Kubanga yika kkumi ez’ennimiro y’emizabbibu zinaavangamu ekibbo kimu,
    n’ogusero ogw’ensigo, kabbo bubbo ak’amakungula.”

11 (D)Zibasanze abo abakeera enkya ku makya
    banoonye ekitamiiza,
abalwawo nga banywa omwenge ettumbi ly’obudde,
    okutuusa omwenge lwe gubalalusa!
12 (E)Ababeera n’ennanga n’entongooli, ebitaasa n’endere,
    n’omwenge ku mbaga zaabwe;
naye ne batalowooza ku mulimu gwa Mukama Katonda,
    wadde okussa ekitiibwa mu ebyo bye yatonda.
13 (F)Abantu bange kyebavudde bagenda mu buwaŋŋanguse
    kubanga tebalina kutegeera.
Abantu baabwe ab’ekitiibwa bafe enjala,
    n’abantu aba bulijjo bafe ennyonta.
14 (G)Amagombe kyegavudde gagaziya omumiro gwago,
    era ne gaasamya akamwa kaago awatali kkomo.
Mu ko mwe munaagenda abakungu baabwe
    n’abantu baabwe abaabulijjo, n’ab’effujjo n’abatamiivu.
15 (H)Buli muntu alitoowazibwa,
    abantu bonna balikkakkanyizibwa
    era amaaso g’abo abeemanyi nago gakkakkanyizibwe.
16 (I)Naye Mukama Katonda ow’Eggye aligulumizibwa olw’obwenkanya,
    era Katonda Omutukuvu yeerage nga bw’ali omutukuvu mu butuukirivu bwe.
17 (J)Endiga ento ziryoke zirye ng’eziri mu malundiro gaazo,
    n’ensolo engenyi ziriire mu bifo ebyalekebwa awo, ebyalundirwangamu eza ssava.

18 (K)Zibasanze abo abasikaasikanya ebibi byabwe
    ng’embalaasi bw’esika ekigaali.
19 (L)Aboogera nti, “Ayanguyeeko, ayite mu bwangu tulabe ky’anaakola.
    Entegeka z’omutukuvu wa Isirayiri nazo zijje,
    zituuke nazo tuzimanye.”

20 (M)Zibasanze abo abayita ekibi ekirungi
    n’ekirungi ekibi,
abafuula ekizikiza okuba ekitangaala,
    n’ekitangaala okuba ekizikiza,
abafuula ekikaawa okuba ekiwoomerera
    n’ekiwoomerera okuba ekikaawa.

21 (N)Zibasanze abo abeeraba ng’abalina amagezi,
    era abagezigezi bo nga bwe balaba.

22 (O)Zibasanze abo abazira mu kunywa omwenge
    era mu kutabula ekitamiiza,
23 (P)abejjeereza abatemu olw’enguzi
    era abamma abatuukirivu obwenkanya obubagwanidde.

Makko 12:41-44

Ekirabo kya Nnamwandu

41 (A)Awo Yesu bwe yatuula okwolekera eggwanika ly’ensimbi, n’alaba engeri ekibiina ky’abantu gye bateekamu ensimbi mu ggwanika. Abagagga bangi baali bateekamu ensimbi nnyingi.[a] 42 Awo nnamwandu eyali omwavu n’ajja n’ateekamu ebitundu bibiri, ye kodulante.[b]

43 Yesu n’ayita abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti nnamwandu oyo omwavu awaddeyo nnyo okusinga bonna bali abatadde mu ggwanika. 44 (B)Kubanga bonna bataddemu ku bibafikkiridde, naye ate nnamwandu ono mu kwetaaga kwe ataddemu kyonna ky’abadde nakyo, ekibadde kijja okumuyamba obulamu bwe bwonna.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.