Revised Common Lectionary (Complementary)
113 (A)Mutendereze Mukama!
Mumutendereze, mmwe abaweereza be,
mutendereze erinnya lya Mukama.
2 (B)Erinnya lya Mukama litenderezebwe
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
3 (C)Enjuba weeviirayo okutuusa bw’egwa,
erinnya lya Mukama litenderezebwenga.
4 (D)Mukama agulumizibwa okusinga amawanga gonna,
era n’ekitiibwa kye kisinga eggulu.
5 (E)Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe,
atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka eri waggulu ennyo,
6 (F)ne yeetoowaza
okutunuulira eggulu n’ensi?
7 (G)Abaavu abayimusa n’abaggya mu nfuufu;
n’abali mu kwetaaga n’abasitula ng’abaggya mu vvu,
8 (H)n’abatuuza wamu n’abalangira,
awamu n’abalangira abo abafuga abantu be.
9 (I)Omukazi omugumba amuwa abaana,
n’abeera mu maka ge n’ezzadde lye ng’ajjudde essanyu.
Mutendereze Mukama!
Amateeka ku Kusaasira ne ku Bwenkanya
23 (A)“Tosaasaanyanga ŋŋambo. Teweegattanga na muntu mubi, ng’owa obujulirwa obw’obulimba bulyoke bumuyambe.
2 (B)“Tokolagananga na kibiina ky’omanyi nga bye kiriko bikyamu. Bw’obanga owa obujulirwa mu musango, tokkirizanga kusikibwa kibiina ne kikuweesa obujulizi obw’obulimba nga weekubira ku ludda lwe kiriko; 3 era towanga bujulirwa bukyamu oyambe omuntu yenna olwokubanga mwavu.
4 (C)“Bw’osanganga ente y’omulabe wo, oba endogoyi ye, ng’ebuzze ogimuddizangayo eka. 5 (D)Bw’olabanga endogoyi y’omuntu atakwagala, ng’omugugu gugisudde wansi, togirekanga, naye omuyambangako okugiyimusa.
6 (E)“Tolemanga kusalirawo muntu nsonga ze mu bwenkanya, olwokubanga mwavu. 7 (F)Teweeyingizanga mu nsonga za bulimba, era tottanga muntu atalina kibi oba atazzizza musango, kubanga aliko omusango sigenda kumwejjeereza.
8 (G)“Tolyanga nguzi, kubanga enguzi eziba omuntu amaaso n’ekyamya n’abatuukirivu.
9 (H)“Temuwalagganyanga munnaggwanga, kubanga mmwe bennyini mumanyi nga bwe kiri okuba bannaggwanga, kubanga mwali bannaggwanga mu nsi y’e Misiri.
Obwesigwa bwa Katonda
3 Kaakano olwo Omuyudaaya alina nkizo ki? Oba okukomolebwa kugasa ki? 2 (A)Kugasa nnyo mu ngeri nnyingi. Okusookera ddala, Abayudaaya be baateresebwa ebigambo bya Katonda.
3 (B)Kituufu nti abamu ku bo tebakkiriza bigambo ebyo. Obutakkiriza bwabwe buliggyawo obwesigwa bwa Katonda, olw’okuba nga bo tebaalina kukkiriza? 4 (C)Tekisoboka. Katonda ye wa mazima, newaakubadde nga buli muntu yenna mulimba. Ebyawandiikibwa bigamba nti,
“Olyoke otuukirire mu bigambo byo,
era osinge bw’osala omusango.”
5 (D)Naye obanga obutali butuukirivu bwaffe bulagira ddala obutuukirivu bwa Katonda, tunaayogera ki? Kikyamu Katonda okutunyiigira era n’atubonereza? Mu kino njogera ng’omuntu. 6 (E)Nedda, sikikyamu. Katonda alisalira atya ensi omusango? 7 (F)Naye obanga obulimba bwammwe bweyongera okugulumiza Katonda, nga kiraga Katonda bw’ali ow’amazima, oyinza okwebuuza lwaki okyasalirwa omusango ng’omwonoonyi? 8 (G)Era okyayinza okwongerako na kino nti tukolenga ebibi mulyoke muveemu ebirungi, ng’abamu bwe batuwaayiriza nti, bwe tugamba. Kyokka Katonda mwenkanya, era alibasalira nga bwe kibagwanira.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.