Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Isaaya 58:9-14

(A)Olwo olikoowoola, Mukama n’akuddamu;
    olikaaba naye n’akuddamu nti, Ndi wano.

“Bwe muliggyawo ekikoligo ekinyigiriza
    n’okusonga ennwe, n’okwogera n’ejjoogo;
10 (B)bw’olyewaayo okuyamba abayala
    n’odduukirira abali mu buzibu,
olwo omusana gwo gulyaka n’ova mu kizikiza,
    ekibadde ekiro kifuuke ettuntu.
11 (C)Era Mukama anaakuluŋŋamyanga ennaku zonna,
    n’akuwa ebintu ebirungi obulamu bwo bye bwetaaga,
    amagumba go aligongeramu amaanyi;
era olibeera ng’ennimiro enfukirire obulungi,
    era ng’oluzzi olw’amazzi agatakalira.
12 (D)N’abantu bo balizimba ebifo eby’edda ebyazika
    era baddemu okuzimba emisingi egy’edda.
Olyoke oyitibwe omuddaabiriza wa bbugwe eyamenyeka,
    omuddaabiriza wa mayumba ag’okusulamu.

13 (E)“Bw’oneekuumanga obutayonoona Ssabbiiti,
    obutakola nga bw’oyagala ku lunaku lwange olutukuvu,
bw’onooluyitanga olw’essanyu
    era olunaku lwa Mukama olw’ekitiibwa,
singa muluwa ekitiibwa ne mutakwata makubo gammwe
    oba obutakola nga bwe mwagala oba okwogera ebigambo eby’okubalaata,
14 (F)awo olifuna essanyu eriva eri Mukama
    era olitambulira mu bifo by’ensi ebya waggulu
    era ndikuwa obusika bwa kitaawo Yakobo”
Akamwa ka Mukama ke kakyogedde.

Zabbuli 103:1-8

Zabbuli Ya Dawudi.

103 (A)Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange;
    ne byonna ebiri mu nze byebaze erinnya lye ettukuvu.
Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange,
    era teweerabiranga birungi bye byonna.
(B)Asonyiwa ebibi byo byonna,
    n’awonya n’endwadde zo zonna.
Anunula obulamu bwo emagombe, n’akusaasira
    era n’akwagala n’okwagala okutaggwaawo.
(C)Awa emmeeme yo ebintu ebirungi byeyagala;
    obuvubuka bwo ne budda buggya ng’empungu.[a]

Mukama asala mu butuukirivu ne mu bwenkanya,
    ensonga z’abo bonna abajoogebwa.

(D)Yamanyisa Musa ebyo by’ayagala,
    n’alaga abaana ba Isirayiri ebikolwa bye.
(E)Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira,
    tasunguwala mangu, era alina okwagala okutaggwaawo.

Abaebbulaniya 12:18-29

18 (A)Temuzze ku lusozi olulabika olwaka omuliro, n’okukankana n’ekizikiza ekikutte, ne kibuyaga, 19 (B)n’eri eddoboozi ly’akagombe n’eri eddoboozi ery’ebigambo n’abo abaaliwulira ne batayinza na kweyongera kuligumira. 20 (C)Kubanga tebaayinza kugumira ekyo ekyalagirwa Katonda nti, “Ne bw’eba ensolo, bw’ekomanga ku lusozi ekubwanga amayinja n’efa.” 21 Ne Musa n’atya nnyo olw’ekyo kye yalaba n’ayogera nti, “Ntidde nnyo era nkankana.”

22 (D)Naye muzze ku lusozi Sayuuni, ne mu kibuga kya Katonda omulamu, mu Yerusaalemi eky’omu ggulu n’eri enkumi n’enkumi ez’abamalayika abakuŋŋaanye, 23 (E)n’eri ekkanisa ey’abo abaasooka, amannya gaabwe agaawandiikibwa mu ggulu, n’eri Katonda Omulamuzi wa bonna, n’eri emyoyo egy’abantu abaatukirizibwa, 24 (F)n’eri endagaano empya eya Yesu omutabaganya, ey’omusaayi ogwamansirwa ogwogera obulungi okusinga ogwa Aberi.

25 (G)Kale mugonderenga oyo ayogera nammwe. Obanga Abayisirayiri tebaayinza kulokoka, bwe baagaana okuwulira oyo eyabalabula ng’ali ku nsi, tetuliyisibwa bubi nnyo n’okusingawo, bwe tulijeemera ekigambo ky’oyo ow’omu ggulu atulabula? 26 (H)Yakankanya ensi n’eddoboozi lye kyokka n’asuubiza nti, “Omulundi omulala sirinyeenya nsi yokka, naye era n’eggulu.” 27 (I)Kino kitegeeza nti agenda kumalawo nate ebyo ebinyenyezebwa, kyokka ebitanyenyezebwa bisigalewo.

28 (J)Kale, nga bwe twaweebwa obwakabaka obutanyeenyezebwa, tusinze Katonda nga bw’asiima nga tumussaamu ekitiibwa era nga tumutya. 29 (K)Kubanga ddala, “Katonda waffe, gwe muliro ogwokya.”

Lukka 13:10-17

Yesu Awonya Omukazi Omulema ku Ssabbiiti

10 (A)Awo ku lunaku lwa Ssabbiiti Yesu yali ng’ayigiriza mu kkuŋŋaaniro, 11 (B)ne wabaawo omukazi eyaliko omuzimu ogwamulwaza okumala emyaka kkumi na munaana, nga yeewese emirundi ebiri era nga tasobola kwegolola. 12 Yesu n’amulaba, n’amuyita n’amugamba nti, “Mukazi wattu, owonyezeddwa obulwadde bwo.” 13 (C)N’amukwatako. Amangwago omukazi ne yeegolola n’ayimirira bulungi, n’atendereza Katonda!

14 (D)Naye omukulembeze w’ekkuŋŋaaniro eryo n’anyiiga nnyo, kubanga Yesu yawonya ku lunaku lwa Ssabbiiti. N’agamba ekibiina nti, “Mu wiiki mulimu ennaku mukaaga, muyinza okujjanga mu nnaku ezo ne muwonyezebwa, naye so si ku Ssabbiiti!”

15 (E)Mukama waffe n’amuddamu nti, “Bannanfuusi mmwe! Buli omu ku mmwe tasumulula nte ye oba ndogoyi ye ku Ssabbiiti n’agitwala okunywa amazzi? 16 (F)Naye si kituufu omukazi ono, muwala wa Ibulayimu, okusumululwa ku Ssabbiiti mu busibe bwa Setaani bw’amazeemu emyaka ekkumi n’omunaana?”

17 (G)Bwe yayogera bw’atyo abaali bamuwakanya bonna ne baswala, naye ekibiina ky’abantu bonna ne bajjula essanyu olw’ebintu eby’ekitalo bye yakola.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.