Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 103:1-8

Zabbuli Ya Dawudi.

103 (A)Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange;
    ne byonna ebiri mu nze byebaze erinnya lye ettukuvu.
Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange,
    era teweerabiranga birungi bye byonna.
(B)Asonyiwa ebibi byo byonna,
    n’awonya n’endwadde zo zonna.
Anunula obulamu bwo emagombe, n’akusaasira
    era n’akwagala n’okwagala okutaggwaawo.
(C)Awa emmeeme yo ebintu ebirungi byeyagala;
    obuvubuka bwo ne budda buggya ng’empungu.[a]

Mukama asala mu butuukirivu ne mu bwenkanya,
    ensonga z’abo bonna abajoogebwa.

(D)Yamanyisa Musa ebyo by’ayagala,
    n’alaga abaana ba Isirayiri ebikolwa bye.
(E)Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira,
    tasunguwala mangu, era alina okwagala okutaggwaawo.

Nekkemiya 13:15-22

15 (A)Mu biro ebyo, ne ndaba abasajja mu Yuda, nga basogola omwenge ku Ssabbiiti, era nga baleeta emmere ey’empeke awamu ne wayini, n’emizabbibu, n’ettiini, n’emigugu emirala egya buli ngeri, nga babitisse endogoyi. Bino baali babiyingiza mu Yerusaalemi ku Ssabbiiti. Kyenava mbalabula obutatunda mmere ku lunaku olwo. 16 (B)Abantu b’e Ttuulo abaatuulanga mu Yerusaalemi, baaleetanga ebyennyanja n’ebyamaguzi eby’engeri ez’enjawulo, nga babitunza abantu ba Yuda mu Yerusaalemi ku Ssabbiiti. 17 Nanenya abakulembeze ba Yuda ne mbagamba nti, “Kiki kino eky’ekivve kye mukola nga mwonoona olunaku lwa Ssabbiiti? 18 (C)Bajjajjammwe tebaakola bintu bye bimu, Katonda waffe n’alyoka aleeta ekikangabwa kino kyonna ku ffe ne ku kibuga kyaffe kino? Kaakano mwongera kusiikula kiruyi kirala eri Isirayiri nga mwonoona Ssabbiiti?”

19 (D)Awo ebisiikirize ebya kawungeezi bwe byali bitandise okugwa ku miryango gya Yerusaalemi, nga Ssabbiiti tennatuuka, ne ndagira emiryango okuggalwa era gireme okuggulwa okutuusa nga Ssabbiiti eweddeko. Nateeka abamu ku basajja bange ku miryango, waleme kubaawo mugugu guyingizibwa wadde ogufulumizibwa ku Ssabbiiti. 20 Omulundi gumu oba ebiri, abasuubuzi n’abatundanga ebintu eby’engeri zonna baasula ebweru w’ekibuga Yerusaalemi. 21 Kyokka ne mbalabula nga mbagamba nti, “Lwaki musula awo ku bbugwe? Bwe munaddamu okukikola nzija kubabonereza.” Okuva ku olwo tebaddayo kujja ku Ssabbiiti. 22 (E)Ne ndyoka ndagira Abaleevi okwetukuza bagende bakuume emiryango, okusobola okukuuma olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu.

Onzijukire olwa kino nakyo Ayi Katonda wange, era ondage ekisa okusinziira ku kwagala kwo okungi.

Lukka 6:1-5

Yesu ye Mukama wa Ssabbiiti

(A)Awo ku lunaku lumu olwa Ssabbiiti, Yesu n’abayigirizwa be bwe baali bayita mu nnimiro y’emmere ey’empeke, abayigirizwa be ne banoga ku birimba by’emmere ey’empeke ne babikunya mu ngalo zaabwe, ne balya. (B)Naye Abafalisaayo abamu ne bagamba nti, “Lwaki mukola ekitakkirizibwa ku Ssabbiiti?”

(C)Yesu n’abaddamu nti, “Temusomanga ku Dawudi kye yakola, enjala bwe yamuluma n’abo be yali nabo? (D)Yayingira mu nnyumba ya Katonda, n’addira emigaati egy’okulaga, n’atoola n’alyako, n’awaako ne be yali nabo ne balya so ng’ekyo kyali tekikkirizibwa muntu yenna okuggyako bakabona.” (E)N’abagamba nti, “Omwana w’Omuntu, ye Mukama wa Ssabbiiti.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.