Revised Common Lectionary (Complementary)
Zabbuli Ya Dawudi.
103 (A)Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange;
ne byonna ebiri mu nze byebaze erinnya lye ettukuvu.
2 Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange,
era teweerabiranga birungi bye byonna.
3 (B)Asonyiwa ebibi byo byonna,
n’awonya n’endwadde zo zonna.
4 Anunula obulamu bwo emagombe, n’akusaasira
era n’akwagala n’okwagala okutaggwaawo.
5 (C)Awa emmeeme yo ebintu ebirungi byeyagala;
obuvubuka bwo ne budda buggya ng’empungu.[a]
6 Mukama asala mu butuukirivu ne mu bwenkanya,
ensonga z’abo bonna abajoogebwa.
12 (A)Awo Sulemaani n’awangayo ebiweebwayo ebyokebwa, ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kya Mukama kye yali azimbye mu maaso ag’olubalaza, 13 (B)nga bwe kyali kigwanirwa buli lunaku, okuwangayo ebiweebwayo ng’etteeka lya Musa bwe lyali, erikwata ku ssabbiiti, n’emyezi nga kye gijje giboneke, ne ku mbaga essatu eza buli mwaka, era ze zino: embaga ey’emigaati egitazimbulukuswa, n’embaga eya ssabbiiti, n’embaga ey’ensiisira. 14 (C)N’alonda ebibinja ebya bakabona olw’obuweereza bwabwe, n’Abaleevi olw’emirimu gyabwe egy’okutenderezanga mu nnyumba, ng’ekiragiro kya Dawudi kitaawe kye yayogera ne mu kuyambangako bakabona mu mirimu egya buli lunaku. Ate era n’alonda n’abaggazi mu bibinja byabwe olw’emiryango egy’enjawulo kubanga bw’atyo Dawudi omusajja wa Katonda bwe yalagira. 15 Ne batava ku biragiro kabaka bye yali awadde bakabona, n’Abaleevi ku bikwatagana n’ensonga yonna, wadde ku bikwatagana n’ebyetterekero ly’ebintu eby’omuwendo.
Pawulo mu Sessaloniika
17 (A)Awo ne batambula ne bayita mu bibuga Anfipoli ne Apolooniya ne batuuka e Sessaloniika, omwali ekkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya. 2 (B)Pawulo, ng’empisa ye bwe yali, n’agenda n’ababuuliranga ekigambo kya Katonda okuva mu byawandiikibwa, ku buli lwa Ssabbiiti okumala Ssabbiiti ssatu. 3 (C)N’abannyonnyola era n’abalaga nga bwe kyali kyetaagisa Kristo okubonaabona n’okuzuukira mu bafu, era nti, “Oyo ye Kristo Yesu gwe mbabuulira.” 4 (D)Abamu ku Bayudaaya abaamuwuliriza ne bakkiriza ne beegatta ku Pawulo ne Siira; era n’Abayonaani bangi abatya Katonda awamu n’abakazi bangi ab’ekitiibwa mu kibuga ekyo.
5 (E)Naye Abayudaaya ne bakwatibwa obuggya, ne bagenda nga bafukuutirira abantu ab’empisa embi ne babaggya mu nguudo z’omu kibuga ne mu katale, ne batandikawo akasasamalo mu kibuga. Ne balumbagana amaka ga Yasooni nga banoonyaamu Pawulo ne Siira babatwale mu kibiina ky’abantu. 6 (F)Bwe baababulwa, kwe kukwata Yasooni n’abooluganda abamu ne babaleeta mu maaso g’abakulu b’ekibuga, nga bwe baleekaana nti, “Pawulo ne Siira batabuddetabudde ebifo ebirala mu nsi yonna, ne kaakano bazze wano batabuletabule ekibuga kyaffe, 7 (G)era Yasooni oyo y’abaaniriza mu maka ge. Bano bonna bazizza omusango ogw’okuseeketerera eggwanga ne bamenya amateeka ga Kayisaali nga bayimbirira kabaka omulala Yesu.” 8 Ekibiina n’abakulu b’ekibuga bwe baawulira ebintu ebyo ne basasamala. 9 (H)Bwe baamala okusasuza Yasooni ne banne omutango, ne babaleka ne bagenda.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.