Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yeremiya 23:23-29

23 (A)“Ndi Katonda abeera okumpi wokka,
    so si abeera ewala?”
    bw’ayogera Mukama.
24 (B)“Omuntu ayinza okwekweka mu bifo eby’ekyama
    ne sisobola kumulaba?”
    bw’ayogera Mukama.
    “Sijjuza eggulu n’ensi?”
    bw’ayogera Mukama.

25 (C)“Mpulidde bannabbi aboogera eby’obulimba mu linnya lyange. Bagamba nti, ‘Naloose! Naloose!’ 26 (D)Kino kinaakoma ddi mu mitima gy’abo bannabbi b’obulimba, abategeeza eby’obulimba ebiva ku mitima gyabwe? 27 (E)Balowooza nti ebirooto bye balootolola bannaabwe bijja kuleetera abantu bange okwerabira erinnya lyange, nga bakitaabwe bwe beerabira erinnya lyange nga basinza Baali. 28 Nnabbi alina ekirooto ayogere ekirooto kye, n’oyo alina ekigambo kyange akyogere mu bwesigwa. Kubanga ebisusunku birina nkolagana ki n’eŋŋaano?” bw’ayogera Mukama. 29 (F)“Ekigambo kyange tekiri nga muliro, ng’ennyondo eyasaayasa olwazi?” bw’ayogera Mukama.

Zabbuli 82

Zabbuli ya Asafu.

82 (A)Katonda akubiriza olukiiko lwe olukulu olw’omu ggulu,
    ng’alamula bakatonda.

(B)Mulituusa ddi okusala emisango n’obukuusa,
    nga musalira abanafu?
(C)Abanafu n’abatalina bakitaabwe mubalamulenga mu bwenkanya;
    abaavu n’abanyigirizibwa mubayambenga mu bwenkanya.
Mulwanirire abatalina maanyi n’abali mu kwetaaga, mubawonye;
    mubanunule nga mubaggya mu mikono gy’ababi.

(D)Tebalina kye bamanyi, era tebategeera.
    Batambulira mu kizikiza;
    emisingi gy’ensi gyonna ginyeenyezebwa.

(E)Njogedde nti, Muli bakatonda,
    era mwenna muli baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo.
(F)“Naye mugenda kufa ng’abantu obuntu;
    muliggwaawo ng’abafuzi abalala bonna bwe baggwaawo.”

(G)Ogolokoke, Ayi Katonda, olamule ensi;
    kubanga amawanga gonna gago.

Abaebbulaniya 11:29-12:2

29 (A)Olw’okukkiriza Abayisirayiri baasomoka Ennyanja Emyufu ng’abayita ku lukalu. Naye Abamisiri bwe baakigezaako amazzi ne gabasaanyaawo.

30 (B)Olw’okukkiriza, bbugwe wa Yeriko yagwa nga kimaze okwebungululirwa ennaku musanvu.

31 (C)Olw’okukkiriza malaaya Lakabu, teyazikirizibwa n’abajeemu, kubanga yasembeza abakessi, n’emirembe.

32 (D)Njogere ki nate? N’ekiseera kinaanzigwako bwe nnaayogera ku Gidyoni, ne ku Baraki, ne Samusooni, ne Yefusa, ne Dawudi, ne Samwiri ne bannabbi abalala, 33 (E)abaawangula bakabaka olw’okukkiriza, be baakola eby’obutuukirivu, be baafuna ebyasuubizibwa, era be baabuniza obumwa bw’empologoma, 34 (F)be baazikiza omuliro ogw’amaanyi, be baawona obwogi bw’ekitala. Be baaweebwa amaanyi okuva mu bunafu, era be baafuuka abazira ab’amaanyi mu ntalo, ne bagoba amaggye g’amawanga. 35 (G)Abakazi baddizibwa abantu baabwe abaali bafudde ne bazuukira. Abalala baabonyaabonyezebwa okutuusa okufa, nga tebalokolebbwa, balyoke bafune obulamu obusingako nga bazuukidde. 36 (H)N’abalala ne basekererwa ne bakubibwa embooko nga bagezesebwa, n’abalala ne basibwa ne bateekebwa ne mu makomera. 37 (I)Baakubibwa amayinja, baasalibwamu n’emisumeeno, ne battibwa n’ekitala. Baatambulanga nga bambadde amaliba g’endiga n’ag’embuzi nga kumpi tebalina kantu, nga bali mu kwetaaga, ne banyigirizibwa, ne bayisibwa bubi, 38 n’ensi nga tebasaanira, nga bayita mu malungu ne mu nsozi nga beekweka mu mpuku ne mu mpampagama z’enjazi. 39 (J)Naye abantu bano bonna abajjula okukkiriza tebaafuna kyasuubizibwa. 40 Kubanga Katonda yatuteekerateekera ekisinga obulungi, bo baleme okutuukirizibwa ffe nga tetuliiwo.

Katonda akangavvula abaana be

12 (K)Kale nga bwe tulina ekibiina ekinene eky’abajulirwa ekyenkana awo, twambulengamu buli ekizitowa, awamu n’ekibi ekitwesibako amangu, tuddukenga n’okugumiikiriza embiro ez’empaka ezatutegekerwa, (L)nga tutunuulira Yesu eyatandika okukkiriza era y’akutuukiriza, olw’essanyu lye yali alindirira bwe yagumiikiriza omusaalaba, ng’anyooma ensonyi, n’atuula ku luuyi olwa ddyo olw’entebe ya Katonda.

Lukka 12:49-56

49 “Najja kuleeta muliro ku nsi, era kyandibadde kirungi singa gukoledde! 50 (A)Nninayo okubatizibwa kwe ndibatizibwa, naye nzija kuba mu nnaku nnyingi nga tekunnaba kutuukirizibwa! 51 Mulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi? Mbategeeza nti sajja kuleeta mirembe wabula okwawukana. 52 Okuva kaakano amaka gajjanga kwawukanamu, ag’abantu abataano, abasatu ku bo nga bawakanya ababiri, n’ababiri nga bawakanya abasatu. 53 (B)Kitaawe w’omwana alyawukana ne mutabani we, n’omwana n’ayawukana ne kitaawe, ne nnyina w’omwana alyawukana ne muwala we n’omuwala n’ayawukana ne nnyina, ne nnyazaala balyawukana ne muka mwana we ne muka mwana n’ayawukana ne nnyazaala we.”

Okunnyonnyola Ebiriwo

54 (C)Awo Yesu n’akyukira ekibiina n’abagamba nti, “Bwe mulaba ebire nga byekuluumulula ebugwanjuba, amangwago mugamba nti, ‘Enkuba egenda kutonnya,’ era n’etonnya. 55 Ate empewo bw’ekunta ng’eva ku bukiikaddyo, mugamba nti, ‘Leero akasana kajja kwaka nnyo,’ era bwe kiba. 56 (D)Bannanfuusi mmwe! Musobola bulungi okunnyonnyola obubonero obuli ku nsi ne mu bbanga, muyinza mutya obutamanya obubonero obw’omu kiseera kino?

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.