Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 89:1-18

Endagaano ya Katonda ne Dawudi.

89 (A)Nnaayimbanga ku kwagala kwo okungi, Ayi Mukama, emirembe gyonna.
    Nnaatenderezanga obwesigwa bwo n’akamwa kange, bumanyibwe ab’emirembe gyonna.
(B)Ddala ddala nnaategeezanga nti okwagala kwo tekuggwaawo ennaku zonna;
    n’obwesigwa bwo bunywevu ng’eggulu.
Nakola endagaano n’omulonde wange;
    nalayirira omuweereza wange Dawudi nti,
(C)“Ezadde lyo nnaalinywezanga ennaku zonna,
    era entebe yo ey’obwakabaka nnaaginywezanga emirembe gyonna.”

(D)Eggulu linaatenderezanga ebyamagero byo n’obwesigwa bwo,
    Ayi Mukama, mu kibiina ky’abatukuvu bo.
(E)Kale, mu ggulu waggulu, ani ageraageranyizika ne Mukama?
    Ani afaanana nga Mukama, mu abo ababeera mu ggulu?
(F)Katonda atiibwa nnyo mu lukiiko olw’abatukuvu;
    era wa ntiisa okusinga bonna abamwetooloola.
(G)Ayi Mukama Katonda ow’Eggye, ani akufaanana?
    Oli wa buyinza, Ayi Mukama, ojjudde obwesigwa.
(H)Ggwe ofuga amalala g’ennyanja;
    amayengo gaayo bwe geekuluumulula ogakkakkanya.
10 (I)Lakabu wamubetentera ddala;
    abalabe bo n’obasaasaanya n’omukono gwo ogw’amaanyi.
11 (J)Eggulu liryo, n’ensi yiyo;
    ensi yonna gwe wagitonda ne byonna ebigirimu.
12 (K)Watonda obukiikakkono n’obukiikaddyo;
    ensozi Taboli ne Kerumooni zitendereza erinnya lyo.
13 Oli wa buyinza bungi nnyo; omukono gwo gwa maanyi,
    omukono gwo ogwa ddyo gunaagulumizibwanga.

14 (L)Obutuukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’obwakabaka bwo.
    Okwagala n’obwesigwa bye binaakukulemberanga.
15 (M)Balina omukisa abantu abamanyi okukutendereza Mukama n’amaloboozi ag’essanyu;
    Ayi Mukama, banaatambuliranga mu ssanyu lyo.
16 (N)Banaasanyukiranga mu linnya lyo okuzibya obudde,
    n’obutuukirivu bwo banaabugulumizanga.
17 (O)Kubanga gw’obawa amaanyi ne bafuna ekitiibwa.
    Olw’okwagala kwo otutuusa ku buwanguzi olw’ekisa kyo.
18 (P)Ddala ddala, Mukama ye ngabo yaffe,
    Omutukuvu wa Isirayiri kabaka waffe.

2 Ebyomumirembe 34:22-33

22 (A)Awo Kirukiya n’abo kabaka be yali atumye ne bagenda eri Kuluda nnabbi omukazi, muka Sallumu mutabani wa Tokasi muzzukulu wa Kasula omuwanika w’ebyambalo. Yabeeranga mu Yerusaalemi mu kitundu ekyokubiri. 23 N’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Mutegeeze omusajja abatumye nti, 24 (B)bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Laba ndireeta ku kifo kino ne ku bantu baamu akabi, n’ebikolimo byonna ebyawandiikibwa mu kitabo, ekyasomeddwa mu maaso ga kabaka wa Yuda. 25 (C)Kubanga banvuddeko ne bookera bakatonda abalala obubaane, era bansunguwazizza n’emirimu gyonna egy’emikono gyabwe. Kyennaava mbasunguwalira ne wataba n’omu akkakkanya busungu bwange.” ’ 26 Naye mugambe kabaka wa Yuda eyabatumye okujja okwebuuza ku Mukama nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, 27 (D)“Kubanga omutima gwo gubadde mumenyefu ne weetoowaza mu maaso ga Katonda, bwe wawulidde ebigambo bye, ebikwata ku kifo kino n’abo abakibeeramu, ne weetoowaza mu maaso gange, n’oyuza ebyambalo byo, n’okaabira mu maaso gange, nkuwulidde. 28 (E)Laba, ndikukuŋŋaanyiza eri bajjajjaabo, n’ofa mirembe, era amaaso go tegalirega ku kabi ke ndireeta ku kifo kino ne ku bantu baamu.” ’ ”

Ne bazaayo obubaka eri kabaka.

29 Awo kabaka n’akuŋŋaanya abakadde bonna aba Yuda n’ab’omu Yerusaalemi. 30 (F)N’ayambuka mu yeekaalu ya Mukama, n’abantu bonna aba Yuda, n’abantu b’e Yerusaalemi, ne bakabona, n’abaleevi, n’abantu bonna ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa. N’asoma ebigambo byonna eby’omu kitabo eky’endagaano, ekyazuulibwa mu yeekaalu ya Mukama. 31 (G)Kabaka n’ayimirira mu kifo kye, ne yeeyama mu maaso ga Mukama, okutambuliranga mu mpya za Mukama n’okukwatanga amateeka ge, n’ebyo bye yategeeza, n’ebiragiro bye, n’omutima gwe gwonna n’omwoyo gwe gwonna, okutuukirizanga ebigambo ebyawandiikibwa mu kitabo.

32 Oluvannyuma n’alagira bonna abaali mu Yerusaalemi ne mu Benyamini okweyama. Abatuuze b’omu Yerusaalemi ne bakola ng’endagaano ya Katonda, Katonda wa bajjajjaabwe bw’egamba.

33 (H)Yosiya n’aggya eby’emizizo byonna ku butaka bwonna obw’Abayisirayiri, n’alagira bonna abaali mu Isirayiri okuweerezanga Mukama Katonda waabwe. Mu kufuga kwe kwonna, tebaava ku Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.

Abaebbulaniya 11:17-28

17 (A)Olw’okukkiriza Ibulayimu bwe yagezesebwa, n’awaayo Isaaka omwana we omu yekka, eyaweebwa ebyasuubizibwa, 18 (B)gwe kyayogerwako nti, “Mu Isaaka mw’olifunira abazzukulu,” 19 (C)gwe yamanya nga Katonda ayinza okumuzuukiza mu bafu, era n’ayaniriza Isaaka, nga Isaaka ali ng’azuukidde mu bafu.

20 (D)Olw’okukkiriza ebyo ebyali bigenda okubaawo, Isaaka yasabira Yakobo ne Esawu omukisa.

21 (E)Olw’okukkiriza Yakobo bwe yali anaatera okufa, yasabira bazzukulu be abaana ba Yusufu omukisa kinoomu, n’akutama ku muggo gwe n’asinza Katonda.

22 (F)Yusufu bwe yali anaatera okufa, olw’okukkiriza yayogera ku kuva kw’abaana ba Isirayiri mu Misiri, era n’abalagira n’okutwala amagumba ge nga baddayo ewaabwe.

23 Olw’okukkiriza bakadde ba Musa bwe yazaalibwa baamukwekera emyezi esatu, kubanga baalaba nga mwana mulungi, ne batatya kiragiro kya Falaawo.

24 (G)Olw’okukkiriza Musa ng’akuze, yagaana okuyitibwa omwana w’omumbejja wa Falaawo 25 (H)n’alondawo okubonaabonera awamu n’abantu ba Katonda n’agaana okuba mu ssanyu ery’ekibi eriggwaawo amangu. 26 (I)Musa yalaba nti okuvumibwa olwa Kristo kisingira wala obugagga bw’e Misiri, kubanga yali asuubira empeera. 27 (J)Olw’okukkiriza Musa yava mu Misiri nga tatya busungu bwa Falaawo, kubanga yanywera ng’alaba Katonda oyo atalabika na maaso buuso ag’omubiri. 28 (K)Olw’okukkiriza Musa yassaawo Embaga ejjuukirirwako Okuyitako, n’amansira omusaayi omuzikiriza aleme okutta abaana ababereberye Abayisirayiri.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.