Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 127

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Sulemaani.

127 (A)Mukama bw’atazimba nnyumba,
    abo abagizimba bazimbira bwereere.
Mukama bw’atakuuma kibuga,
    abakuumi bateganira bwereere.
(B)Oteganira bwereere bw’okeera mu makya n’okola,
    ate n’olwawo n’okwebaka
ng’okolerera ekyokulya;
    kubanga Mukama abaagalwa be abawa otulo.

(C)Abaana aboobulenzi kya bugagga okuva eri Mukama;
    era abaana mpeera gy’agaba okuva gy’ali.
Ng’obusaale bwe bubeera mu mukono gw’omulwanyi,
    n’abaana abazaalibwa mu buvubuka bw’omuntu bwe bali bwe batyo.
(D)Alina omukisa omuntu oyo
    ajjuzza ensawo ye n’obusaale,
kubanga tebaliswazibwa;
    balyolekera abalabe baabwe mu mulyango omunene.

Omubuulizi 2:1-17

Amasanyu Tegagasa

(A)Nayogera munda yange nti, “Jjangu kaakano ngezese okusanyuka. Weesanyuse.” Naye laba, na kino kyali butaliimu. (B)Nagamba nti, “Okuseka busirusiru. Era okusanyuka kugasa ki?” (C)Nanoonyereza n’omutima gwange, bwe nnaasanyusa omubiri gwange n’omwenge, nga nkyagoberera okunoonya amagezi. Nayagala okulaba abantu kyebasaanira okukola wansi w’enjuba mu nnaku ez’obulamu bwabwe entono.

(D)Natandikawo emirimu egy’amaanyi: ne neezimbira amayumba ne neesimbira ennimiro ez’emizabbibu. Ne neerimira ennimiro, ne neekolera n’ebifo ebigazi, ne nsimbamu buli ngeri ya miti egy’ebibala. Ne neesimira ebidiba omuva amazzi ag’okufukirira ebibira by’emiti emito. Neefunira abaddu abasajja n’abakazi, era nalina abaddu abaazaalirwa mu nnyumba yange. Ne mbeera n’amagana g’ente n’ebisibo by’endiga okusinga bonna abansooka okubeera mu Yerusaalemi. (E)Ne neekuŋŋaanyiza ffeeza ne zaabu ebyavanga mu misolo, egyampebwanga bakabaka n’egyavanga mu bwakabaka bwabwe. Neefunira abayimbi abasajja n’abakazi, ne nfuna n’ebintu byonna ebisanyusa omuntu, ne neefunira n’abakazi. (F)Ne nfuuka mukulu ne nsukkirira bonna abansooka mu Yerusaalemi. Mu ebyo byonna nasigala siweebuuse mu magezi.

10 Na buli amaaso gange kye gaayagala okulaba sa kigamma,
    omutima gwange ne ngusanyusa mu buli kimu.
Omutima gwange gwasanyukira bye nakola byonna,
    era eyo y’empeera yange olw’okutegana kwange kwonna.
11 (G)Awo bwe nalowooza byonna emikono gyange bye gyakola,
    n’okutegana kwonna nga nkola,
laba, byonna bwali butaliimu na kugoberera mpewo,
    tewaali na kimu kye nagobolola wansi w’enjuba.

Amagezi Agatali ga Katonda n’Obusirusiru Byombi Butaliimu

12 (H)Awo ne nkyuka ne ndowooza ku magezi,
    ne ku ddalu ne ku busirusiru,
kubanga oyo aliddirira kabaka mu bigere alibaako ki ky’akola,
    okuggyako ekyo kabaka ky’akoze?
13 (I)Awo ne ndaba amagezi nga gasinga obusirusiru,
    n’ekitangaala nga kisinga ekizikiza.
14 (J)Omugezi amaaso ge gali mu mutwe gwe,
    naye atalina magezi atambulira mu kizikiza.
Kyokka ne ntegeera
    nga bombi akabi kabatuukako.

15 (K)Ne ndyoka njogera mu mutima gwange nti,

“Ekyo ekigwa ku musirusiru nange kirintuukako.
    Kale lwaki mbeera omugezi?”
Era na kino ne nkizuula
    nga butaliimu.
16 (L)Kubanga ku mugezi ne ku musirusiru tewaliwo ajjukirwa lubeerera;
    mu nnaku ezirijja bombi baliba beerabirwa dda.
Okufaanana ng’omusirusiru n’omugezi naye alifa.

17 (M)Awo ne nkyawa obulamu kubanga buli ekikolebwa wansi w’enjuba kindeetera buyinike. Byonna butaliimu na kugoberera mpewo.

Abakkolosaayi 3:18-4:1

18 (A)Abakazi, muwulirenga babbammwe kubanga ekyo kye kituufu mu Mukama waffe.

19 Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe era mubakwasenga kisa so si bukambwe.

20 Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu bintu byonna kubanga ekyo ky’ekisanyusa Katonda.

21 Nammwe bakitaabwe temunyiizanga baana bammwe baleme okuddirira mu mwoyo.

22 Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab’omu nsi mu bintu byonna, si kubasanyusa lwa kubanga babalaba, naye mubagonderenga n’omutima ogutaliimu bukuusa, nga mutya Mukama waffe. 23 Buli kye mukola mukikole ng’abakolera Mukama waffe so si abantu, 24 (B)nga mumanyi nga mulifuna empeera yammwe ey’omugabo gwammwe okuva eri Mukama waffe. Muweerezenga Mukama Kristo; 25 (C)kubanga ayonoona, alisasulwa olw’ebikolwa bye, so tewaliba kusosola mu bantu.

Ebiragiro Ebirala

Mmwe bakama b’abaddu, mubenga benkanya eri abaddu bammwe nga mumanyi nti nammwe mulina Mukama wammwe mu ggulu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.