Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ekyamateeka Olwokubiri 30:9-14

(A)Bw’atyo Mukama Katonda wo alikugaggawaza mu buli kintu kyonna ky’onookolanga, mu bibala eby’omubiri gwo, ne mu bibala eby’ebisolo byo, ne mu bibala eby’ettaka lyo. Mukama alisanyuka nnyo okukugaggawazanga n’obeeranga bulungi, nga bwe kyamusanyusanga okugaggawazanga bajjajjaabo, 10 (B)ng’ogondeddenga Mukama Katonda wo, n’okwatanga amateeka ge n’ebiragiro bye ebiwandiikiddwa mu Kitabo eky’Amateeka kino, n’odda eri Mukama Katonda wo n’omukyukiranga n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna.

Okweronderawo ku Bulamu n’Okufa

11 (C)Etteeka lye nkulagira leero terisaana kukukaluubirira, kubanga terikuli wala nnyo. 12 (D)Teriri mu ggulu, n’okugamba ne kikugambisa nti, “Ani anaatulinnyirayo mu ggulu n’atulireeterayo tulyoke tuliwulire tuligonderenga?” 13 So teriri mitala wa nnyanja, olyoke ogambe nti, “Ani anaatusomokera ennyanja, alituleetere tuwulire bye ligamba, tuligondere?” 14 Nedda, ekigambo kiri kumpi ddala ne w’oli, kiri mu kamwa ko ne mu mutima gwo, olyoke okigondere.

Zabbuli 25:1-10

Zabbuli ya Dawudi.

25 (A)Eri ggwe, Ayi Mukama,
    gye ndeeta okusaba kwange.

(B)Neesiga ggwe, Ayi Mukama, tondeka kuswala mu maaso g’abalabe bange. Tobaganya kumpangula.
(C)Ddala ddala abakwesiga tebaajulirirenga,
    naye ab’enkwe baliswazibwa.

(D)Njigiriza nga bwe nnaakolanga, Ayi Mukama,
    ondage amakubo go mwe nnaatambuliranga.
Onjigirizenga okunywerera ku mazima go, era onkulemberenga mu byonna;
    kubanga ggwe Katonda, ow’obulokozi bwange
    era essuubi lyange liri mu ggwe olunaku lwonna.
(E)Jjukira, Ayi Mukama, okusaasira kwo okunene, n’okwagala kwo okungi,
    kubanga byava dda.
(F)Tojjukira bibi byange
    n’obujeemu bwange eby’omu buvubuka bwange.
Onzijukire, Ayi Mukama,
    ng’okwagala kwo gye ndi bwe kuli, kubanga oli mulungi.

(G)Mukama mulungi, era wa mazima,
    noolwekyo ayigiriza aboonoonyi ekkubo lye.
(H)Abawombeefu abaluŋŋamya mu kkubo ettuufu
    n’abayigiriza ekkubo lye.
10 (I)Amakubo ga Mukama gonna gajjudde okwagala n’amazima
    eri abo abagondera endagaano ye n’ebiragiro bye.

Abakkolosaayi 1:1-14

Okwebaza n’okusaba

(A)Nze Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olw’okwagala kwa Katonda, wamu ne Timoseewo owooluganda, (B)tuwandiikira abantu ba Katonda, abatukuvu era abooluganda abeesigwa mu Kristo ab’e Kkolosaayi, nti ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe bibeerenga nammwe.

(C)Buli bwe tubasabira, twebaza Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo. (D)Twawulira okukkiriza kwe mulina mu Kristo Yesu, n’okwagala kwe mulina eri abantu ba Katonda bonna, abatukuvu, (E)olw’essuubi eryabategekerwa mu ggulu, lye mwawulirako mu kigambo eky’amazima, ye Enjiri. (F)Enjiri yajja gye muli, era ebunye mu nsi yonna ng’ebala ebibala era nga yeeyongera okukula. Okuviira ddala lwe mwasooka okugiwulira, ne mutegeerera ddala amazima agali mu kisa kya Katonda, Enjiri ebadde yeeyongera okubuna mu mmwe. (G)Epafula muddu munnaffe omwagalwa omuweereza wa Kristo omwesigwa gye muli, eyabatuusaako Enjiri eyo, (H)ye yatubuulira okwagala kwe mulina mu Mwoyo.

(I)Noolwekyo, okuviira ddala ku lunaku lwe twawulira ebibafaako, tetulekangayo kubasabira na kubeegayiririra mujjuzibwe okumanya Katonda by’ayagala mu magezi gonna ne mu kutegeera okw’omwoyo. 10 (J)Era tweyongera okubasabira, mutambulenga nga musiimibwa Mukama era nga mumusanyusa mu buli byonna bye mukola, era nga mubala ebibala mu buli mulimu omulungi, era nga mukula mu kutegeera Katonda. 11 (K)Amaanyi ag’ekitiibwa kye, galibafuula abagumiikiriza mu buli nsonga yonna, mulyoke musanyuke, 12 (L)nga mwebaza Kitaffe eyatusaanyiza okugabana ku birungi bye yategekera abantu be abatukuvu ab’obwakabaka obw’ekitangaala. 13 (M)Katonda eyatuwonya n’atuggya mu maanyi g’ekizikiza aga Setaani, n’atutwala mu bwakabaka bw’Omwana we omwagalwa, 14 atusonyiwa ebibi byaffe, n’atufuula ba ddembe.

Lukka 10:25-37

Omusamaliya Omulungi

25 (A)Kale laba omunnyonnyozi w’amateeka n’asituka, ng’ayagala okugezesa Yesu, n’amubuuza nti, “Omuyigiriza, nsaana nkole ki okusikira obulamu obutaggwaawo?”

26 Yesu n’amuddamu nti, “Kyawandiikibwa kitya mu mateeka? Gagamba gatya?”

27 (B)Omunnyonnyozi w’amateeka n’addamu nti, “ ‘Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna, n’amaanyi go gonna, n’amagezi go gonna.’ Era ‘yagalanga muliraanwa wo nga naawe bwe weeyagala.’ ”

28 (C)Yesu n’amugamba nti, “Ozzeemu bulungi. Kale kolanga bw’otyo oliba mulamu.”

29 (D)Naye omunnyonnyozi w’amateeka okwagala okulaga nga bw’ali omutuufu n’agamba Yesu nti, “Muliraanwa wange ye ani?”

30 Yesu n’amuddamu nti, “Waaliwo omuntu eyali ava e Yerusaalemi ng’aserengeta e Yeriko, n’agwa mu banyazi, ne bamukwata ne bamwambulamu engoye ze ne bazimutwalako, ne bamukuba nnyo, ne bamuleka awo ku kkubo ng’abulako katono okufa. 31 (E)Awo kabona eyali tategedde n’ajjira mu kkubo eryo, naye bwe yatuuka ku musajja ng’agudde awo ku kkubo n’amwebalama bwebalami n’amuyitako. 32 Omuleevi naye yamutuukako n’amulaba, n’adda ku ludda olulala olw’oluguudo, n’amuyitako buyisi 33 (F)Naye Omusamaliya bwe yali ng’ali ku lugendo lwe mu kkubo eryo, n’atuuka omusajja we yali; bwe yamulaba n’amukwatirwa ekisa, 34 n’ajja w’ali, n’amunyiga ebiwundu ng’ayiwako amafuta, ne wayini ebiwundu n’abisibako ebiwero. Awo n’ateeka omusajja ku nsolo ye n’amutwala mu nnyumba esulwamu abatambuze, n’amujjanjaba. 35 Enkeera Omusamaliya n’addira ddinaali bbiri n’aziwa nannyini nnyumba. N’amugamba nti, ‘Nkusaba omujjanjabe, era ensimbi ezizo zonna z’olikozesa nga zino ze nkulekedde ziweddewo, ndizikuddizaawo nga nkomyewo.’ ”

36 “Kale olowooza, ku bantu abo abasatu aluwa eyali muliraanwa w’omusajja oli eyagwa mu banyazi?”

37 Omunnyonnyozi w’amateeka n’addamu nti, “Oyo eyamukolera ebyekisa.”

Yesu n’amugamba nti, “Naawe genda okole bw’otyo.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.