Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 64

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

64 (A)Ayi Katonda, owulire eddoboozi lyange, ery’okwemulugunya kwange;
    okuume obulamu bwange eri okutiisibwatiisibwa omulabe.

(B)Onkweke mpone enkwe z’abakola ebibi,
    onzigye mu kibinja ky’aboonoonyi, abaleekaana
(C)abawagala ennimi zaabwe ng’ebitala,
    ne balasa ebigambo byabwe ng’obusaale obutta.
(D)Beekweka ne bateega oyo atalina musango bamulase;
    amangwago ne bamulasa nga tebatya.

(E)Bawagiragana mu kigendererwa kyabwe ekibi
    ne bateesa okutega emitego mu kyama;
    ne boogera nti, “Ani asobola okutulaba?”
Beekobaana okukola ebitali bya bwenkanya, ne boogera nti,
    “Tukoze enteekateeka empitirivu.”
    Ddala ddala ebirowoozo by’omuntu n’omutima gwe byekusifu.

Naye Katonda alibalasa n’obusaale bwe;
    alibafumita, mangwago ne bagwa ku ttaka.
(F)Ebyo bye boogera biribaddira,
    ne bibazikiriza,
    ababalaba ne babanyeenyeza emitwe.
(G)Olwo abantu bonna ne batya,
    ne bategeeza abalala omulimu gwa Katonda,
    ne bafumiitiriza ku ebyo by’akoze.

10 (H)Omutuukirivu ajagulizenga mu Mukama,
    era yeekwekenga mu ye.
    Abo bonna abalina omutima omulongoofu bamutenderezenga!

Yobu 19:1-22

Yobu Amuddamu

19 Awo Yobu n’addamu nti:

“Mulikomya ddi okunnyigiriza
    ne mummenya n’ebigambo?
Emirundi kkumi nga munvuma;
    temukwatiddwa nsonyi kunnumba.
(A)Bwe kiba nga kituufu nti nawaba,
    obukyamu bwange, bwange nzekka.
(B)Bwe muba munneegulumiririzaako
    ne mukozesa obulumi bwange okunfeebya,
(C)mumanye nga Katonda ankoze bubi
    era anzingizza mu kitimba kye.

(D)“Wadde nga nkaaba nti, ‘Mpisiddwa bubi,’ siddibwamu;
    ne bwe nkuba enduulu, tewali antaasa.
(E)Azibye ekkubo lyange sisobola kuyita;
    amakubo gange agalese mu kizikiza.
(F)Anziggyeeko ekitiibwa kyange
    n’anziggyako n’engule ku mutwe gwange.
10 (G)Anjuzaayuza ku buli ludda okutuusa lwe watasigalawo kantu,
    asigula essuubi lyange ng’omuti.
11 (H)Obusungu bwe bumbubuukirako;
    ambala ng’omu ku balabe be.
12 (I)Amaggye ge galumba n’amaanyi;
    ganzimbako enkomera
    ne gagumba okwetooloola weema yange.

13 (J)“Anziggyeeko baganda bange;
    abo bwe twali tumanyiganye banviiriddeko ddala.
14 Ab’ekika kyange banviiriddeko ddala,
    mikwano gyange ginneerabidde.
15 Abagenyi bange n’abaweereza bange abawala, bampisa nga gwe batamanyi,
    ne bandaba nga munnagwanga.
16 Mpita omuddu wange naye tawulira,
    wadde nga mwegayirira n’akamwa kange.
17 Omukka gwange gwe nzisa, guwunyira bubi mukyala wange;
    nakyayibwa baganda bange bennyini.
18 (K)N’obulenzi obuto bunsekerera;
    buli lwe bundaba bunvuma.
19 (L)Mikwano gyange gyonna enfirabulago gya nkyawa;
    abo be nnayagalanga banneefuukira.
20 (M)Siriiko bwe ndi wabula ndi ddiba na magumba:
    nsigazzaawo bibuno byokka.

21 “Munkwatirwe ekisa mikwano gyange, munkwatirwe ekisa,
    kubanga omukono gwa Katonda gunkubye.
22 (N)Lwaki munjigga nga Katonda bw’anjigga?
    Omubiri gwe mufunye tegumala?

Abaefeso 2:11-22

11 Noolwekyo mujjukire, ng’edda mmwe abaali Abaamawanga mu mubiri, abaayitibwanga abatali bakomole abo abeeyita abaakomolebwa, kyokka nga baakomolebwa mu mubiri na ngalo z’abantu, 12 (A)nga mu biro biri temwamanya Kristo. Temwabalirwa mu ggwanga lya Isirayiri, era ng’Abaamawanga, temwalina mugabo mu ndagaano ya Katonda ey’ekisuubizo. Mwali wala ne Katonda, nga n’essuubi temulina. 13 (B)Naye kaakano mu Kristo Yesu, mmwe abaali ewala mwasembezebwa olw’omusaayi gwa Kristo.

14 Kristo gy’emirembe gyaffe, oyo eyatufuula ffe Abayudaaya nammwe Abaamawanga, okuba omuntu omu, ng’amenyeewo ekisenge ekya wakati eky’obulabe, ekyatwawulanga. 15 (C)Yadibya n’etteeka mu mateeka, alyoke yeetondemu omuntu omuggya ava mu babiri, ng’aleeta emirembe, 16 alyoke atabaganye ababiri okufuuka omubiri gumu eri Katonda olw’omusaalaba, bwe yazikiririza obulabe ku gwo. 17 Yajja okubuulira emirembe abo abaali ewala ne Katonda, n’abo abaali okumpi naye. 18 (D)Ku bw’oyo Kristo ffenna tuyita mu Mwoyo omu okutuuka eri Kitaffe.

19 (E)Noolwekyo temukyali baamawanga oba abagwira, wabula muli ba kika kimu n’abatukuvu, abantu ba Katonda, era muli ba mu nnyumba ya Katonda. 20 (F)Mwazimbibwa ku musingi ogw’abatume ne bannabbi, nga Kristo Yesu ly’ejjinja ekkulu ery’oku nsonda. 21 (G)Mu oyo ffenna tuzimbibwa wamu ne tugattibwa wamu ne tubeera essinzizo ettukuvu mu Mukama waffe. 22 Era nammwe mwazimbibwa wamu mu kizimbe ekyo Kristo ky’azimbye okubeeranga ekifo Omwoyo wa Katonda mwabeera.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.